[1] Awo mu kiseera ekyo, ne wabaawo abaabuulira Yesu ku Bagalilaaya Pilaato be yatta, n'atabula omusaayi gwabwe wamu n'ogw'ebitambiro byabwe.
[2] Yesu n'abaddamu nti: “Olw'okubanga Abagalilaaya bano baabonyaabonyezebwa batyo, mulowooza nti baali boonoonyi okusinga Abagalilaaya abalala bonna?
[3] Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira.
[4] Oba bali ekkumi n'omunaana, omunaala be gwagwako e Silowaamu ne gubatta mulowooza nti bo baali boonoonyi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemu?
[5] Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira.”
[6] Awo Yesu n'agera olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini, ogwali gusimbiddwa mu nnimiro ye ey'emizabbibu. N'ajja okugunoonyaako ebibala, n'atasangako na kimu.
[7] N'agamba omulimi w'ennimiro nti: ‘Laba, kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne sibisangako. Gutemewo, ate gwonoonera ki ettaka?’
[8] Kyokka omulimi w'ennimiro n'amuddamu nti: ‘Mukama wange, guleke ne mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera n'okuguteekako ebigimusa.
[9] Singa gulibala ebibala omwaka ogujja, kirungi; bwe gutalibala, oligutemawo.’ ”
[10] Ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu yali ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro.
[11] Waaliwo omukazi eyaliko omwoyo omubi, ogwali gumumazeemu amaanyi okumala emyaka kkumi na munaana. Yali yeewese, era nga tayinza kwegolola n'akatono.
[12] Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti: “Mukazi wattu, oggyiddwako obulwadde bwo.”
[13] N'amukwatako, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda.
[14] Kyokka omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga, kubanga Yesu awonyezza ku Sabbaato. N'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ennaku ziri mukaaga eziteekwa okukolerwako emirimu. Kale mujjenga ku ezo muwonyezebwe, naye si ku lunaku lwa Sabbaato.”
[15] Mukama waffe n'amuddamu nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu ku mmwe tayimbula nte ye, oba ndogoyi ye mu kisibo ku Sabbaato, n'agitwala okunywa?
[16] Kale omukazi ono, muzzukulu wa Aburahamu, Sitaani gw'abadde asibye okumala emyaka ekkumi n'omunaana, abadde tasaanidde kuggyibwa mu busibe buno ku lunaku lwa Sabbaato?”
[17] Bwe yali ng'ayogera bino, abalabe be ne bakwatibwa ensonyi, ate ekibiina ky'abantu kyonna ne kisanyuka olwa byonna eby'ettendo bye yali akola.
[18] Yesu ate n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa na ki, era nnaabugeraageranya na ki?
[19] Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasuula mu nnimiro ye, ne kamera, ne kavaamu omuti, era ebinyonyi ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.”
[20] Yesu era n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeraageranya na ki?
[21] Bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
[22] Awo Yesu n'ayitaayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza, ng'agenda e Yerusaalemu.
[23] Omu n'amubuuza nti: “Mukama wange, abalokolebwa be batono?” Yesu n'abagamba nti:
[24] “Mufube okuyingirira mu mulyango omufunda. Mbagamba nti bangi baligezaako okuyingira, ne batasobola.
[25] Nnannyini nnyumba bw'aliba amaze okusituka n'aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru, ne mutandika okukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Alibaddamu nti: ‘Sibamanyi gye muva.’
[26] Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigirizanga mu nguudo zaffe.’
[27] Aliddamu ng'agamba nti: ‘Simanyi gye muva. Muve we ndi, mwenna abakozi b'ebibi.’
[28] Walibaawo okukaaba n'okuluma obujiji, bwe muliraba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'abalanzi bonna, mu Bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru.
[29] Era abantu baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne ddyo, ne batuula ku mbaga mu Bwakabaka bwa Katonda.
[30] Era laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”
[31] Mu kiseera ekyo kyennyini, Abafarisaayo abamu ne bajja, ne bagamba Yesu nti: “Va wano ogende, kubanga Herode ayagala kukutta.”
[32] Yesu n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Laba, ngoba emyoyo emibi ku bantu, era mponya abalwadde leero ne jjo, ate luli mmaliriza.’
[33] Naye leero ne jjo ne luli, nteekwa okwongera okutambula, kubanga tekiyinzika omulanzi okuttirwa awantu awalala okuggyako mu Yerusaalemu.
[34] “Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza?
[35] Laba ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa. Era mbagamba nti temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”