Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:01

[1] Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we. Oyo ne bamumuloopera nti asaasaanyizza ebintu bye.

[2] Awo n'amuyita n'amugamba nti: ‘Kino kye nkuwuliddeko kiri kitya? Nnyonnyola ebifa ku buwanika bwo, kubanga tokyayinza kusigala ng'oli muwanika.’

[3] Omuwanika ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika? Sirina maanyi ga kulima, ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza.

[4] Kati mmanyi kye nnaakola, balyoke bannyanirize mu nnyumba zaabwe nga ngobeddwa ku buwanika.’

[5] “Awo n'ayita buli alina ebbanja lya mukama we. N'agamba eyasooka nti: ‘Mukama wange akubanja ki?’

[6] N'addamu nti: ‘Endebe z'omuzigo ebikumi bibiri.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa. Tuula mangu, owandiike kikumi.’

[7] Olwo n'agamba omulala nti: ‘Ate ggwe obanjibwa ki?’ N'addamu nti ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa, owandiike kinaana.’

[8] “Awo omuwanika ono omukumpanya n'atendebwa mukama we olw'amagezi ge yasala. Abantu ab'ensi bagezigezi okusinga abantu ab'ekitangaala, mu nkolagana yaabwe.

[9] Mbagamba nti mwefunire emikwano nga mugaba ku bugagga obw'ensi, bwe buliba nga tebukyagasa, mulyoke mwanirizibwe mu maka ag'olubeerera.

[10] “Oyo aba omwesigwa ku kitono, aba mwesigwa ne ku kinene; n'oyo ataba mwesigwa ku kitono, taba mwesigwa ne ku kinene.

[11] Kale bwe mutaba beesigwa mu bugagga obw'ensi, ani alibateresa obugagga bwennyini?

[12] Era bwe mutaba beesigwa ku bya mulala, ebyammwe ani alibibawa?

[13] “Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri, kubanga alikyawa omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.”

[14] Awo Abafarisaayo abaali abaagazi b'ebyobugagga, ne bawulira ebyo byonna, ne basekerera Yesu.

[15] Ye n'abagamba nti: “Mmwe muli bantu abeefuula abalungi mu maaso g'abantu, kyokka Katonda amanyi emitima gyammwe. Abantu kye bagulumiza, kiba kya muzizo mu maaso ga Katonda.

[16] “Amateeka ga Musa n'ebyawandiikibwa abalanzi bye byaliwo okutuusa Yowanne Omubatiza lwe yajja. Naye okuva olwo, Obwakabaka bwa Katonda bwe butegeezebwa abantu ng'Amawulire Amalungi, era buli muntu afuba okubuyingiramu olw'amaanyi.

[17] Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga akanukuta akamu okuggyibwa mu mateeka ga Musa.

[18] “Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze. Era oyo awasa omukazi agobeddwa bba, aba ayenze.

[19] “Waaliwo omuntu omugagga, eyayambalanga engoye eza kakobe, n'engoye ezinekaaneka, era eyabeeranga mu bulamu obw'okwejalabya buli lunaku.

[20] Waaliwo n'omwavu, erinnya lye Laazaro, eyali ajjudde amabwa, era eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo.

[21] Laazaro ono yeegombanga okulya n'okukkuta obukunkumuka bw'emmere obwagwanga, nga buva ku mmeeza y'omugagga. Era embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ge.

[22] “Awo olwatuuka, omwavu oyo n'afa, n'atwalibwa bamalayika awali Aburahamu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa.

[23] Ng'ali mu bulumi bungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Aburahamu, n'alengera ne Laazaro awali Aburahamu.

[24] Awo n'akoowoola ng'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nkwatirwa ekisa otume Laazaro, annyike akasammambiro k'olunwe lwe mu mazzi, avubirize olulimi lwange, kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’

[25] “Aburahamu n'agamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nti ebirungi ebibyo wabifuna ng'okyali mulamu, ye Laazaro n'afuna ebitali birungi. Kaakati ye wano asanyuka, nga ggwe oli mu bulumi obungi.

[26] Ate ebyo byonna ng'obitadde ku bbali, waateekebwawo olukonko lunene wakati waffe nammwe, abo abaagala okuva eno okujja gye muli tebayinza, era tewali ayinza kuva eyo okujja gye tuli.’

[27] “Awo omugagga n'agamba nti: ‘Kale nno ssebo, nkwegayiridde, tuma Laazaro mu nnyumba ya kitange,

[28] kubanga nninayo baganda bange bataano, agende abalabule, sikulwa nga nabo bajja mu kifo kino eky'obulumi obungi.’

[29] “Aburahamu n'agamba nti: ‘Balina amateeka ga Musa n'abalanzi, bawulirenga abo.’

[30] Omugagga n'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nedda, naye singa wabaawo azuukira n'agenda gye bali, baneenenya.’

[31] Aburahamu n'agamba nti: ‘Oba nga tebawulira Musa na balanzi, tebajja kukkiriza newaakubadde wabaawo azuukira.’ ”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Lukka — Chapters