[1] Olunaku olwa Sabbaato bwe lwaggwaako, Mariya Magudaleena ne Salome ne Mariya nnyina Yakobo, ne bagula ebyobuwoowo, balyoke bagende basiige omulambo gwa Yesu.
[2] Ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali nga yaakavaayo, ne bagenda ku ntaana.
[3] Awo ne beebuuzaganya nti: “Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?”
[4] Ejjinja eryo lyali ddene nnyo. Naye bwe beetegereza, ne balaba nga liyiringisiddwa, ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana.
[5] Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omuvubuka ng'atudde ku ludda olwa ddyo, ng'ayambadde ekkanzu enjeru, ne bawuniikirira.
[6] N'abagamba nti: “Muleke kuwuniikirira. Munoonya Yesu Omunazaareeti eyakomererwa ku musaalaba. Wano taliiwo. Azuukidde. Mulabe, kino kye kifo we baabadde bamutadde.
[7] Mugende mubuulire abayigirizwa be nga ne Peetero kw'ali, nti: ‘Abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”
[8] Awo ne bafuluma, ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga baakwatibwa ensisi n'okuwuniikirira. Era ne batabuulirako muntu n'omu, kubanga baali batidde. [
[9] Awo abakazi abo ne bagenda eri Peetero ne banne, ne babategeeza mu bimpimpi ebyo byonna omuvubuka bye yabagamba.
[10] Ebyo bwe byaggwa, Ye yennyini Yesu n'atuma abayigirizwa be okutwala obubaka bwa Katonda obw'emirembe gyonna obw'okulokola abantu, babubunye mu nsi yonna,okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.
[11] Naye bwe baawulira nti Yesu mulamu, era nti Mariya Magudaleena amulabye, ne batakkiriza.
[12] Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira babiri ku bo nga balaga mu kyalo. Yali afaanana mu ngeri ndala.
[13] Awo ne baddayo, ne babuulira bannaabwe. Naye bo ne batakkiriza.
[14] Oluvannyuma, Yesu n'alabikira abayigirizwa be ekkumi n'omu, nga batudde balya. N'abanenya olw'obutakkiriza bwabwe, n'olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza bigambo by'abo abaamulaba ng'amaze okuzuukira.
[15] Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi zonna, mutegeeze abantu bonna Amawulire Amalungi.
[16] Buli akkiriza era n'abatizibwa, alirokolebwa, naye atakkiriza, omusango gulimusinga.
[17] “Abakkiriza balikola ebyamagero bino: mu linnya lyange baligoba emyoyo emibi ku bantu; balyogera mu nnimi ze batayiganga;
[18] singa balikwata emisota, era singa balinywa ekintu kyonna ekitta, tebalibaako kabi. Balikwata ku balwadde, abalwadde abo ne bawona.”
[19] Awo Mukama Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda.
[20] Awo abayigirizwa be ne bagenda ne bategeeza abantu wonna wonna Amawulire Amalungi. Mukama n'ababeeranga, era n'akakasanga obubaka bwabwe ng'abakozesa ebyamagero.]