Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 8:26

[1] Mu kiseera ekyo, abantu nkumi na nkumi bwe baakuŋŋaana ne batuuka n'okulinnyaganako, Yesu n'asookera ku bayigirizwa be n'abagamba nti: “Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo, bwe bukuusa.

[2] Buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli ekikisiddwa, kirimanyibwa.

[3] Byonna bye mwali mwogedde mu nzikiza, birirangirirwa mu musana, ne kye mwali mwogedde mu kaama mu bisenge, kirirangirirwa ku ntikko z'ennyumba.

[4] “Mbagamba mmwe mikwano gyange nti temutyanga abo abatta omubiri, oluvannyuma nga tebalina kisingawo kye bayinza kukola.

[5] Naye ka mbalage gwe muteekwa okutya: mutyenga Katonda alina obuyinza ng'amaze okutta, okusuula mu muliro ogutazikira. Weewaawo mbagamba nti: mumutyenga!

[6] “Enkazaluggya ttaano tezigula busente mpa we buzira? Naye tewali wadde emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.

[7] Era n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale. Temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.

[8] “Era mbagamba nti buli anjatula mu maaso g'abantu, n'Omwana w'Omuntu alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda.

[9] Naye oyo anneegaana mu maaso g'abantu, alyegaanibwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda.

[10] “Era buli ayogera obubi ku Mwana w'Omuntu, alisonyiyibwa; naye oyo avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa.

[11] Bwe babatwalanga mu makuŋŋaaniro, oba mu maaso g'abalamuzi oba ag'ab'obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaayanukula, oba kye munaayogera.

[12] Mwoyo Mutuukirivu alibategeeza mu kiseera ekyo kyennyini, bye musaanidde okwogera.”

[13] Awo omu mu kibiina ky'abantu, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by'obusika bwaffe.”

[14] Yesu n'amugamba nti: “Owange, ani yanteekawo okubalamula oba okubagabanyizaamu ebyammwe?”

[15] Awo n'agamba abaaliwo nti: “Mutunule era mwekuume okululunkanira ebintu, kubanga obulamu bw'omuntu tebuba mu bya kufuna ne bw'aba na bingi bitya.”

[16] Awo n'abagerera olugero ng'agamba nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina ennimiro, n'eyeza ebibala.

[17] Ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola? Sirina we nnaateeka bibala byange!’

[18] N'agamba nti: ‘Kiikino kye nnaakola. Nja kumenyawo ennyumba zange mwe ntereka, nzimbe ezisingawo obunene. Omwo mwe nnaatereka ebirime byonna eby'empeke, n'ebintu byange ebirala.

[19] Olwo ndigamba omwoyo gwange nti mwoyo gwange, olina ebintu bingi ebiterekeddwa okumala emyaka mingi. Wummula, olye, onywe, osanyuke!’

[20] Kyokka Katonda n'amugamba nti: ‘Musirusiru ggwe! Mu kiro kino obulamu bwo bwa kukuggyibwako. Kale by'otegese binaaba by'ani?’

[21] Bw'atyo bw'aba eyeeterekera ebyobugagga, sso nga si mugagga mu bya Katonda.”

[22] Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya, newaakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.

[23] Obulamu bwa muwendo okusinga emmere, n'omubiri gwa muwendo okusinga ebyokwambala.

[24] Mutunuulire nnamuŋŋoona. Tasiga, takungula, era talina kisenge wadde ennyumba mw'atereka, naye Katonda amuwa emmere. Mmwe temusinga nnyo ebinyonyi?

[25] Era ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku buwanvu bw'obulamu bwe?

[26] Kale oba nga temuyinza kukola wadde ekintu ekitono ng'ekyo, lwaki mweraliikirira ebirala?

[27] Mutunuulire amalanga. Tegakola mulimu, wadde okuluka engoye, naye mbagamba nti newaakubadde Solomooni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.

[28] Oba nga Katonda ayambaza bw'atyo omuddo oguliwo mu nnimiro olwaleero, ate enkeera ne gusuulibwa ku kikoomi, talisingawo nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?

[29] “Mmwe temwemaliranga ku kunoonya kye munaalya, oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga.

[30] Ebyo byonna abantu ab'ensi bye beemalirako. Mmwe Kitammwe amanyi nti bino mubyetaaga.

[31] Naye mwemalirenga ku Bwakabaka bwe, ebyo nabyo biribaweebwa.

[32] “Temutya, mmwe ekibiina ekitono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa Obwakabaka.

[33] Mutunde ebintu byammwe, mugabire abaavu, mwekolere ensawo ezitaggwaamu nsimbi, mweterekere obugagga obutaggwaawo mu ggulu, omubbi gy'atatuuka, era eteri nnyenje kubwonoona,

[34] kubanga obugagga bwammwe gye buba n'omutima gwammwe gye guba.

[35] “Mube beetegefu nga mwesibye ebimyu byammwe, era n'ettaala zammwe nga zaaka.

[36] Era mube ng'abantu abalindirira mukama waabwe okudda ng'ava ku mbaga ey'obugole, balyoke bamuggulirewo amangwago nga yaakakonkona.

[37] Ba mukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja, b'alisanga nga batunula. Mazima mbagamba nti alyesiba ekimyu n'abatuuza okulya, n'agenda ng'abaweereza.

[38] Singa ajja ekiro mu luwalo olwokubiri oba olwokusatu olw'okukuuma, n'abasanga bwe batyo, abaddu abo ba mukisa.

[39] Era mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya essaawa omubbi gy'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.

[40] Nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.”

[41] Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe oba olugeredde bonna?”

[42] Mukama waffe n'agamba nti: “Kale ani omuwanika omwesigwa omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?

[43] Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo.

[44] Mazima mbagamba nti alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna.

[45] Naye omuddu oyo singa agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okujja,’ n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, era n'atandika okulya n'okunywa, n'okutamiira,

[46] kale mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamulindirira, ne mu ssaawa gy'atamanyi. Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abatakkiriza.

[47] “Ate omuddu eyamanya mukama we ky'ayagala, kyokka n'atategeka oba n'atakola nga mukama we bw'ayagala, alikubibwa emiggo mingi.

[48] Wabula oyo ataamanya, n'akola ekimusaanyiza okukubibwa, alikubwa mitono. Buli eyaweebwa ebingi, alisabibwa bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, balimubuuza ebisingawo ku bye yateresebwa.

[49] “Najja kukoleeza muliro ku nsi. Singa nno gwase!

[50] Nnina okubatizibwa kwe ŋŋenda okubatizibwamu, era neeraliikirira nnyo okutuusa lwe kulituukirizibwa.

[51] Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti si bwe kiri, wabula okwawukana.

[52] Okuva kati, abataano mu nnyumba emu balyesalamu, abasatu ne bawakanya ababiri, n'ababiri ne bawakanya abasatu.

[53] Bano balyesalamu: nnyina w'omwana ne muwala we; omuwala ne nnyina; nnyazaala ne muka mwana we; muka mwana ne nnyazaala we.”

[54] Ate n'agamba n'ebibiina by'abantu nti: “Bwe mulaba ekire nga kiva ebugwanjuba, amangwago mugamba nti: ‘Enkuba eneetonnya.’ Era bwe kityo bwe kiba.

[55] Era empewo ey'omu bukiikaddyo bw'efuuwa, mugamba nti: ‘Omusana gujja kwaka nnyo.’ Era bwe kiba.

[56] Bakuusa mmwe! Mumanyi okunnyonnyola amakulu g'endabika y'ensi n'ey'eggulu. Kale lwaki temumanyi makulu ga kiseera kino?

[57] “Lwaki mmwe mwennyini temwesalirawo kituufu?

[58] Bw'oba ng'ogenda ew'omulamuzi n'omuntu akuwawaabira, fuba okutabagana naye nga mukyali mu kkubo, aleme okukutwala ew'omulamuzi, n'omulamuzi okukuwa omuserikale, n'omuserikale n'akusuula mu kkomera.

[59] Nkugamba nti omwo tolivaamu okutuusa lw'olisasula ssente esembayo.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Lukka — Chapters