[1] Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogw'obufuzi bwa Kayisaari Tiberiyo, nga Pontiyo Pilaato ye afuga Buyudaaya, nga Herode ye afuga Galilaaya, nga muganda we Filipo ye afuga ekitundu eky'e Yituraya ne Trakoniti; nga Lisaniya ye afuga Abileene,
[2] nga Anna ne Kayaafa be bassaabakabona, Yowanne mutabani wa Zakariya yali mu ddungu, n'afuna ekigambo kya Katonda.
[3] Olwo n'atambula okubuna ekitundu kyonna ekiriraanye Omugga Yorudaani, ng'agamba abantu nti: “Mwenenye, mubatizibwe, Katonda abasonyiwe ebibi byammwe.”
[4] Bino byabaawo nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti: “Waliwo eddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge.
[5] Buli kiwonvu kijjuzibwe; buli lusozi na buli kasozi biseeteezebwe. Amakubo amakyamu gagololwe, n'agalimu ebisirikko gatereezebwe.
[6] Olwo abantu bonna bajja kulaba nga Katonda bw'abalokola.’ ”
[7] Abantu bangi nnyo baagendanga eri Yowanne ababatize, ye n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
[8] Mukole nno ebikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. Mulekere awo okweyinula nti tulina kitaffe Aburahamu, kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abazzukulu, ng'abaggya mu mayinja gano.
[9] Mufaanaanyirizibwa n'emiti. Kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.”
[10] Awo abantu ne bamubuuza nti: “Kale tukole ki?”
[11] N'abaddamu nti: “Alina engoye ebbiri aweeko atalina, era alina emmere naye akole bw'atyo.”
[12] Abasolooza b'omusolo nabo ne bajja okubatizibwa, ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza, ffe tukole ki?”
[13] N'abaddamu nti: “Temusoloozanga kinene okusinga ekibalagirwa.”
[14] Abaserikale nabo ne bamubuuza nti: “Ate ffe tukole ki?” N'abagamba nti: “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawaayirizanga misango gye batazzizza. Mukomenga ku kufuna misaala gyammwe gyokka.”
[15] Awo abantu bonna ne batandika okulowooza mu mitima gyabwe nti Yowanne, oba oli awo ye Kristo.
[16] Yowanne n'ategeeza bonna nti: “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ansinga obuyinza ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze. Ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro.
[17] Akutte mu ngalo ekibbo ekiwewa, ayawule empeke n'ebisusunku, empeke azikuŋŋaanyize mu tterekero lye, ate byo ebisusunku abyokye omuliro ogutazikira.”
[18] Bw'atyo Yowanne, yayigirizanga abantu mu ngeri nnyingi, ng'abategeeza Amawulire Amalungi.
[19] Era yanenya omufuzi Herode, olwa Herodiya muka muganda we, n'olw'ebibi ebirala byonna Herode bye yakola.
[20] Ate ku ebyo byonna, Herode n'ayongerako n'eky'okuggalira Yowanne mu kkomera.
[21] Awo olwatuuka, abantu abalala bonna bwe baali nga bamaze okubatizibwa, Yesu naye ng'abatiziddwa, era bwe yali ng'asinza Katonda, eggulu ne libikkuka,
[22] era Mwoyo Mutuukirivu, ng'afaananira ddala ejjiba, n'akka ku ye. Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” 9:35
[23] Yesu yatandika omulimu gwe ogw'okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'amakumi asatu, abantu nga bamuyita mutabani wa Yosefu. Yosefu ono yali mutabani wa Eli,
[24] Eli mutabani wa Mattati, Mattati mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Meleki, Meleki mutabani wa Yannayi, Yannayi mutabani wa Yosefu,
[25] Yosefu mutabani wa Mattatiya, Mattatiya mutabani wa Amosi, Amosi mutabani wa Nawumu, Nawumu mutabani wa Esili, Esili mutabani wa Nangayi.
[26] Nangayi yali mutabani wa Maati, Maati mutabani wa Mattatiya, Mattatiya mutabani wa Semeeyi, Semeeyi mutabani wa Yoseki, Yoseki mutabani wa Yoda,
[27] Yoda mutabani wa Yowanani, Yowanani mutabani wa Resa, Resa mutabani wa Zerubabbeeli, Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, Seyalutiyeli mutabani wa Neri,
[28] Neri mutabani wa Meleki, Meleki mutabani wa Addi, Addi mutabani wa Kosamu, Kosamu mutabani wa Elimadamu, Elimadamu mutabani wa Eri.
[29] Eri yali mutabani wa Yeswa, Yeswa mutabani wa Eliyezeeri, Eliyezeeri mutabani wa Yorimu, Yorimu mutabani wa Mattati, Mattati mutabani wa Leevi,
[30] Leevi mutabani wa Simyoni, Simyoni mutabani wa Yuda, Yuda mutabani wa Yosefu, Yosefu mutabani wa Yonamu, Yonamu mutabani wa Eliyakimu,
[31] Eliyakimu mutabani wa Meleya, Meleya mutabani wa Menna, Menna mutabani wa Mattata, Mattata mutabani wa Natani, Natani mutabani wa Dawudi,
[32] Dawudi mutabani wa Yesse, Yesse mutabani wa Yobedi, Yobedi mutabani wa Bowaazi, Bowaazi mutabani wa Salumooni, Salumooni mutabani wa Nasoni.
[33] Nasoni yali mutabani wa Amminadabu, Amminadabu mutabani wa Adimiini, Adimiini mutabani wa Aruni, Aruni mutabani wa Hezirooni, Hezirooni mutabani wa Pereezi, Pereezi mutabani wa Yuda,
[34] Yuda mutabani wa Yakobo, Yakobo mutabani wa Yisaaka, Yisaaka mutabani wa Aburahamu, Aburahamu mutabani wa Teera, Teera mutabani wa Nahori,
[35] Nahori mutabani wa Serugi, Serugi mutabani wa Rewu, Rewu mutabani wa Pelegi, Pelegi mutabani wa Eberi, Eberi mutabani wa Seela.
[36] Seela yali mutabani wa Kayinaani, Kayinaani mutabani wa Arupakusaadi, Arupakusaadi mutabani wa Seemu, Seemu mutabani wa Noowa, Noowa mutabani wa Lameka.
[37] Lameka mutabani wa Metuseela, Metuseela mutabani wa Enoka, Enoka mutabani wa Yaredi, Yaredi, mutabani wa Malaleeli, Malaleeli mutabani wa Kayinaani,
[38] Kayinaani mutabani wa Enosi, Enosi mutabani wa Seeti, Seeti mutabani wa Adamu, Adamu mutabani wa Katonda.