[1] Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo nga w'ali. Kigambo yali ne Katonda, era nga ye omu ne Katonda.
[2] Okuviira ddala olubereberye, Kigambo yali ne Katonda.
[3] Katonda yayita mu ye okutonda ebintu byonna. Tewali kintu na kimu ku bitonde, ekyatondebwa w'atali.
[4] Obulamu bwali mu ye, era obulamu obwo ne buleeta ekitangaala mu bantu.
[5] Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza, ekizikiza ne kitasobola kuwangula kitangaala.
[6] Katonda yatuma omuntu, erinnya lye Yowanne,
[7] n'ajja okutegeeza abantu ebifa ku kitangaala. Yajja okubategeeza, bonna balyoke bawulire era bakkirize.
[8] Yowanne ono si ye yali ekitangaala, wabula yajja ategeeze abantu ebifa ku kitangaala.
[9] Ekitangaala kyennyini, ekyakira buli muntu, kyali kijja mu nsi.
[10] Kigambo yali mu nsi. Katonda yatonda ensi ng'ayita mu ye. Naye Kigambo bwe yali mu nsi, ensi teyamutegeera.
[11] Yajja mu nsi ye, abantu be ne batamwaniriza.
[12] Naye abo abaamwaniriza ne bamukkiriza, yabasobozesa okufuuka abaana ba Katonda.
[13] Baafuuka abaana ba Katonda, mu ngeri eteri ya bulijjo abantu gye bazaalibwamu, wabula Katonda yennyini ye Kitaabwe.
[14] Kigambo yafuuka omuntu, n'abeera wamu naffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng'ajjudde ekisa era n'amazima. Ekitiibwa ekyo, kye yafuna ye, Omwana omu bw'ati yekka owa Katonda.
[15] Yowanne yakangula eddoboozi ng'amwogerako nti: “Ono gwe nayogerako, bwe nagamba nti: ‘Oyo anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga yabaawo nga nze sinnabaawo.’ ”
[16] Ku bugagga bwe obutakoma, ffenna kwe twagabana, ng'atuwa ebirabo eby'okumukumu.
[17] Katonda yawa Amateeka ng'ayita mu Musa, kyokka okusaasira era n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo.
[18] Tewali yali alabye Katonda, wabula Omwana we omu yekka, nga ye omu ne Katonda era abeerera ddala okumpi ne Kitaawe, ye yatubuulira Katonda bw'ali.
[19] Bino bye bigambo Yowanne Omubatiza bye yayogera, Abayudaaya ab'omu Yerusaalemu bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti: “Ggwe ani?”
[20] Teyagaana kuddamu, wabula yayatulira ddala nti: “Si nze Kristo.”
[21] Ne bamubuuza nti: “Kale ggwe ani? Ggwe Eliya?” Yowanne n'addamu nti: “Nedda.”
[22] Awo ne bamugamba nti: “Abaatutumye tunaabagamba nti ggwe ani? Weeyita otya?”
[23] N'addamu nti: “Nze ddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yayogera.”
[24] Abaatumibwa baali ba mu Bafarisaayo.
[25] Awo ne babuuza Yowanne nti: “Kale lwaki obatiza oba nga si ggwe Kristo oba Eliya, oba Omulanzi oli?”
[26] Yowanne n'abaddamu nti: “Nze mbatiza na mazzi, naye wakati mu mmwe wayimiriddewo gwe mutamanyi,
[27] anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”
[28] Ebyo byabaawo e Betaniya, emitala w'omugga Yorudaani. Yowanne gye yabatirizanga.
[29] Ku lunaku olwaddirira, Yowanne n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Laba, Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo, aggyawo ebibi by'ensi.
[30] Ye wuuyo gwe nayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’
[31] Nange nali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n'amazzi, ye alyoke amanyibwe abantu ba Yisirayeli.”
[32] Yowanne n'ayatula ng'agamba nti: “Nalaba Mwoyo ng'ava mu ggulu, ng'afaanana ng'enjiibwa, ng'akka ku ye.
[33] Nze nali sinnamumanya, wabula Katonda eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'oliraba nga Mwoyo akka n'abeera ku ye, ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’
[34] Ekyo nakiraba, era mbategeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.”
[35] Ku lunaku olwaddirira, era Yowanne yali akyali awo ng'ayimiridde wamu n'ababiri ku bayigirizwa be,
[36] n'alaba Yesu ng'atambula, n'agamba nti: “Laba Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo!”
[37] Abayigirizwa bombi ne bamuwulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu.
[38] Awo Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'abalaba nga bamugoberera, n'ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamuddamu nti: “Rabbi, osula wa?” (Rabbi, amakulu gaakyo, Muyigiriza).
[39] Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulabeyo.” Ne bagenda ne balaba gy'asula, ne bamala naye olunaku olwo. Obudde bwali nga essaawa kkumi ez'olweggulo.
[40] Omu ku abo abaawulira Yowanne ng'ayogera ne bagenda ne Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni.
[41] Ono yasooka kusanga muganda we Simooni, n'amugamba nti: “Messiya, tumulabye.” (Messiya, kwe kugamba nti “Kristo,” ekitegeeza nti “Eyafukibwako Omuzigo”).
[42] N'aleeta Simooni eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti “Ggwe Simooni, omwana wa Yona, onooyitibwanga Keefa” (Keefa ye Peetero, ekitegeeza nti “Lwazi”).
[43] Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'asalawo okugenda e Galilaaya. N'asanga Filipo, n'amugamba nti: “Yitanga nange.”
[44] Filipo yali w'e Betusayida, ekibuga Andereya ne Peetero gye baabeeranga.
[45] Filipo n'asanga Natanayili, n'amugamba nti: “Oyo Musa gwe yayogerako mu Kitabo ky'Amateeka, era n'abalanzi gwe baayogerako mu bye baawandiika, tumulabye. Ye Yesu ow'e Nazaareeti.”
[46] Natanayili n'amubuuza nti: “E Nazaareeti eyinza okuvaayo akalungi?” Filipo n'amuddamu nti: “Jjangu olabe.”
[47] Yesu bwe yalaba Natanayili ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti: “Laba Omuyisirayeli wawu, ataliimu bukuusa!”
[48] Natanayili n'amubuuza nti: “Wammanyira wa?” Yesu n'amuddamu nti: “Nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini, Filipo nga tannakuyita.”
[49] Natanayili n'amuddamu nti: “Muyigiriza, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Yisirayeli!”
[50] Yesu n'amugamba nti: “Okkirizza olw'okuba nga nkugambye nti nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini? Oliraba ebisinga ebyo.”
[51] Era n'amugamba nti: “Mazima ddala nkugamba nti muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku Mwana w'Omuntu.”