Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 7:34

[1] Awo olwatuuka, mu nnaku ezo, Kayisaari Agusto n'afulumya ekirangiriro nti abantu bonna ab'omu matwale ge beewandiise, babalibwe.

[2] Okwewandiisa kuno okubereberye, kwabaawo nga Kiriniyo ye afuga ekitundu eky'e Siriya.

[3] Awo buli omu n'agenda okwewandiisa gy'asibuka.

[4] Ne Yosefu n'ava mu kibuga Nazaareeti, eky'omu Galilaaya, n'agenda mu Buyudaaya, mu kibuga Dawudi kye yazaalibwamu, ekiyitibwa Betilehemu, kubanga Yosefu yali muzzukulu wa Dawudi.

[5] Yagenda okwewandiisa awamu ne Mariya gwe yali ayogereza. Mariya yali lubuto,

[6] era bwe baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka.

[7] N'azaala omwana we omuggulanda, wa bulenzi, n'amubikka mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu nnyumba y'abagenyi tebaafunamu kifo.

[8] Mu kitundu ky'ensi ekyo, mwalimu abasumba abaasulanga ku ttale, nga bakuuma amagana gaabwe ekiro, mu mpalo.

[9] Awo malayika wa Mukama n'abalabikira, n'ekitiibwa kya Mukama ne kyakaayakana okubeetooloola. Ne batya nnyo!

[10] Naye malayika n'abagamba nti: “Temutya, kubanga mbaleetera amawulire amalungi, ag'essanyu eringi eri abantu bonna.

[11] Olwaleero, mu kibuga kya Dawudi, Omulokozi abazaaliddwa. Ye Kristo, Mukama.

[12] Kano ke kabonero ke munaamutegeererako: mujja kusanga omwana omuwere abikkiddwa mu bugoye, ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.”

[13] Amangwago awaali malayika oyo, ne wajjawo ne bamalayika abalala bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu. Ne batendereza Katonda nga bayimba nti:

[14] “Ekitiibwa kibe eri Katonda mu ggulu! Ne ku nsi, emirembe gibe mu bantu Katonda b'asiima!”

[15] Bamalayika bwe baamala okwawukana ku basumba, ne baddayo mu ggulu. Awo abasumba ne bagambagana nti: “Tugende e Betilehemu, tulabe ekintu kino ekibaddewo, Mukama ky'atutegeezezza.”

[16] Ne bagendayo mangu, ne basanga Mariya ne Yosefu, n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu mmanvu ebisolo mwe biriira.

[17] Bwe baamala okulaba omwana, ne bategeeza bonna ebyo ebyali bibabuuliddwa ku mwana oyo.

[18] Bonna abaabiwulira ne beewuunya abasumba bye baayogera.

[19] Naye Mariya ebigambo ebyo byonna n'abikuuma mu mutima gwe, era n'abirowoozangako nnyo.

[20] Awo abasumba ne baddayo nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw'ebyo bye bawulidde, ne bye balabye. Byonna byali ddala nga malayika bwe yali abibabuulidde.

[21] Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka omwana okukomolebwa, n'atuumibwa erinnya Yesu, malayika lye yayita omwana ono nga tannaba mu lubuto.

[22] Awo Yosefu ne Mariya bwe baatuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe, eziragirwa mu Mateeka ga Musa, ne batwala omwana Yesu e Yerusaalemu okumwanjula eri Mukama,

[23] nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama nti: “Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, anaawongerwanga Mukama.”

[24] Era baagenda okuwaayo eky'okutambira, ng'etteeka lya Mukama bwe liragira: enjiibwa bbiri oba amayiba amato abiri.

[25] Mu Yerusaalemu mwalimu omuntu erinnya lye Simyoni. Yali muntu mulungi, ng'assaamu Katonda ekitiibwa, era ng'alindirira okununulwa kwa Yisirayeli. Era yali ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu.

[26] Mwoyo Mutuukirivu yali amumanyisizza nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama.

[27] Awo Simyoni n'ajja mu Ssinzizo, nga Mwoyo Mutuukirivu ye amugambye. Abazadde bwe baatuusa omwana Yesu mu Ssinzizo okutuukiriza etteeka,

[28] Simyoni n'asitula omwana mu mikono gye, n'atendereza Katonda ng'agamba nti:

[29] “Kaakano Mukama wange, kye wasuubiza okituukirizza. Leka omuddu wo ŋŋende mirembe,

[30] kubanga amaaso gange galabye Omulokozi wo

[31] gwe wategekera abantu bonna,

[32] abe ekitangaala ekimulisa amawanga, era abe ekitiibwa ky'abantu bo, Abayisirayeli.”

[33] Kitaawe ne nnyina w'omwana ne bawuniikirira olw'ebigambo ebimufaako, Simyoni bye yayogera.

[34] Awo Simyoni n'abaagaliza emikisa, ate n'agamba Mariya, nnyina w'omwana nti: “Omwana ono ateekeddwawo, bangi mu Yisirayeli bagwe, ate bangi bayimuke. Era ajja kuba akabonero ke bajja okuwakanya,

[35] bwe batyo balage ebirowoozo by'emitima gyabwe. Era naawe ennaku eri ng'ekitala ekyogi, erikufumita omutima.”

[36] Era waaliwo omulanzi, omukazi erinnya lye Anna, muwala wa Fanuweli, ow'omu Kika kya Aseeri. Yali mukazi mukadde. Yafumbirwa nga muwala muto, n'amala emyaka musanvu mu bufumbo.

[37] Okuva olwo yali yaakamala emyaka kinaana mu ena nga nnamwandu. Teyavanga mu Ssinzizo. Emisana n'ekiro yabeeranga mu kuweereza Katonda na mu kumwegayirira, era ng'asiiba.

[38] Awo n'atuuka mu kiseera ekyo kyennyini, n'atendereza Katonda. Era abo bonna abaali balindirira okununulwa kwa Yerusaalemu, n'ababuulira ebifa ku mwana ono.

[39] Bwe baamala okutuukiriza byonna ebiragirwa mu tteeka lya Mukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga ky'ewaabwe, e Nazaareeti.

[40] Awo omwana ne yeeyongera okukula, n'aba wa maanyi, ng'ajjudde amagezi n'emikisa gya Katonda.

[41] Abazadde ba Yesu baagendanga buli mwaka e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako.

[42] Yesu bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemu nga bwe baakolanga mu kiseera eky'Embaga.

[43] Bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana Yesu n'asigala mu Yerusaalemu, bazadde be nga tebategedde.

[44] Bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza nti ali mu kibiina ky'abantu be baali batambula nabo, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe.

[45] Bwe bataamuzuula, ne baddayo e Yerusaalemu nga bamunoonya.

[46] Waayitawo ennaku ssatu, ne bamuzuula mu Ssinzizo, ng'atudde n'abayigiriza, ng'abawuliriza era ng'ababuuza ebibuuzo.

[47] Bonna abaamuwuliriza, beewuunya olw'amagezi ge n'okuddamu kwe.

[48] Bazadde be bwe baamulaba, ne bawuniikirira. Nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, lwaki otukoze bw'oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.”

[49] Ye n'abagamba nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi nti nteekwa okukola ku bya Kitange?”

[50] Naye bo ne batategeera ky'abagambye.

[51] Awo n'aserengeta nabo e Nazaareeti, era n'abawuliranga. Nnyina n'akuumanga bino byonna mu mutima gwe.

[52] Awo Yesu ne yeeyongera okukula, era ne yeeyongera mu magezi n'okusiimibwa Katonda n'abantu.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Lukka — Chapters