Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 8:19

[1] Yesu bwe yamaliriza ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abamuwuliriza, n'ayingira mu kibuga Kafarunawumu.

[2] Waaliwo Omurooma omukulu w'ekitongole ky'abaserikale, eyalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo. Omuddu oyo yali mulwadde, ng'ali kumpi okufa.

[3] Omukulu w'ekitongole ky'abaserikale bwe yawulira ebifa ku Yesu, n'amutumira abamu ku Bayudaaya abakulu, ng'amusaba ajje awonye omuddu we.

[4] Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti: “Omusajja oyo asaanira omukolere ky'akusaba,

[5] kubanga ayagala abantu b'eggwanga lyaffe, era yatuzimbira ekkuŋŋaaniro.”

[6] Awo Yesu n'agenda nabo. Bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omukulu w'ekitongole oyo n'atuma banne okumugamba nti: “Ssebo, leka kweteganya, kubanga sisaanira ggwe okuyingira mu nnyumba yange,

[7] era kye navudde ndowooza nti sisaanira kujja gy'oli nze nzennyini. Wabula yogera bwogezi kigambo, omuddu wange anaawona.

[8] Nange ndi muntu alina bakama bange abanfuga, era nga nnina abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba ono nti: ‘Genda,’ agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kola kino,’ akikola.”

[9] Yesu bwe yawulira ebyo, n'amwewuunya. N'akyukira ekibiina ky'abantu ekyali kimugoberera, n'agamba nti: “Mbagamba nti sisanganga alina kukkiriza nga kuno, wadde mu Bayisirayeli!”

[10] Abaali batumiddwa bwe batuuka mu maka ge, ne basanga ng'omuddu we awonye.

[11] Awo olwatuuka, nga wayiseewo ekiseera kitono, Yesu n'alaga mu kibuga ekiyitibwa Nayini, abayigirizwa be n'abantu abalala bangi ne bagenda naye.

[12] Bwe yali ng'atuuka ku mulyango gw'ekibuga, ne wavaayo abantu abaali bafulumya omulambo gw'omuvubuka, eyali omwana omu yekka ow'omukazi nnamwandu. Abantu bangi nnyo ab'omu kibuga baali ne nnamwandu oyo.

[13] Mukama waffe bwe yamulaba, n'amukwatirwa ekisa, n'amugamba nti: “Tokaaba.”

[14] Olwo n'asembera n'akwata ku katanda akasituliddwako omulambo. Abaali bagusitudde ne bayimirira. Yesu n'agamba nti: “Omuvubuka, nkulagira, golokoka.”

[15] Eyali afudde n'atuula, n'atandika okwogera. Yesu n'amuddiza nnyina.

[16] Bonna ne bakwatibwa entiisa era ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Omulanzi omukulu alabise mu ffe, era Katonda azze okulokola abantu be.”

[17] Awo ettutumu lya Yesu ne libuna mu Buyudaaya bwonna ne mu kitundu ekiriraanyeewo.

[18] Awo abayigirizwa ba Yowanne ne bamubuulira ebyo byonna. Yowanne n'ayita babiri ku bo,

[19] n'abatuma eri Mukama waffe, okumubuuza nti: “Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?”

[20] Abasajja abo bwe baatuuka awali Yesu, ne bagamba nti: “Yowanne Omubatiza atutumye gy'oli ng'abuuza nti: ‘Ggwe wuuyo gwe tulindirira okujja, oba tulindirire mulala?’ ”

[21] Mu kiseera ekyo kyennyini, Yesu n'awonya bangi endwadde n'okulumizibwa okwa buli ngeri, n'emyoyo emibi, era n'azibula amaaso ga bamuzibe bangi.

[22] Awo n'addamu ababaka ba Yowanne nti: “Mugende mutegeeze Yowanne bye mulabye ne bye muwulidde: ababadde bamuzibe balaba; ababadde abalema, batambula; abagenge bawonyezebwa, ababadde bakiggala bawulira; abafu bazuukira, abaavu bategeezebwa Amawulire Amalungi.

[23] Wa mukisa oyo atambuusabuusaamu.”

[24] Ababaka ba Yowanne bwe bavaawo, Yesu n'atandika okutegeeza ekibiina ky'abantu ebifa ku Yowanne nti: “Bwe mwagenda eri Yowanne mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa empewo?

[25] Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Abo abambala engoye ez'omuwendo era ababa mu bulamu obw'okwejalabya basangibwa mu mbiri za bakabaka.

[26] Kale mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Ddala mbagamba nti asinga n'omulanzi.

[27] Yowanne oyo, ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba, ntuma omubaka wange akukulembere, ng'akwerulira ekkubo gy'ogenda.’

[28] Mbagamba nti Yowanne asinga abantu bonna ekitiibwa, abaali bazaaliddwa. Kyokka oyo asembayo okuba oweekitiibwa ekitono mu Bwakabaka bwa Katonda, asinga Yowanne oyo ekitiibwa.”

[29] Abasolooza b'omusolo n'abantu abalala bonna bwe baawuliriza ebigambo ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga bali babatizibwa Yowanne.

[30] Kyokka Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka beggya ku nteekateeka ya Katonda, ne bagaana okubatizibwa.

[31] Yesu n'ayongera okugamba abaali bamuwuliriza nti: “Abantu ab'omulembe guno nnaabageraageranya na ki? Kiki kye bafaanana?

[32] Bafaanana ng'abaana abato, abatuula mu katale ne bakoowoolagana ne bagamba nti: ‘Twabafuuyidde endere, ne mutazina; twakubye ebiwoobe, ne mutakaaba.’

[33] Yowanne Omubatiza bwe yajja ng'asiiba era nga tanywa mwenge, mwagamba nti: ‘Aliko omwoyo omubi!’

[34] Omwana w'Omuntu bwe yajja ng'alya era ng'anywa, ne mugamba nti: ‘Omuntu oyo wa mululu, mutamiivu, era mukwano gwa basolooza ba musolo n'aboonoonyi.’

[35] Wabula abo bonna abakolera ku magezi ga Katonda, bakakasa nti matuufu.”

[36] Awo Omufarisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. Yesu n'agenda n'ayingira mu nnyumba y'Omufarisaayo oyo, n'atuula okulya.

[37] Mu kibuga ekyo mwalimu omukazi omwonoonyi. Omukazi oyo bwe yamanya nti Yesu atudde okulya mu nnyumba y'Omufarisaayo, n'aleeta eccupa erimu omuzigo oguwunya akawoowo,

[38] n'abeera emabega, kumpi n'ebigere bya Yesu. N'akaaba era n'atandika okutobya ebigere bya Yesu n'amaziga, era n'abisiimuuza enviiri ez'oku mutwe gwe. N'abinywegera, era n'abisiiga omuzigo oguwunya akawoowo.

[39] Omufarisaayo eyayita Yesu bwe yalaba kino, n'agamba mu mutima gwe nti: “Singa omusajja ono abadde mulanzi, yanditegedde omukazi amwekwatako bw'atyo bw'ali omwonoonyi.”

[40] Awo Yesu n'amwatulira, n'agamba nti: “Simooni, nnina kye nkugamba.” Ye n'agamba nti: “Muyigiriza, yogera.”

[41] Yesu n'atandika nti: “Waaliwo abantu babiri, abaali babanjibwa omuwozi w'ensimbi. Omu yali abanjibwa denaari ebikumi bitaano, ate omulala denaari amakumi ataano.

[42] Bwe baalemwa okusasula, bombi n'abasonyiwa. Kale ani ku bo anaasinga okumwagala?”

[43] Simooni n'addamu nti: “Ndowooza nti oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisinga obunene.” Yesu n'amugamba nti: “Osaze bulungi.”

[44] Awo n'akyukira omukazi, n'agamba Simooni nti: “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba bigere, naye ono atobezza ebigere byange n'amaziga ge, era n'abisiimuuza enviiri ze.

[45] Tewannywegedde, naye ono okuviira ddala lwe nayingidde, tannalekayo kunywegera bigere byange.

[46] Tewansiize muzigo mu mutwe, naye ono ebigere byange abisiize omuzigo oguwunya akawoowo.

[47] N'olwekyo nkugamba nti asonyiyiddwa ebibi bye ebingi, kubanga alina okwagala kungi. Kyokka asonyiyibwa ebitono, aba n'okwagala kutono.”

[48] Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Ebibi byo mbikusonyiye.”

[49] Abaali batudde ne Yesu nga balya ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ani asobola n'okusonyiwa abantu ebibi?”

[50] Awo Yesu n'agamba omukazi nti: “Owonye olw'okukkiriza kwo, genda mirembe.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Lukka — Chapters