[1] Awo olwatuuka, Yesu bwe yayingira ku Sabbaato mu nnyumba y'omu ku bakulembeze b'Abafarisaayo okulya emmere, bo ne bamwekaliriza amaaso.
[2] Omuntu omulwadde w'entumbi yali awo mu maaso ga Yesu.
[3] Yesu n'agamba abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato, oba nedda?”
[4] Naye bo ne basirika. Awo Yesu n'amukwatako, n'amuwonya, n'amusiibula.
[5] N'agamba nti: “Ani ku mmwe, endogoyi ye oba ente ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangwago ku lunaku lwa Sabbaato?”
[6] Ne batayinza kino kukiddamu.
[7] Yesu bwe yalaba abayitiddwa ku mbaga nga beeroboza ebifo ebisinga okuba ebyekitiibwa, n'abagerera olugero, n'abagamba nti:
[8] “Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo ekisinga okuba ekyekitiibwa, sikulwa nga wabaawo omulala akusinga ekitiibwa ayitiddwa,
[9] oli eyabayise mwembi, n'ajja n'akugamba nti: ‘Viira ono mu kifo,’ olwo n'ogenda okutuula mu kifo ekisembayo, ng'oswadde.
[10] Naye bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo ekisembayo, oli eyakuyise bw'ajja, alyoke akugambe nti: ‘Munnange, sembera eno waggulu,’ olwo olissibwamu ekitiibwa mu maaso ga bonna b'otudde nabo okulya.
[11] Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
[12] Ate n'agamba n'oyo eyamuyita nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo oba baganda bo, oba ab'ekika kyo, oba baliraanwa bo abagagga, si kulwa nga nabo bakuyita, n'osasulwa.
[13] Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, bakateeyamba, balema, bamuzibe.
[14] Olwo oliba n'omukisa, kubanga tebalina kya kukusasula. Katonda alikusasula ng'abalungi bazuukidde.”
[15] Awo omu ku baali batudde awamu okulya bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Wa mukisa oyo alirya emmere mu Bwakabaka bwa Katonda!”
[16] Yesu n'amugamba nti: “Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene, n'ayita bangi.
[17] Obudde obw'embaga bwe bwatuuka, n'atuma omuddu we okugamba abayitiddwa nti: ‘Mujje, kubanga byonna bimaze okutegekebwa.’
[18] Naye bonna, nga bali ng'abaalagaanye, ne batandika okwewolereza. Eyasooka yagamba nti: ‘Naguze ekibanja, nteekwa okugenda okukirambula. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’
[19] Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigogo gy'ente etaano, era ŋŋenda kugigeza. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’
[20] N'omulala n'agamba nti: ‘Nawasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’
[21] “Awo omuddu n'addayo, bino n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyinimu n'asunguwala, n'agamba omuddu we nti: ‘Fuluma mangu, oyiteeyite mu nguudo ne mu buguudo bw'ekibuga, oleete wano abaavu ne bakateeyamba ne bamuzibe n'abalema.’
[22] Omuddu n'agamba nti: ‘Mukama wange, kye walagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ekifo.’
[23] Mukama w'omuddu oyo n'amugamba nti: ‘Fuluma, oyiteeyite mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule.
[24] Mbagamba nti ku basajja abo abaabadde bayitiddwa, tewali anaalya ku mbaga yange.’ ”
[25] Abantu bangi nnyo baali bagenda ne Yesu, n'abakyukira n'abagamba nti:
[26] “Singa omuntu ajja gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina, ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, wadde n'obulamu bwe bwennyini, tayinza kuba muyigirizwa wange.
[27] Buli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.
[28] “Kale ani ku mmwe aba ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira ebyetaagibwa, alabe oba ng'alina ebimala?
[29] Sikulwa ng'amala okuteekawo omusingi, n'atasobola kumaliriza, bonna abalaba ne batandika okumusekerera
[30] nga bagamba nti: ‘Omuntu ono yatandika okuzimba, n'atasobola kumaliriza?’
[31] “Oba kabaka ki aba agenda okulwanyisa kabaka omulala mu lutalo, atasooka kutuula n'alowooza oba ng'ayinza, n'abantu omutwalo ogumu, okusisinkana oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri?
[32] Bw'aba nga tayinza, atuma ababaka ng'oli akyali wala, n'asaba batabagane.
[33] Kale bwe kityo buli omu ku mmwe ateefiiriza byonna by'alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
[34] “Omunnyo gwa mugaso, naye singa omunnyo gusaabulukuka, gunazzibwamu gutya obuka bwagwo?
[35] Guba tegukyagasa mu ttaka, wadde awateekebwa ebigimusa, bagusuula busuuzi. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”