Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 10:08

[1] Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, eyitibwa Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, yali eneetera okutuuka.

[2] Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne bagezaako okutta Yesu, kyokka mu magezi, kubanga baali batya abantu.

[3] Sitaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri.

[4] Awo Yuda oyo n'agenda n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abakulu b'abakuumi b'Ennyumba ya Katonda, nga bw'anaawaayo Yesu gye bali.

[5] Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa ensimbi.

[6] N'akkiriza, era n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu gye bali, ng'ekibiina ky'abantu tekiriiwo.

[7] Awo olunaku olw'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, oluteekwa okuttirwako endiga entoototo ey'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne lutuuka.

[8] Yesu n'atuma Peetero ne Yowanne, n'agamba nti: “Mugende mututegekere Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, tugirye.”

[9] Bo ne bamubuuza nti: “Oyagala tutegeke wa?”

[10] N'abagamba nti: “Laba, bwe munaaba nga muyingira mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira,

[11] era mugambe nnannyini nnyumba nti: ‘Omuyigiriza akubuuza nti ekisenge kiruwa, ye n'abayigirizwa be mwe banaaliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?’

[12] Ye anaabalaga ekisenge ekinene ekiri waggulu, ekiwedde okwaliirwa, mutegeke omwo.”

[13] Awo ne bagenda, ne basanga nga byonna biri nga Yesu bwe yabagamba, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.

[14] Awo essaawa bwe yatuuka, Yesu n'atuula okulya awamu n'abatume be.

[15] N'abagamba nti: “Njagadde nnyo okulya awamu nammwe Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako, nga sinnaba kubonaabona.

[16] Mbagamba nti siryongera kugirya, okutuusa lw'erituukirizibwa mu Bwakabaka bwa Katonda.”

[17] Awo n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, era n'agamba nti: “Mukwate kino mugabane mwenna,

[18] kubanga, mbagamba nti okuva kati sijja kwongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”

[19] Awo n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'abawa ng'agamba nti: Kino mubiri gwange [oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga kino okunzijukira.”

[20] Ekyekiro bwe kyaggwa, n'abawa n'ekikopo mu ngeri ye emu, ng'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda n'ekakasibwa n'omusaayi gwange oguyiibwa ku lwammwe.]

[21] “Naye, laba, oyo agenda okundyamu olukwe ali nange ku lujjuliro.

[22] Ddala Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyategekebwa, kyokka omuntu oyo ajja okumulyamu olukwe, nga wa kubonaabona!”

[23] Awo bo ne beebuuzaganya ani ku bo agenda okukola ekyo.

[24] Olwo ne wabaawo empaka mu bayigirizwa nti ani ku bo alowoozebwa nti ye asinga okuba oweekitiibwa.

[25] Yesu n'abagamba nti: “Bakabaka b'amawanga bafugisa bukambwe, era abo ababa n'obuyinza ku bantu, beeyita bayambi baabwe.

[26] Naye mmwe si bwe mutyo, wabula asinga okuba oweekitiibwa mu mmwe, abe ng'asembayo era omukulembeze abe ng'omuweereza.

[27] Kale asinga okuba oweekitiibwa ye aluwa? Oyo atudde okulya, oba oyo aweereza? Si oyo atudde okulya? Naye nze mu mmwe ndi ng'omuweereza.

[28] “Mmwe bantu abasigadde nange mu bizibu byange.

[29] Nange mbateekerateekera Obwakabaka nga Kitange bwe yateekerateekera nze,

[30] mulyoke muliire era munywere ku mmeeza yange mu Bwakabaka bwange. Era mulituula ku ntebe ezeekitiibwa ne musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.”

[31] Awo Yesu n'agamba nti: “Simooni, Simooni, Sitaani asabye akkirizibwe okubawewa mmwe ng'eŋŋaano.

[32] Naye nze nkusabidde ggwe, okukkiriza kwo kuleme kuggwaawo. Era ggwe bw'olimala okwenenya, onywezanga baganda bo.”

[33] Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, neetegese okugenda naawe mu kkomera. Era neetegese okufa naawe.”

[34] Yesu n'agamba nti: “Peetero, nkugamba nti olwaleero, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu nti tommanyi.”

[35] Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temututte nsawo ziterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, wadde engatto, waaliwo kye mwetaaga ne mutakifuna?” Ne baddamu nti: “Tewaali.”

[36] N'abagamba nti: “Naye kaakano oyo alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n'oyo alina ensawo ng'ey'abasabiriza naye akole bw'atyo. Era atalina kitala, atunde ekkooti ye akigule,

[37] kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa nti: ‘Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka,’ kiteekwa okutuukirizibwa ku nze. Ebyo ebifa ku nze biteekwa okutuukirizibwa.”

[38] Abayigirizwa ne bagamba nti: “Mukama waffe, laba, waliwo ebitala bibiri wano.” Ye n'abagamba nti: “Kimala!”

[39] Awo Yesu n'afuluma, n'alaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, nga bwe yali amanyidde okukola. Abayigirizwa be nabo ne bagenda naye.

[40] Bwe yatuukayo, n'abagamba nti: “Mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.”

[41] Awo ye n'abaawukanako ebbanga ng'ery'ejjinja erikasukibwa we likoma, n'afukamira ne yeegayirira Katonda.

[42] N'agamba nti: “Kitange, bw'oyagala, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona, naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” [

[43] Awo malayika n'ava mu ggulu n'amulabikira, n'amugumya.

[44] Ng'ali mu bulumi bungi, ne yeeyongera okwegayirira ennyo Katonda, era entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi nga gatonnya wansi.]

[45] Awo bwe yasituka ng'ava okwegayirira Katonda, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'okunakuwala.

[46] N'abagamba nti: “Lwaki mwebaka? Mugolokoke, mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.”

[47] Yesu yali akyayogera, ekibiina ky'abantu ne kijja, nga kikulembeddwa oyo ayitibwa Yuda omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'asemberera Yesu okumunywegera.

[48] Kyokka Yesu n'amugamba nti: “Yuda, olyamu Omwana w'Omuntu olukwe ng'omunywegera?”

[49] Abayigirizwa abaali beetoolodde Yesu bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, tuteme n'ebitala?”

[50] Awo omu ku bo n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo.

[51] Kyokka Yesu n'agamba nti: “Mukome ku ekyo!” N'akwata ku kutu kw'omuddu oyo, n'amuwonya.

[52] Awo Yesu n'agamba bakabona abakulu n'abakuumi b'Essinzizo, n'abantu abakulu mu ggwanga abajja okumukwata, nti: “Muzze nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi?

[53] Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo, ne mutankwata. Naye kino kye kiseera kyammwe, era kye kiseera ky'obuyinza bw'ekizikiza.”

[54] Awo ne bakwata Yesu, ne bamutwala mu nnyumba ya Ssaabakabona, Peetero n'agoberera nga yeesuddeko ebbanga.

[55] Bwe baamala okukuma omuliro mu luggya wakati, ne batuula wamu. Peetero n'atuula wamu nabo.

[56] Awo omuzaana omu bwe yamulaba ng'atudde mu kitangaala eky'omuliro, n'amwekkaanya, n'agamba nti: “N'ono yali ne Yesu.”

[57] Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Mukazi ggwe, omuntu oyo simumanyi.”

[58] Era nga wayiseewo akaseera, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, si bwe kiri!”

[59] Ate nga wayiseewo ekiseera kya ssaawa nga emu, omuntu omulala n'akakasa ng'agamba nti: “Ddala n'ono yali wamu ne Yesu, kubanga naye Mugalilaaya.”

[60] Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, simanyi ky'ogamba!” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima.

[61] Mukama waffe n'akyuka n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, nga bwe yali amugambye nti: “Olwaleero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”

[62] Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo.

[63] Awo abasajja abaali bakuuma Yesu nga musibe, ne bamukudaalira nga bwe bamukuba.

[64] Ne bamubikka ku maaso, ne bamubuuza nti: “Tulage, ani akukubye?”

[65] Ne bamwogerako n'ebirala bingi ebivuma.

[66] Awo obudde bwe bwakya, abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne baleeta Yesu mu lukiiko lwabwe.

[67] Ne bagamba nti: “Tubuulire oba nga ggwe Kristo.” N'abagamba nti: “Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza,

[68] era ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu.

[69] Naye okuva kati, Omwana w'Omuntu agenda kutuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza.”

[70] Bonna ne bagamba nti: “Kwe kugamba, ggwe oli Mwana wa Katonda?” Ye n'abagamba nti: “Nga bwe mugambye, nze wuuyo.”

[71] Ne bagamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Ffe ffennyini tuwulidde ebigambo by'ayogedde.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Lukka — Chapters