[1] Awo Yesu n'ayimusa amaaso n'alaba abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu kifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo.
[2] N'alaba ne nnamwandu omwavu lunkupe ng'ateekamu bussente bubiri, obusembayo okuba obw'omuwendo omutono ddala.
[3] N'agamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu ono omwavu ataddemu kinene nnyo okusinga abalala bonna,
[4] kubanga bo abalala bonna batodde ku bingi bye balina ne bateeka mu birabo, kyokka ono omwavu ataddemu kyonna ky'abadde alina ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.”
[5] Awo abamu bwe baali boogera ku Ssinzizo nga bwe lyazimbibwa n'amayinja amalungi, era nga bwe lyatimbibwa n'ebirabo ebirirabisa obulungi, Yesu n'agamba nti:
[6] “Bino bye mulaba, ekiseera kirituuka, lwe wataliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.”
[7] Awo ne babuuza Yesu nti: “Muyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti binaatera okubaawo?”
[8] Yesu n'agamba nti: “Mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa; kubanga bangi balijja nga beeyita nze, era nga bagamba nti: ‘Ekiseera ekirindirirwa kituuse.’ Temubagobereranga.
[9] Bwe muwuliranga entalo n'obwegugungo, temutyanga. Ebyo biteekwa okusooka okubaawo, naye enkomerero terituuka mangwago.”
[10] Olwo n'agamba nti: “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala.
[11] Walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjala ne kawumpuli mu bitundu bingi. Era walibaawo eby'entiisa n'ebyamagero ennyo ebiriva mu ggulu.
[12] Naye byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, ne babawaayo okuwozesebwa mu makuŋŋaaniro, n'okusibibwa mu makomera. Mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka n'ag'abaami olw'erinnya lyange.
[13] Kino kiribaviiramu okutuusa ku bantu Amawulire Amalungi.
[14] Kale mumalirire obuteeraliikirira kya kuwoza.
[15] Nze ndibawa ebigambo n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakanya wadde okugaana.
[16] Muliweebwayo bazadde bammwe ne baganda bammwe, n'ab'ekika kyammwe, ne mikwano gyammwe. Era abamu ku mmwe balittibwa.
[17] Abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange.
[18] Naye newaakubadde olumu ku nviiri zammwe terulizikirira.
[19] Olw'okugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu.
[20] “Bwe muliraba Yerusaalemu nga kyetooloddwa eggye, olwo nga mumanya nti okuzikirira kwakyo kuli kumpi.
[21] Olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi, abo abalikibaamu bakivangamu, era abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu.
[22] Ennaku ezo za kuwoolera ggwanga, okutuukiriza byonna ebyawandiikibwa.
[23] Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo! Walibaawo okubonaabona kungi mu ggwanga, n'obusungu bwa Katonda ku bantu b'eggwanga lino.
[24] Balittibwa n'ebitala ebyogi, balitwalibwa mu mawanga gonna nga basibe, era Yerusaalemu kiririnnyirirwa ab'amawanga amalala, okutuusa ebiseera by'amawanga amalala lwe biriggwaako.
[25] “Walibaawo ebyamagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi amawanga galyeraliikirira nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo.
[26] Abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebigenda okubaawo ku nsi, kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa.
[27] Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu kire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa kinene.
[28] Naye ebyo bwe biritandika okubaawo, musituke era muyimuse emitwe gyammwe, kubanga okununulwa kwammwe kuli kumpi.”
[29] Awo Yesu n'abagerera olugero nti: “Mulabire ku muti omutiini, oba ku muti omulala gwonna.
[30] Bwe mulaba nga gutandise okuddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya buli kumpi.
[31] Mu ngeri y'emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.
[32] Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo.
[33] Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
[34] “Mwekuume, emitima gyammwe gireme okwemaliranga mu buluvu, ne mu kutamiira, ne mu kweraliikirira eby'obulamu buno, sikulwa ng'olunaku luli lubatuukako nga temwetegese,
[35] kubanga lulituuka ku bantu bonna abali ku nsi, ng'omutego bwe gukwasa ekintu.
[36] Kale nno mutunule nga mwegayirira Katonda ekiseera kyonna, mulyoke musobole okuyita mu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole okulabika mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
[37] Emisana Yesu yabeeranga mu Ssinzizo ng'ayigiriza, obudde bwe bwazibanga n'afuluma, n'amala ekiro ku Lusozi oluyitibwa olw'Emiti Emizayiti.
[38] Abantu bonna baakeeranga ku makya ne bagenda gy'ali mu Ssinzizo okumuwuliriza.