[1] Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza abantu, era ng'abategeeza Amawulire Amalungi, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja,
[2] ne bamugamba nti: “Tubuulire, olina buyinza bwa ngeri ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza obwo?”
[3] Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo. Mumbuulire,
[4] ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda oba bantu?”
[5] Awo bo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tugamba nti Katonda ye yamutuma, ajja kutubuuza nti lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza?
[6] Ate singa tugamba nti abantu be baamutuma, abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bakkiririza ddala nti Yowanne mulanzi.”
[7] Awo ne baddamu nti: “Tetumanyi yamutuma.”
[8] Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bintu bino.”
[9] Awo Yesu n'agerera abantu olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala, n'alwayo.
[10] Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Kyokka abapangisa ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu.
[11] N'ayongera okutuma omuddu omulala. N'oyo ne bamukuba ne bamuswazaswaza, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu.
[12] N'ayongera okutuma omuddu owookusatu. N'ono ne bamussaako ebiwundu, ne bamusuula ebweru.
[13] Awo nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba nti: ‘Kiki kye nnaakola? Nja kutuma omwana wange omwagalwa, mpozzi ye banaamussaamu ekitiibwa.’
[14] Kyokka abapangisa bwe baamulaba, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika. Tumutte, obusika bube bwaffe.’
[15] Awo ne bamufulumya ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alibakola atya?
[16] Alijja n'azikiriza abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala.” Bwe baawulira ebyo ne bagamba nti: “Ekyo kireme kubaawo!”
[17] Kyokka Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Kale kino ekyawandiikibwa kitegeeza ki? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’
[18] Buli agwa ku jjinja eryo, alimenyekamenyeka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”
[19] Awo abannyonnyozi b'amateeka ne bakabona abakulu ne bagezaako okukwata Yesu mu kaseera ako, kubanga baamanya nti olugero olwo yalugera nga lukwata ku bo, kyokka ne batya abantu.
[20] Bwe baali bakyalindirira akaseera akalala, ne batuma abakessi beefuule ng'abantu abalungi, bamukwase mu bigambo by'anaayogera, balyoke bamuweeyo eri omufuzi Omurooma.
[21] Abakessi bano ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nti by'oyogera ne by'oyigiriza bituufu, era tososola mu bantu, naye abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole.
[22] Kaakati ssebo, tubuulire: tukkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tetukkirizibwa?”
[23] Kyokka Yesu n'ategeera olukwe lwabwe, n'abagamba nti:
[24] “Mundage essente. Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne bagamba nti: “Bya Kayisaari.”
[25] Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
[26] Ne batasobola kumukwasa mu kintu na kimu kye yayogera mu maaso g'abantu. Ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
[27] Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti:
[28] “Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa, n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’
[29] Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana.
[30] N'owookubiri n'awasa nnamwandu oyo.
[31] Era n'owookusatu bw'atyo. Bonna omusanvu baamuwasa, ne bafa nga tebalese mwana.
[32] Oluvannyuma, omukazi naye n'afa.
[33] Kale ku lunaku olw'okuzuukira, omukazi oyo aliba muk'ani, nga bonna omusanvu baamuwasa?”
[34] Awo Yesu n'abagamba nti: “Abantu ab'oku nsi bawasa era bafumbirwa.
[35] Naye abo abalisaanyizibwa okuba mu mulembe ogwo, n'okuzuukira mu bafu, baliba tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa,
[36] “kubanga baliba tebakyayinza kufa nate. Baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda olw'okuba baliba bazuukidde.
[37] Ne Musa alaga nti abafu bazuukira, kubanga mu kitundu ekifa ku kisaka, ayogera ku Mukama nti Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.
[38] Katonda si wa bafu wabula wa balamu, kubanga bonna eri Katonda balamu.”
[39] Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne baddamu nti: “Muyigiriza, oyogedde bulungi.”
[40] Baayogera batyo kubanga tewaali yaguma kwongera kumubuuza bibuuzo.
[41] Awo Yesu n'abagamba nti: “Bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi?
[42] Dawudi yennyini mu kitabo kya Zabbuli, agamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti tuula ng'onninaanye, ku ludda lwange olwa ddyo,
[43] okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’
[44] Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?”
[45] Abantu bonna nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti:
[46] “Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale, n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga,
[47] era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”