[1] Awo Yesu n'abagerera olugero, okubalaga nti bateekwa bulijjo okwegayirira Katonda awatali kukoowa.
[2] N'agamba nti: “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, ataatyanga Katonda era atassangamu muntu kitiibwa.
[3] Waaliwo ne nnamwandu mu kibuga ekyo, eyajjanga ew'omulamuzi oyo, n'agamba nti: ‘Lamula ontaase omulabe wange.’
[4] Omulamuzi n'amala ekiseera ng'akyagaanyi, kyokka oluvannyuma n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Newaakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa,
[5] naye olw'okubanga nnamwandu ono antawaanya, nja kulamula mmutaase, aleme kujjanga kunkooyesa lutata.’ ”
[6] Awo Mukama waffe n'agamba nti: “Muwulire omulamuzi oyo omubi ky'agamba.
[7] Kale Katonda talitaasa abalondemu be abamukoowoola emisana n'ekiro? Alirwawo nga tannabayamba?
[8] Mbagamba nti alibataasa mangu. Wabula Omwana w'Omuntu bw'alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
[9] Abo abaali beerowoozaako okuba abalungi, nga banyooma abalala, Yesu n'abagerera olugero luno nti:
[10] “Abantu babiri baayambuka mu Ssinzizo okusinza. Omu yali Mufarisaayo, omulala musolooza wa musolo.
[11] “Omufarisaayo n'ayimirira, n'asinza Katonda mu mutima gwe ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nkwebaza, kubanga siri nga bantu balala, abanyazi, abakumpanya, abenzi. Era siri ng'omusolooza w'omusolo ono.
[12] Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, mpaayo ekitundu ekimu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna.’
[13] Kyokka omusolooza w'omusolo n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge eri eggulu, wabula ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti: ‘Ayi Katonda, nsaasira nze omwonoonyi!’
[14] Mbagamba nti oyo yaddayo mu nnyumba ye ng'ali bulungi ne Katonda, kyokka si oli, kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
[15] Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, kyokka abayigirizwa bwe baabalaba, ne babaziyiza nga bababoggolera.
[16] Yesu n'ayita abaana abo ng'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gyendi, temubaziyiza, kubanga abafaanana nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda.
[17] Mazima mbagamba nti buli muntu ateesiga Katonda ng'omwana omuto bwe yeesiga bakadde be, si wa kubuyingiramu.”
[18] Awo omukungu omu n'abuuza Yesu nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?”
[19] Yesu n'amugamba nti: “Lwaki ompise omulungi? Tewali mulungi okuggyako Katonda yekka.
[20] Ebiragiro obimanyi: toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”
[21] Omukungu n'agamba nti: “Bino byonna nabituukiriza okuviira ddala mu buto n'okutuusa kati.”
[22] Yesu bwe yawulira ekyo, n'amugamba nti: “Ekintu kimu ekikyakubulako okukola: tunda byonna by'olina, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
[23] Kyokka omukungu bwe yawulira ebyo, n'anakuwala, kubanga yali mugagga nnyo.
[24] Yesu bwe yalaba omukungu ono ng'anakuwadde, n'agamba nti: “Nga kizibu abagagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!
[25] Kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
[26] Abaawulira ebyo ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?”
[27] Yesu n'agamba nti: “Abantu bye batayinza, Katonda abiyinza.”
[28] Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe tuyitenga naawe.”
[29] Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti buli eyaleka ennyumba ye oba mukazi we, oba baganda be, oba bazadde be, oba baana be olw'Obwakabaka bwa Katonda,
[30] alifuna ebisingawo obungi mu mulembe guno, n'obulamu obutaggwaawo mu mulembe ogulijja.”
[31] Awo Yesu n'azza abayigirizwa be ku bbali, n'abagamba nti: “Laba twambuka e Yerusaalemu, era byonna ebyawandiikibwa abalanzi nga bifa ku Mwana w'Omuntu bijja kutuukirira:
[32] ajja kuweebwayo mu b'amawanga amalala, abajja okumusekerera, bamuvume, bamuwandire amalusu,
[33] bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna. Era bajja kumutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
[34] Abayigirizwa be tebaalina wadde ekimu kye baategeera ku ebyo. Amakulu g'ebigambo ebyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera ky'abagambye.
[35] Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'asemberedde ekibuga Yeriko, muzibe yali atudde ku mabbali g'ekkubo ng'asabiriza.
[36] Bwe yawulira ekibiina ky'abantu nga kiyitawo, n'abuuza nti: “Kiki ekyo?”
[37] Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo.
[38] Awo n'aleekaana nti: “Yesu, Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
[39] Abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye n'ayongera bwongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
[40] Awo Yesu n'ayimirira, n'alagira muzibe okuleetebwa w'ali. Muzibe bwe yasembera, Yesu n'amubuuza nti:
[41] “Oyagala nkukolere ki?” N'addamu nti: “Mukama wange, nsaba nzibuke amaaso.”
[42] Yesu n'amugamba nti: “Zibula, owonye olw'okukkiriza kwo.”
[43] Amangwago n'azibuka amaaso, n'agenda ne Yesu ng'agulumiza Katonda. Abantu bonna bwe baalaba kino, ne batendereza Katonda.