[1] Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'atambula mu Galilaaya. Teyayagala kutambula mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta.
[2] Embaga y'Abayudaaya ey'Ensiisira yali eneetera okutuuka.
[3] Baganda ba Yesu ne bamugamba nti: “Va wano ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe ku ebyo by'okola,
[4] kubanga tewali akweka ekyo ky'akola, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Ggwe nga bw'okola bino, leka ensi yonna ekumanye.” (
[5] Ne baganda be bennyini tebaamukkiriza).
[6] Awo Yesu n'abagamba nti: “Ekiseera ekyange tekinnatuuka, naye ekiseera ekyammwe bulijjo kibaawo.
[7] Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye nze enkyawa, kubanga ngitegeeza nti ebikolwa by'ekola bibi.
[8] Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sinnatuusa kwambuka ku mbaga eyo, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
[9] Bwe yamala okubagamba ebyo, n'asigala mu Galilaaya.
[10] Baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si mu lwatu, wabula mu kyama.
[11] Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, nga beebuuza nti: “Ali ludda wa?”
[12] Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi ku ye mu bantu. Abamu nga bagamba nti: “Mulungi.” Abamu nga bagamba nti: “Nedda, akyamya abantu.”
[13] Kyokka olw'okutya Abayudaaya, ne wataba amwogerako mu lwatu.
[14] Awo mu makkati g'ekiseera eky'embaga, Yesu n'ayambuka mu Ssinzizo, n'ayigiriza.
[15] Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono amanyi atya ebingi bwe bityo, sso nga tayigangako?”
[16] Yesu n'abaddamu nti: “Bye njigiriza si byange, wabula by'oyo eyantuma.
[17] Buli ayagala okukola Katonda by'ayagala, alitegeera oba nga bye njigiriza biva wa Katonda, oba nga byange ku bwange.
[18] Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, aba wa mazima, era tabaamu bukuusa.
[19] Musa teyabawa Amateeka? Naye ku mmwe tewali akwata Mateeka ago. Lwaki musala amagezi okunzita?”
[20] Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Oliko omwoyo omubi! Ani asala amagezi okukutta?”
[21] Yesu n'addamu nti: “Nakola ekikolwa kimu, mwenna ne mwewuunya.
[22] Kale Musa yabalagira okukomolebwa (newaakubadde tekwatandikira ku Musa, wabula ku bajjajjammwe). Ne ku lunaku lwa Sabbaato mukomola omuntu.
[23] Oba ng'omuntu akomolebwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, lwaki nze munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato, n'aba mulamu ddala?
[24] Mulekenga kusala musango nga musinziira ku bya kungulu, naye musalenga omusango, nga mugoba ensonga.”
[25] Awo abamu ku bantu ab'omu Yerusaalemu ne bagamba nti: “Ono si gwe banoonya okutta?
[26] Ate wuuno ayogera mu lwatu, era tebaliiko kye bamugamba. Ab'obuyinza bandiba nga bategeeredde ddala ng'ono ye Kristo?
[27] Naye ono tumanyi gy'ava, sso nga Kristo bw'alijja, tewali alimanya gy'ava.”
[28] Awo Yesu n'akangula ku ddoboozi ng'ayigiriza mu Ssinzizo, n'agamba nti: “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo, sso sajja ku bwange, wabula oyo eyantuma ddala gyali, kyokka mmwe temumumanyi.
[29] Nze mmumanyi, kubanga nava gy'ali, era ye yantuma.”
[30] Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
[31] Era bangi mu kibiina ky'abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti: “Kristo bw'alijja, alikola ebyewuunyo bingi okusinga ono by'akola?”
[32] Abafarisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuma abaserikale okumukwata.
[33] Awo Yesu n'agamba nti: “Nja kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke ŋŋende eri oyo eyantuma.
[34] Mulinnoonya, naye temulindaba, nga gye ndi mmwe temuyinza kutuukayo.”
[35] Awo Abayudaaya ne bagambagana nti: “Ono ayagala kugenda wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani?
[36] Ategeeza ki bw'agamba nti: ‘Mulinnoonya, naye temulindaba,’ era nti: ‘Gye ndibeera temuyinza kutuukayo?’ ”
[37] Ku lunaku olw'embaga olusembayo era olusingira ddala obukulu, Yesu n'ayimirira, n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Buli alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.
[38] Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, ‘Emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.’ ”
[39] Ekyo Yesu yakyogera ku Mwoyo Mutuukirivu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, olw'okubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
[40] Abamu mu kibiina ky'abantu ekyo bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi oli.”
[41] Abalala ne bagamba nti: “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti: “Kristo asibuka mu Galilaaya?
[42] Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era wa kuzaalibwa mu Betilehemu, ekibuga Dawudi mwe yali?”
[43] Awo ekibiina ky'abantu ne kyawukanamu olwa Yesu.
[44] Abamu ku bo ne baagala okumukwata, kyokka ne wataba amukwatako.
[45] Awo abaserikale ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Bo ne bababuuza nti: “Lwaki temumuleese?”
[46] Abaserikale ne baddamu nti: “Tewali muntu yali ayogedde ng'oyo bw'ayogera!”
[47] Abafarisaayo ne babaddamu nti: “Era nammwe abakyamizza?
[48] Mu bakulembeze, wadde mu Bafarisaayo, ani yali amukkiriza?
[49] Ekibiina ky'abantu kino tekitamanyi mateeka, era kikolimiddwa!”
[50] Nikodemo, omu ku bo, eddako eyagenda eri Yesu, n'abagamba nti:
[51] “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tebannaba kumuwozesa, n'okutegeera ky'akoze?”
[52] Ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe wava Galilaaya? Weetegereze ebyawandiikibwa, ojja kulaba nti e Galilaaya tesibuka mulanzi.” [
[53] Buli muntu n'addayo ewuwe.