[1] Awo ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, abakazi ne bajja ku ntaana nga baleeta ebyobuwoowo bye baategeka.
[2] Ne basanga ng'ejjinja liyiringisiddwa ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana.
[3] Ne bayingira, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu.
[4] Awo olwatuuka, baali bakyasamaaliridde olw'ekyo, abasajja babiri ne bayimirira kumpi nabo, nga bambadde engoye ezinekaaneka.
[5] Abakazi bwe baatya ne bakutama ne batunula wansi ku ttaka, abasajja ne babagamba nti: “Lwaki munoonyeza omulamu mu bafu?
[6] Taliiwo wano, azuukidde. Mujjukire nga bwe yababuulira ng'akyali mu Galilaaya, ng'agamba nti: Luk 9:22; 18:31-33
[7] Omwana w'Omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy'abantu aboonoonyi, n'okukomererwa ku musaalaba, n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.”
[8] Ne bajjukira ebigambo bye,
[9] ne bava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira abayigirizwa ekkumi n'omu, n'abalala bonna.
[10] Ebyo abaabibuulira abatume, baali Mariya Magudaleena, Yowanna, ne Mariya nnyina Yakobo, n'abalala abaali nabo.
[11] Ebigambo ebyo ne bifaananira abatume ng'eby'okugereesa, ne batabikkiriza.
[12] Kyokka Peetero n'asituka, n'adduka, n'alaga ku ntaana, n'akutama, n'alaba engoye nga ziri zokka, n'avaayo nga yeewuunya ebibaddewo.
[13] Ku lunaku lwe lumu olwo, babiri ku bo baali balaga mu kabuga erinnya lyako Emmaawo, kilomita nga kkumi okuva e Yerusaalemu.
[14] Baali banyumya bokka na bokka ku ebyo byonna ebibaddewo.
[15] Awo olwatuuka, nga banyumya era nga beebuuzaganya, ne Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo.
[16] Kyokka amaaso gaabwe gaaziyizibwa okumwekkaanya, baleme okumutegeera.
[17] N'abagamba nti: “Mboozi ki eyo gye munyumya nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu.
[18] Omu ku bo, erinnya lye Kulewopa n'amuddamu nti: “Ggwe muntu wekka ali mu Yerusaalemu atamanyi bibaddewo mu nnaku zino?”
[19] N'ababuuza nti: “Biki?” Ne bagamba nti: “Ebifa ku Yesu Omunazaareeti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bye yakolanga, ne mu bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna;
[20] era nga bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okusalirwa ogw'okufa, ne bamukomerera ku musaalaba.
[21] Ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Yisirayeli. N'ebyo byonna nga biri awo, luno olunaku lwakusatu kasookedde bino bibaawo.
[22] Naye ate abakazi abamu ab'ewaffe, abaabadde ku ntaana ku makya ennyo, batuwuniikirizza,
[23] bwe batasanzeeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti mulamu.
[24] Abamu ku bannaffe baalaze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe baagambye, kyokka ye tebaamulabye.”
[25] Awo Yesu n'abagamba nti: “Basirusiru mmwe, era abalwawo okukkiriza byonna abalanzi bye baayogera!
[26] Kristo yali tateekwa kubonyaabonyezebwa ebyo byonna alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”
[27] Awo Yesu n'abannyonnyola ebimwogerako mu byawandiikibwa byonna, ng'atandikira ku bya Musa, n'ayongera n'eby'abalanzi bonna.
[28] Ne basemberera akabuga gye baali balaga, ye n'aba ng'akyeyongerayo mu maaso.
[29] Ne bamwegayirira nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buwungedde, era enjuba emaze okugwa.” N'ayingira okubeera nabo.
[30] Awo olwatuuka, bwe yali atudde nabo okulya, n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agubawa.
[31] Awo amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera, kyokka n'ababulako, nga tebakyamulaba.
[32] Ne bagambagana nti: “Emitima tegyatubuguumiridde bwe yabadde ng'ayogera naffe mu kkubo, era ng'atunnyonnyola ebyawandiikibwa?”
[33] Ne basituka mu kaseera ako kennyini, ne baddayo e Yerusaalemu, ne basanga abayigirizwa ekkumi n'omu n'abalala abaali nabo, nga bakuŋŋaanye,
[34] nga bagamba nti: “Ddala Mukama waffe azuukidde, alabikidde ne Simooni.”
[35] Ne bano ne banyumya ebyabaddewo mu kkubo, era nga bwe baamutegeeredde ku kumenyaamenyamu omugaati.
[36] Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Emirembe gibe nammwe!”
[37] Ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu.
[38] Awo n'abagamba nti: “Lwaki mweraliikiridde? Era lwaki okubuusabuusa kuno kuzze mu mitima gyammwe?
[39] Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange. Nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe, anti omuzimu teguba na mubiri na magumba nga bwe mundaba nga mbirina.”
[40] Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'ebigere bye.
[41] Awo nga tebannaba kukkiriza, nga beewuunya olw'essanyu, n'abagamba nti: “Wano mulinawo ekyokulya?”
[42] Ne bamuwa ekitundu ky'ekyennyanja ekyokye.
[43] N'akitoola, n'akirya nga balaba.
[44] N'abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyawandiikibwa nga binjogerako mu mateeka ga Musa ne mu bitabo by'abalanzi ne mu Zabbuli, biteekwa okutuukirizibwa.”
[45] Olwo n'atangaaza amagezi gaabwe bategeere ebyawandiikibwa,
[46] n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo ateekwa okubonaabona n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu,
[47] era nti mu linnya lye, obubaka obw'okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi buteekwa okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna, okusookera ku Yerusaalemu.
[48] Mmwe bajulirwa b'ebyo.
[49] Era nze nja kubaweereza ekirabo, Kitange kye yabasuubiza. Naye mubeere mu kibuga, okutuusa lwe mulifuna amaanyi agava mu ggulu.”
[50] Awo Yesu n'abatwala ebweru w'ekibuga, n'agenda nabo e Betaniya, n'agolola emikono gye, n'abawa omukisa.
[51] Awo olwatuuka, ng'akyabawa omukisa, n'ava we bali, natwalibwa mu ggulu.
[52] Ne bamusinza, ne baddayo e Yerusaalemu nga bajjudde essanyu lingi.
[53] Ne babeeranga mu Ssinzizo bulijjo, nga batendereza Katonda.