[1] Oweekitiibwa ennyo Tewofilo: Bangi bagezezzaako okuwandiika n'obwegendereza ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe.
[2] Baawandiika ebyatubuulirwa abo abaabirabirako ddala okuva ku ntandikwa yaabyo, era abaakola omulimu ogw'okubunyisa Ekigambo kya Katonda.
[3] Nange bwe neetegerezza byonna okuva ku ntandikwa yaabyo, ndabye nti kirungi okubikuwandiikira nga bwe biddiriŋŋana.
[4] Kino nkikoze, olyoke omanyire ddala amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa.
[5] Kabaka Herode bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zakariya, ow'omu kitongole kya bakabona ekya Abiya. Yalina mukazi we erinnya lye Elisaabeeti, nga muzzukulu wa Arooni.
[6] Bombi baali bantu balungi mu maaso ga Katonda, nga bakwata bulungi ebiragiro bya Mukama byonna n'amateeka ge.
[7] Baali tebalina mwana, kubanga Elisaabeeti yali mugumba, ate bombi baali bakaddiye.
[8] Lwali lumu, Zakariya yali akola omulimu gwe ogw'obwakabona, mu maaso ga Katonda, ng'ekitongole kye yalimu kye kiri mu luwalo.
[9] Yalondebwa na kalulu, ng'empisa ya bakabona bwe yali, n'ayingira mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo, okunyookeza obubaane.
[10] Mu kiseera ekyo eky'okunyookeza obubaane, abantu bonna abaali bakuŋŋaanye, baali wabweru nga basinza Katonda.
[11] Awo malayika wa Mukama n'ayimirira ku ludda olwa ddyo olw'ekyoterezo ky'obubaane, n'alabikira Zakariya.
[12] Zakariya bwe yamulaba ne yeesisiwala, entiisa n'emukwata.
[13] Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga Katonda awulidde okwegayirira kwo: mukazi wo Elisaabeeti alikuzaalira omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yowanne.
[14] Olisanyuka n'ojaguza, era n'abalala bangi balisanyuka olw'okuzaalibwa kwe,
[15] kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama. Talinywa mwenge gwa mizabbibu, newaakubadde ekitamiiza ekirala kyonna. Alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu nga tannaba kuva mu lubuto lwa nnyina.
[16] Alikomyawo Abayisirayeli bangi eri Mukama Katonda waabwe.
[17] Aliweebwa omwoyo n'obuyinza nga Eliya bye yalina, n'akulembera Mukama okuzza emitima gya bakitaabwe b'abaana eri abaana baabwe, n'okuzza abajeemu mu kkubo ly'abantu abalungi, alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”
[18] Awo Zakariya n'agamba nti: “Kino nnaakikakasiza ku ki? Nze neekaddiyidde, ne mukyala wange naye akaddiye.”
[19] Malayika n'amuddamu nti: “Nze Gabulyeli, ayimirira bulijjo mu maaso ga Katonda nga mmuweereza. Ntumiddwa okwogera naawe, n'okukutegeeza amawulire gano amalungi.
[20] Kale nno nga bw'otokkirizza bye nkutegeezezza, ebirituukirira ng'ekiseera kyabyo kituuse, ojja kuziba omumwa, obe nga tokyasobola kwogera, okutuusa ku lunaku bino lwe birituukirira.”
[21] Mu kiseera ekyo, abantu baali balindirira Zakariya, era nga beewuunya ekimulwisizza mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo.
[22] Bwe yafuluma n'atasobola kwogera nabo, ne bamanya nti wabaddewo ekitali kya bulijjo ky'alabye mu Ssinzizo. Olw'obutasobola kwogera, n'abategeeza mu bubonero, n'asigala ng'azibye omumwa.
[23] Awo ennaku ze ez'okuweereza bwe zaggwaako, n'addayo ewuwe.
[24] Bwe waayitawo ekiseera, Elisaabeeti mukazi we n'aba olubuto, n'amala emyezi etaano nga teyeeraga mu bantu, ng'agamba nti:
[25] “Mukama ye annyambye okuba bwe nti, n'ankwatirwa ekisa mu kiseera kino, n'anzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.”
[26] Elisaabeeti yali yaakamala emyezi mukaaga ng'ali lubuto, Katonda n'atuma malayika Gabulyeli mu kibuga eky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazaareeti,
[27] ew'omuwala embeerera, erinnya lye Mariya, eyali ayogerezebwa omusajja ayitibwa Yosefu, muzzukulu wa Ssekabaka Dawudi.
[28] Malayika bwe yatuuka w'ali, n'agamba nti: “Nkulamusa, ggwe aweereddwa omukisa; Mukama ali naawe!”
[29] Mariya ne yeeraliikirira nnyo olw'ebigambo ebyo, era ne yeebuuza mu mutima gwe kye bitegeeza.
[30] Awo malayika n'amugamba nti: “Mariya, totya, kubanga Katonda akuwadde omukisa:
[31] ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi, omutuume erinnya lye Yesu.
[32] Aliba wa buyinza, era aliyitibwa Mwana wa Katonda Atenkanika. Mukama Katonda alimuwa obwakabaka bwa Dawudi jjajjaawe.
[33] Alifuga bazzukulu ba Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.”
[34] Mariya n'abuuza malayika nti: “Eky'okuba olubuto kinaatuukirira kitya, nga simanyi musajja?”
[35] Malayika n'amuddamu nti: “Mwoyo Mutuukirivu anajja ku ggwe, era amaanyi ga Katonda Atenkanika ganaaba naawe, n'olwekyo omwana alizaalibwa aliyitibwa Mutuukirivu, Mwana wa Katonda.
[36] Muganda wo Elisaabeeti, newaakubadde yayitibwanga mugumba, era nga mukadde, guno omwezi gwa mukaaga ng'ali lubuto. Era naye ajja kuzaala omwana wa bulenzi,
[37] kubanga tewali Katonda ky'ayogera kitayinzika.”
[38] Awo Mariya n'agamba nti: “Nzuuno omuzaana wa Mukama; nzikirizza, kibe nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava w'ali, n'agenda.
[39] Mu nnaku ezo, Mariya n'asituka, n'alaga mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga ky'omu Buyudaaya,
[40] n'ayingira mu nnyumba ya Zakariya, n'alamusa Elisaabeeti.
[41] Awo olwatuuka, Elisaabeeti bwe yawulira Mariya ng'amulamusa, omwana n'azannya mu lubuto lwa Elisaabeeti. Era Elisaabeeti n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu,
[42] n'akangula nnyo ku ddoboozi, n'agamba nti: “Waweebwa omukisa okusinga abakazi abalala bonna, n'omwana gw'olizaala yaweebwa omukisa.
[43] Kale mpeereddwa ntya ekitiibwa kino, nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira?
[44] Bwe mpulidde eddoboozi lyo ng'onnamusa, omwana n'asamba olw'essanyu, mu lubuto lwange.
[45] Oli wa mukisa ggwe eyakkiriza nti ebyo Mukama bye yakutegeeza birituukirira.”
[46] Awo Mariya n'agamba nti: “Omutima gwange gugulumiza Mukama.
[47] Omwoyo gwange gusanyukira Katonda Omulokozi wange,
[48] kubanga akwatiddwa ekisa omuzaana we ataliiko bw'ali. Okuva kati, abantu ab'emirembe gyonna banampitanga wa mukisa,
[49] olw'ebikulu Nnannyinibuyinza by'ankoledde. Erinnya lye ttukuvu!
[50] Era mu buli mulembe, akwatirwa ekisa abamutya.
[51] Alaze obuyinza bwe mu byamagero by'akola. Abeekulumbaza mu birowoozo byabwe, abasaasaanyizza.
[52] Awanudde ab'obuyinza ku ntebe zaabwe, n'agulumiza abeetoowaze.
[53] Abali mu bwetaavu abawadde ebirungi, abagagga n'abagoba nga tebalina kantu.
[54] Ayambye Yisirayeli omuweereza we, nga bwe yasuubiza bajjajjaffe.
[55] Ajjukidde okukwatirwa ekisa Aburahamu n'ezzadde lye emirembe gyonna.”
[56] Mariya yamala n'Elisaabeeti emyezi ng'esatu, n'adda eka.
[57] Awo ennaku za Elisaabeeti ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala omwana wa bulenzi.
[58] Baliraanwa be ne baganda be ne bawulira nga Mukama bw'amukwatiddwa ekisa ekingi, ne basanyukira wamu naye.
[59] Awo ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana. Baali bagenda kumutuuma erinnya lya kitaawe, Zakariya.
[60] Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Nedda, anaatuumibwa Yowanne.”
[61] Ne bamugamba nti: “Mu b'olulyo lwo teri n'omu ayitibwa linnya eryo!”
[62] Awo ne beeyambisa obubonero, ne babuuza kitaawe w'omwana erinnya ly'ayagala batuume omwana.
[63] Zakariya n'asaba ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika nti: “Erinnya ly'omwana ye Yowanne.” Bonna ne beewuunya.
[64] Amangwago omumwa gwa Zakariya ne guzibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera ng'atendereza Katonda.
[65] Awo abantu bonna ababaliraanye ne batya. Era ebigambo bino byonna ne bibuna mu kitundu kyonna ekya Buyudaaya eky'ensozi,
[66] Bonna abaabiwulira, ne bibayingira mu mitima, ne bagamba nti: “Kale omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” Kubanga obuyinza bwa Mukama bwali naye nga bumuyamba.
[67] Awo Zakariya kitaawe wa Yowanne, n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, n'alanga, ng'agamba nti:
[68] “Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe, kubanga akyalidde abantu be era abanunudde.
[69] Atuwadde Omulokozi ow'obuyinza, asibuka mu lulyo lwa Dawudi omuweereza we,
[70] nga bwe yasuubiriza edda mu balanzi be abatukuvu,
[71] okutuwonya abalabe baffe, n'okutuggya mu mikono gya bonna abatukyawa.
[72] Yasuubiza okukwatirwa bajjajjaffe ekisa, n'okujjukira endagaano ye entukuvu.
[73] Yalayira n'akakasa Aburahamu jjajjaffe, nti tuliggyibwa mu mikono gy'abalabe baffe,
[74] tulyoke tumuweereze awatali kutya,
[75] nga tuli beesimbu era batukuvu mu maaso ge, obulamu bwaffe bwonna.
[76] Naawe omwana, oliyitibwa mulanzi wa Katonda Atenkanika, kubanga olikulembera Mukama, okulongoosa amakubo ge,
[77] n'okumanyisa abantu be nti alibalokola, ng'abasonyiwa ebibi byabwe,
[78] kubanga Katonda waffe ajjudde ekisa. Oyo alinga enjuba evaayo, alitukyalira ng'ava mu ggulu,
[79] okwakira abo abali mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'olumbe, n'okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.”
[80] Omwana n'agenda ng'akula, era nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abanga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yeeraga abantu ba Yisirayeli.