[1] Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebisuula abantu mu kibi tebirema kubaawo, kyokka oyo abireeta wa kubonaabona.
[2] Kyandimubeeredde kirungi okusibibwa ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga lw'aleetera omu ku bato bano okukola ekibi.
[3] Mwerinde. Muganda wo bw'akola ekibi, mulabule era singa yeenenya, musonyiwe.
[4] Singa akukola ekibi emirundi musanvu mu lunaku olumu, era buli mulundi n'ajja gy'oli n'agamba nti: ‘Neenenyezza,’ oteekwa okumusonyiwa.”
[5] Abatume ne bagamba Mukama waffe nti: “Twongeremu okukkiriza.”
[6] Mukama waffe n'addamu nti: “Singa mulina okukkiriza okutono ng'akasigo ka kaladaali, mwandigambye omuti ogw'enkenene guno nti: ‘Simbuka, weesimbe mu nnyanja,’ ne gubawulira.
[7] “Ani ku mmwe aba n'omuddu alima oba alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu nnimiro, amugamba nti: ‘Jjangu otuule olye,’
[8] n'atamugamba nti: ‘Tegeka emmere gye nnaalya ekyeggulo, weesibe ompeereze nga ndya era nga nnywa, oluvannyuma naawe olyoke olye era onywe’?
[9] Ateekwa okwebaza omuddu oyo olw'okukola ebimulagiddwa?
[10] Nammwe kye kimu. Bwe mumalanga okukola byonna ebibalagiddwa, mugambanga nti: ‘Tuli baddu buddu. Bye tubadde tuteekwa okukola, bye tukoze.’ ”
[11] Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'agenda e Yerusaalemu, n'ayita wakati wa Samariya ne Galilaaya.
[12] Bwe yali ng'ayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako,
[13] ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa.”
[14] Yesu bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Awo bwe baali bagenda, ne balongooka.
[15] Omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo ng'atendereza Katonda mu ddoboozi ery'omwanguka.
[16] N'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, nga yeebaza. Oyo yali Musamariya.
[17] Yesu n'agamba nti: “Abawonyezeddwa tebabadde kkumi? Naye omwenda guli ludda wa?
[18] Tewalabiseewo mulala akomyewo kutendereza Katonda okuggyako ono ow'eggwanga eddala?”
[19] Awo Yesu n'amugamba nti: “Yimuka ogende. Owonye olw'okukkiriza kwo.”
[20] Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafarisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi, n'abaddamu nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweraga.
[21] Abantu tebaligamba nti: ‘Laba, buli wano,’ oba nti: ‘Buli wali,’ kubanga Obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
[22] Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Ekiseera kirituuka ne mwegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'Omuntu, kyokka temulirulaba.
[23] Walibaawo ababagamba nti: ‘Laba, ali wali,’ oba nti: ‘Laba, ali wano.’ Temugendangayo, era temubagobereranga.
[24] Ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ku ludda olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oludda olulala, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba bw'atyo ku lunaku lwe.
[25] Kyokka ateekwa okusooka okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'omulembe guno.
[26] “Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kiseera ky'Omwana w'Omuntu.
[27] Abantu baali balya era nga banywa, baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato, omujjuzo ne gujja, ne guzikiriza bonna.
[28] Era kiriba nga bwe kyali mu mulembe gwa Looti. Abantu baali balya era nga banywa, baali bagula era nga batunda, baali basiga era nga bazimba.
[29] Naye ku lunaku Looti lwe yava mu Sodoma, ne watonnya omuliro n'olunyata okuva mu ggulu, ne bizikiriza bonna.
[30] Bwe kityo bwe kiriba ku lunaku Omwana w'Omuntu lw'alirabikirako.
[31] “Ku lunaku olwo, omuntu aliba waggulu ku kasolya k'ennyumba, ng'ebintu bye biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu. Oyo aliba mu nnimiro naye bw'atyo, taddanga mabega.
[32] Mujjukire muka Looti!
[33] Buli agezaako okukuuma obulamu bwe, alibufiirwa; kyokka buli afiirwa obulamu bwe, alibuwonya.
[34] Mbagamba nti mu kiro ekyo, abaliba ababiri mu kitanda ekimu, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.
[35] Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. [
[36] Babiri abaliba mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.”]
[37] Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti: “Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.”