[1] Awo abasolooza b'omusolo bonna n'aboonoonyi ne basemberera Yesu okumuwuliriza.
[2] Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi era alya nabo.”
[3] Awo Yesu n'abagerera olugero luno nti:
[4] “Muntu ki ku mmwe aba n'endiga ekikumi, n'abulwako emu ku zo, ataleka ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agenda okunoonya eri ebuze, okutuusa lw'agizuula?
[5] Era ng'agizudde, agiteeka ku kibegabega kye ng'asanyuka.
[6] Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange ebadde ebuze.’
[7] Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu lingi mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya, okusinga olw'abalungi ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya.
[8] “Oba mukazi ki aba n'ebisente kkumi ebya ffeeza, singa abulwako ekimu, atakoleeza ttaala, n'ayera ennyumba, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'akizuula?
[9] Era ng'akizudde, ayita baliraanwa be, n'agamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde ekisente kyange ekya ffeeza ekibadde kibuze.’
[10] Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu mu bamalayika ba Katonda olw'omwonoonyi omu eyeenenya.”
[11] Yesu n'agamba nate nti: “Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri.
[12] Omuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, mpa omugabo ogwange ku bintu byo.’ Awo n'abagabanyiza mu bintu bye.
[13] Ennaku tewaayitawo nnyingi, omwana omuto ku bombi n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'agenda mu nsi ey'ewala, n'asaasaanyiza eyo ebintu bye, ng'ayisa empisa embi.
[14] Awo bwe yabimalaawo byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo, n'atandika okuba mu buzibu.
[15] N'agenda ne yeesiba ku omu ku bannansi b'omu kitundu ekyo, ye n'amusindika mu kibanja kye okulunda embizzi.
[16] Ne yeegombanga okukkusa olubuto lwe ebikuta, embizzi bye zaalyanga, ne wataba abimuwa.
[17] Kyokka bwe yeerowooza, n'agamba nti: ‘Abapakasi ba kitange bameka abalya emmere n'ebalemerawo, naye nze nfiira wano enjala!
[18] Nja kusituka ŋŋende eri kitange, mmugambe nti kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go.
[19] Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo. Nfuula ng'omu ku bapakasi bo.’
[20] N'asituka, n'agenda eri kitaawe. “Bwe yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera.
[21] Omwana n'agamba nti: ‘Kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo!’
[22] Kyokka kitaawe n'agamba abaddu be nti: ‘Mwanguwe, muleete ekyambalo ekisinga obulungi, mukimwambaze, era mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere.
[23] Muleete n'ennyana eyassava, mugitte, tulye tusanyuke,
[24] kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ Awo ne batandika okusanyuka.
[25] “Omwana we omukulu yali mu nnimiro. Bwe yali ajja, era ng'asemberedde ennyumba, n'awulira ekinyumu nga bayimba era nga bazina.
[26] N'ayita omu ku baddu, n'abuuza ekiriwo.
[27] Omuddu n'amugamba nti: ‘Muganda wo azze, kitaawo n'atta ennyana eyassava, kubanga amwanirizza nga mulamu.’
[28] “Ye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira. Awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.
[29] Naye ye n'addamu kitaawe nti: ‘Laba, emyaka mingi gye mmaze nga nkukolera, era sijeemerangako kiragiro kyo. Naye tompanga wadde akabuzi, nsanyukeko ne mikwano gyange.
[30] Naye omwana wo ono, eyalya ebintu byo ng'ali ne bamalaaya, bw'azze, omuttidde ennyana eyassava!’
[31] Kitaawe n'amugamba nti: ‘Mwana wange, ggwe bulijjo oli wamu nange, era ebyange bye bibyo.
[32] Naye kibadde kituufu okujaguza n'okusanyuka, kubanga muganda wo ono, yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ ”