Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 10:23

[1] Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba emyoyo emibi gyonna ku bantu n'okuwonya endwadde.

[2] N'abatuma bagende bategeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era bawonye abalwadde.

[3] N'abagamba nti: “Mu lugendo luno, temugenda na kantu konna, newaakubadde omuggo, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, newaakubadde emmere, wadde ensimbi, era temuba na kkanzu yaakubiri.

[4] Ennyumba gye muyingiramu ne babaaniriza, mwe mubanga musula okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.

[5] Mu kibuga gye bagaana okubaaniriza, muveeyo era bwe muba nga muvaayo, mwekunkumuleko n'enfuufu eba ebakutte ku bigere, olw'okulabula abantu abo.”

[6] Awo abayigirizwa ne bagenda, ne batambula wonna wonna mu byalo, nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi era nga bawonya abalwadde buli wantu.

[7] Awo Herode, omufuzi wa Galilaaya, n'awulira byonna ebyaliwo, n'asoberwa nnyo, kubanga abantu abamu baagambanga nti: “Yowanne Omubatiza azuukidde!”

[8] Abalala nga bagamba nti: “Eliya alabise”, n'abalala nti: “Omu ku balanzi ab'edda azuukidde.”

[9] Herode n'agamba nti: “Yowanne nze nalagira n'atemwako omutwe, ate oyo ani gwe mpulirako ebyenkana awo?” N'agezaako okumulaba.

[10] Abatume ne bakomawo, ne bategeeza Yesu byonna bye baakola. N'abatwala, ne bagenda naye bokka mu kibuga ekiyitibwa Betusayida.

[11] Abantu bangi nnyo bwe baakimanya, ne bamugoberera. Bwe yamala okubaaniriza, n'ababuulira ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era n'awonya abaali beetaaga okuwonyezebwa.

[12] Obudde bwe bwali butandika okuwungeera, abayigirizwa ekkumi n'ababiri ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Abantu basiibule bagende mu bubuga ne mu byalo ebiriraanye wano, bafune emmere ne we banaasula, kubanga wano tuli mu kifo kya ddungu.”

[13] Kyokka Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Ne baddamu nti: “Tulinawo emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri. Mpozzi okuggyako nga tugenda ne tugulira abantu bano bonna emmere!”

[14] Abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze mu bibinja nga buli kimu kirimu ng'amakumi ataano.”

[15] Ne bakola bwe batyo, bonna ne babatuuza.

[16] Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso ge eri eggulu, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abiwa abayigirizwa be babigabire abantu.

[17] Bonna ne balya ne bakkuta. Obutundutundu obwalemerawo, ne bukuŋŋaanyizibwa, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri.

[18] Lwali lumu, Yesu yali asinza Katonda, nga n'abayigirizwa be weebali, n'ababuuza nti: “Abantu bwe baba banjogerako bampita ani?”

[19] Ne baddamu nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza, abalala Eliya, n'abalala bagamba nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.”

[20] Awo Yesu n'ababuuza nti: “Naye mmwe, mumpita ani?” Peetero n'addamu nti: “Ggwe Kristo wa Katonda.”

[21] Awo Yesu n'abakuutira nnyo ekyo obutakibuulirako muntu n'omu.

[22] Era n'agamba nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.”

[23] Awo n'agamba bonna nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe buli lunaku, n'angoberera.

[24] Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Wabula buli afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.

[25] Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate ne yeezikiriza, oba ne yeeretera okufiirwa obulamu bwe?

[26] “Buli muntu akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne mu kitiibwa kya Kitaawe, ne mu kya bamalayika abatukuvu.

[27] Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Obwakabaka bwa Katonda.”

[28] Bwe waayitawo ennaku nga munaana nga Yesu amaze okwogera ebyo, n'atwala Peetero ne Yowanne ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusinza Katonda.

[29] Bwe yali ng'akyasinza, endabika y'amaaso ge n'efuuka, era ebyambalo bye ne bitukula, ne byakaayakana.

[30] Awo abasajja babiri, Musa ne Eliya, ne balabika nga boogera naye.

[31] Baalabikira mu kitiibwa, era ne boogera ku ngeri y'okufa kwe, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemu.

[32] Peetero ne banne be yali nabo, baali bakwatiddwa otulo, kyokka bwe baazuukuka, ne balaba ekitiibwa kya Yesu, n'abasajja ababiri abaali bayimiridde naye.

[33] Abasajja bano bwe baali bava awali Yesu, Peetero n'amugamba nti: “Mukama waffe, kirungi tubeere wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu, emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'agamba.

[34] Bwe yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, awo abayigirizwa ne batya nga kibabikka.

[35] Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulonde wange, mumuwulirize.”

[36] Eddoboozi bwe lyamala okwogera, abayigirizwa ne balaba Yesu ng'asigaddewo yekka. Kye baalaba ne bakisirikira, ne batakibuulirako muntu mulala mu nnaku ezo.

[37] Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be abasatu bwe baava ku lusozi, ekibiina ky'abantu kinene ne kijja okusisinkana Yesu.

[38] Awo omusajja eyali mu kibiina ky'abantu n'aleekaana nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, kwatirwa mutabani wange ekisa, ye mwana wange yekka!

[39] Omwoyo omubi gumukwata, amangwago n'awowoggana, ne gumujugumiza, n'abimba ejjovu, era okumuvaako, gumala kumumaliramu ddala maanyi.

[40] Neegayiridde abayigirizwa bo okugumugobako, ne balemwa.”

[41] Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza?” Awo n'agamba kitaawe w'omulenzi nti: “Mutabani wo muleete wano.”

[42] Omulenzi bwe yali ng'ajja, omwoyo omubi ne gumukuba ekigwo, era ne gumujugumiza. Yesu n'aguboggolera, n'awonya omulenzi era n'amuddiza kitaawe.

[43] Bonna ne bawuniikirira olw'obuyinza bwa Katonda. Abantu baali bakyewuunya byonna Yesu by'akoze, ye n'agamba abayigirizwa be nti:

[44] “Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange bino: Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu.”

[45] Kyokka bo ne batategeera ky'agambye. Kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera, ate ne batya okumubuuza amakulu gaakyo.

[46] Awo abayigirizwa ne bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.

[47] Yesu n'amanya kye balowooza, n'aleeta omwana omuto, n'amuyimiriza kumpi naye.

[48] N'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba ayanirizza Katonda eyantuma, kubanga oyo asinga okuba omwetoowaze mu mmwe mwenna, ye asinga okuba oweekitiibwa.”

[49] Yowanne n'agamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.”

[50] Yesu n'amugamba nti: “Temumuziyiza, kubanga atabalwanyisa taba mulabe wammwe.”

[51] Awo olwatuuka, ennaku za Yesu ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali nga ziri kumpi okutuuka, n'amalirira okugenda e Yerusaalemu.

[52] N'atuma ababaka bamukulemberemu, ne bagenda ne bayingira mu kabuga k'Abasamariya akamu, okumutegekera byonna.

[53] Kyokka abantu baayo ne bagaana okumwaniriza, kubanga yali alabikira ddala nti agenda Yerusaalemu.

[54] Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanne, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?”

[55] Yesu n'abakyukira n'abanenya.

[56] Awo ne bagenda mu kabuga akalala.

[57] Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga batambula, omuntu omu n'agamba Yesu nti: “Nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.”

[58] Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.”

[59] Ate n'agamba omulala nti: “Yitanga nange.” Kyokka oyo n'addamu nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”

[60] Yesu n'amugamba nti: “Leka abo abali ng'abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda otegeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda.”

[61] Omuntu omulala n'agamba nti: “Ssebo, nja kuyitanga naawe, naye nzikiriza mmale okusiibula ab'ewaffe.”

[62] Yesu n'amugamba nti: “Buli akwata enkumbi okulima ate n'aba ng'akyatunula emabega, tayinza kuba wa mugaso mu Bwakabaka bwa Katonda.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Lukka — Chapters