[1] Yesu n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
[2] Oyo ayita mu mulyango ye musumba w'endiga.
[3] Omuggazi amuggulirawo, n'endiga ziwulira eddoboozi lye. Endiga ze aziyita amannya, n'azifulumya ebweru.
[4] Bw'amala okuzifulumya, azikulembera, ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye.
[5] Omulala tezimugoberera, wabula zidduka mudduke, kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”
[6] Yesu yabagerera olugero olwo, naye bo ne batategeera ky'agambye.
[7] Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nze mulyango gw'endiga.
[8] Abalala bonna abansooka okujja babbi era banyazi, naye endiga tezaabawuliriza.
[9] Nze mulyango. Buli ayingirira mu Nze aliba bulungi. Aliyingira, n'afuluma, n'aliisibwa mu ddundiro.
[10] Omubbi ajjirira kubba, na kutta, na kuzikiriza. Nze najja, abantu balyoke babe n'obulamu, era babe nabwo nga bujjuvu.
[11] “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
[12] Oyo alundira empeera, atali musumba era atali nnannyini ndiga, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka n'adduka, omusege ne guzirumba, ne guzisaasaanya.
[13] Adduka, kubanga alundira mpeera. Endiga tazifaako.
[14] “Nze musumba omulungi. Ntegeera endiga zange, era n'endiga zange zintegeera.
[15] Nga Kitange bw'antegeera, era nange bwe ntyo bwe ntegeera Kitange, era mpaayo obulamu bwange okukuuma endiga zange.
[16] Nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino. Nteekwa nazo okuzireeta. Ziriwulira eddoboozi lyange, era waliba ekisibo kimu n'omusumba omu.
[17] “Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize.
[18] Tewali abunzigyako, nze mbuwaayo nzennyini. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddiza. Ekyo Kitange kye yandagira okukola.”
[19] Empaka ne zisituka nate mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo.
[20] Bangi ku bo ne bagamba nti: “Aliko omwoyo omubi, era alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
[21] Abalala ne bagamba nti: “Ebigambo bino si bya muntu aliko mwoyo mubi. Omwoyo omubi guyinza okuzibula amaaso ga muzibe?”
[22] Mu Yerusaalemu, yali mbaga ey'Okutukuza Essinzizo, era bwali budde bwa butiti.
[23] Yesu yali atambulatambula mu kisasi kya Solomooni mu Ssinzizo.
[24] Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti: “Olituusa ddi okutuleka mu kubuusabuusa? Tubuulire oba nga ggwe Kristo.”
[25] Yesu n'abaddamu nti: “Nababuulira dda, naye temukkiriza. Ebyo bye nkola mu buyinza bwa Kitange, bye binjogerera.
[26] Naye mmwe temukkiriza, kubanga temuli ndiga zange.
[27] Endiga zange ziwuliriza eddoboozi lyange. Nze nzitegeera, era zingoberera.
[28] Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezirizikirira emirembe n'emirembe. Tewali n'omu ayinza kuzinnyagako.
[29] Kitange eyazimpa, ye asinga bonna obuyinza, era tewali ayinza kuzimunyagako.
[30] Nze ne Kitange tuli omu.”
[31] Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okukuba Yesu.
[32] Ye n'abagamba nti: “Mwalaba ebirungi bingi Kitange bye yansobozesa okukola. Kiruwa ku byo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
[33] Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetukukuba mayinja lwa birungi by'okola, naye lwa kuvvoola Katonda, era kubanga ggwe omuntu obuntu, weefuula Katonda.”
[34] Yesu n'abaddamu nti: “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Katonda yagamba nti: ‘Muli balubaale?’
[35] Katonda, abo abaaweebwa ekigambo kye, yabayita balubaale, ate ng'ebyawandiikibwa bisigala nga bya mazima bulijjo.
[36] Nze, Kitange yantukuza, n'antuma mu nsi. Kale lwaki mugamba nti nzivoola Katonda, kubanga ŋŋambye nti ndi Mwana wa Katonda?
[37] Oba nga sikola ebyo Kitange by'ayagala nkole, temunzikiriza.
[38] Naye oba nga mbikola, newaakubadde Nze temunzikiriza, waakiri mukkirize ebyo bye nkola, mulyoke mumanye era mutegeere nga Kitange ali mu Nze, nga nange ndi mu Kitange.”
[39] Ne bagezaako nate okumukwata, kyokka n'abasumattuka.
[40] N'agenda nate emitala w'Omugga Yorudaani, mu kifo Yowanne gye yali olubereberye ng'abatiza. N'abeera eyo.
[41] Abantu bangi ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanne teyakola byewuunyo, kyokka byonna Yowanne bye yayogera ku ono bya mazima.”
[42] Bangi abaali eyo ne bamukkiriza