[1] Awo Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko, n'atambula n'akiyitamu.
[2] Waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo eyali omukulu w'abasolooza b'omusolo era nga mugagga.
[3] N'agezaako okulaba Yesu bw'afaanana, n'atasobola olw'ekibiina ky'abantu, kubanga Zaakayo ono yali mumpi.
[4] N'adduka, n'abeesooka mu maaso, n'alinnya omuti Omusikamoreya, alabe Yesu eyali agenda okuyita mu kkubo eryo.
[5] Yesu bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'atunula waggulu, n'amugamba nti: “Zaakayo, kka mangu, kubanga olwaleero nteekwa okuba omugenyi wo.”
[6] Zaakayo n'akka mangu, n'ayaniriza Yesu n'essanyu.
[7] Bonna bwe baalaba, ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Agenze okukyala ew'omusajja omwonoonyi.”
[8] Zaakayo n'ayimirira, n'agamba Mukama waffe nti: “Mukama wange, laba, nnaagabanyiza wakati ebintu byange, ekitundu ekimu nkiwe abaavu. Era oba nga waliwo gwe nalyazaamaanya, nnaamuliyira emirundi ena.”
[9] Awo Yesu n'amugamba nti: “Olwaleero okulokoka kuzze mu nnyumba eno, kubanga ono naye muzzukulu wa Aburahamu.
[10] Omwana w'Omuntu yajja okunoonya n'okulokola abaabula.”
[11] Awo bwe baawulira ebyo, Yesu n'ayongera okubagerera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemu, era kubanga baali balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bwa kulabika mangwago.
[12] Kyeyava agamba nti: “Waaliwo omuntu oweekitiibwa eyagenda mu nsi ey'ewala okufuulibwa kabaka, alyoke akomewo.
[13] N'ayita abaddu be kkumi, n'abawa ensimbi eziwera mina kkumi, n'abagamba nti: ‘Musuubuze ensimbi zino okutuusa lwe ndidda.’
[14] Kyokka ab'omu nsi ye baali bamukyaye. Ne batuma ababaka okugenda gye yalaga, bagambe nti: ‘Tetwagala oyo kufuuka kabaka waffe.’
[15] “Awo olwatuuka, bwe yakomawo ng'amaze okufuulibwa kabaka, n'alagira okumuyitira abaddu abo be yawa ensimbi, amanye bwe baasuubula.
[16] Eyasooka n'ajja n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina kkumi.’
[17] N'amugamba nti: ‘Weebale ggwe, omuddu omulungi. Nga bwe wali omwesigwa mu kintu ekitono, nnaakuwa obuyinza okufuga ebibuga kkumi.’
[18] Owookubiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, ensimbi zo ze wampa, mina emu, zaaleeta mina ttaano.’
[19] N'oyo n'amugamba nti: ‘Naawe ojja kufuga ebibuga bitaano.’
[20] “N'omulala n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, laba, ensimbi zo ze wampa, mina emu, ziizino. Nazitereka mu kiwero,
[21] kubanga nakutya, kubanga oli muntu mukakanyavu. Otwala ekitali kikyo, era okungula ky'otaasiga.’
[22] Kabaka n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, by'oyogedde kwe nnaasinziira okukusalira omusango. Wali omanyi nti ndi muntu mukakanyavu, atwala ekitali kyange, era akungula kye ssaasiga.
[23] Kale lwaki ensimbi zange tewaziteresa basuubuzi, nze nga nkomyewo ne nzifuna n'amagoba gaazo?’
[24] “N'agamba abaali bayimiridde awo nti: ‘Mumuggyeeko ensimbi z'alina, mina emu, muziwe oli alina mina ekkumi.’
[25] Ne bamugamba nti: ‘Ssebo, alina mina kkumi ddamba!’
[26] N'addamu nti: ‘Mbagamba nti buli alina ebingi alyongerwako n'ebirala, ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.
[27] Naye abalabe bange abo, abataayagala nze kufuuka kabaka waabwe, mubaleete wano, era mubatte nga ndaba.’ ”
[28] Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akulemberamu, ng'ayambuka e Yerusaalemu.
[29] Awo olwatuuka, bwe yali ng'asemberedde ebibuga Betufaage ne Betaniya, okumpi n'olusozi oluyitibwa olw'emiti Emizayiti, n'atuma babiri ku bayigirizwa be
[30] ng'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugiyimbule mugireete.
[31] Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki mugisumulula?’ Muddamu bwe muti: ‘Mukama waffe agyetaaga.’ ”
[32] Awo abaatumibwa ne bagenda, ne basanga byonna nga biri nga bwe yabagamba.
[33] Bwe baali nga basumulula endogoyi, bannannyiniyo ne babagamba nti: “Lwaki endogoyi mugisumulula?”
[34] Bo ne bagamba nti: “Mukama waffe agyetaaga.”
[35] Awo ne bagitwalira Yesu. Ne bassa ku ndogoyi eyo ekkooti zaabwe, ne bagyebagazaako Yesu.
[36] Bwe yali ng'agenda, abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe.
[37] Ate bwe yali ng'asemberedde Yerusaalemu, ng'aserengeta Olusozi olw'emiti Emizayiti, ekibiina ky'abayigirizwa be kyonna ne kitendereza Katonda n'eddoboozi ery'omwanguka nga kisanyuka olw'ebyamagero byonna bye kyali kirabye.
[38] Ne kigamba nti: “Kabaka ono ajja mu linnya lya Mukama, atenderezebwe. Emirembe gibe mu ggulu, n'ekitiibwa kibe eri Katonda Atenkanika.”
[39] Awo abamu ku Bafarisaayo abaali mu kibiina ky'abantu ne bagamba Yesu nti: “Muyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.”
[40] Yesu n'addamu nti: “Mbagamba nti singa bano basirika, amayinja ganaaleekaana.”
[41] Awo Yesu n'atuuka kumpi n'ekibuga Yerusaalemu. Bwe yakiraba, n'akaaba olw'okukirumirwa,
[42] nga bw'agamba nti: “Singa ggwe omanya wadde ku lunaku luno ebyo ebireeta emirembe! Naye kaakano bikwekeddwa amaaso go.
[43] Ekiseera kirikutuukirira, abalabe bo ne bakuzimbako ekigo okukwetooloola, ne bakutaayiza. Balikuzingiza ku njuuyi zonna.
[44] Balikusaanyaawo awamu n'abantu bo abalisangibwa mu ggwe. Era mu ggwe tebalireka jjinja lizimbiddwa ku linnewaalyo, kubanga tewamanya kiseera Katonda kye yajjiramu okukulokola.”
[45] Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abaali batundiramu,
[46] nga bw'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.”
[47] Yesu yayigirizanga buli lunaku mu Ssinzizo. Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, ne basala amagezi okumuzikiriza.
[48] Ne batalaba kye banaakola, kubanga abantu bonna omwoyo gwabwe baali bagutadde ku ye, nga bamuwuliriza.