Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:23

[1] “Ebyo mbibabuulidde, muleme kuterebuka.

[2] Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro. Era ekiseera kirituuka, buli abatta n'alowooza nti aweereza Katonda.

[3] Ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamumanyi, era nange tebammanyi.

[4] Naye ebyo mbibabuulidde, ekiseera kyabyo bwe kirituuka, mulyoke mujjukire nga nze nabibabuulira. “Mu kusooka, ebyo saabibabuulira, kubanga nali nkyali wamu nammwe.

[5] Naye kaakano ŋŋenda eri oyo eyantuma, era ku mmwe tewali ambuuza nti: ‘Ogenda wa?’

[6] Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku.

[7] Naye mbategeeza amazima nti kibagasa nze okugenda, kubanga bwe sigenda, Omubeezi talijja gye muli. Kyokka bwe ŋŋenda, ndimubatumira.

[8] Ye bw'alijja, alirumiriza abantu b'ensi nti bawubwa ku bikwata ku kibi, ne ku butuukirivu, ne ku kusala omusango;

[9] ku bikwata ku kibi, kubanga tebanzikiriza,

[10] ku bikwata ku butuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, era munaaba temukyandaba;

[11] ku bikwata ku kusala omusango, kubanga omufuzi w'ensi eno asaliddwa omusango.

[12] “Nkyalina bingi eby'okubabuulira, naye kaakano temubisobola.

[13] Naye Mwoyo amanyisa abantu amazima bw'alijja, anaabaluŋŋamyanga mu by'amazima byonna, kubanga taayogerenga ku bubwe, wabula anaayogeranga by'awulira, era anaababuuliranga ebigenda okujja.

[14] Oyo anangulumizanga, kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.

[15] Byonna byonna Kitange by'alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.

[16] “Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono, ne mundaba.”

[17] Abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Kiki ekyo ky'atugamba nti: ‘Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba,’ era nti: ‘Ŋŋenda eri Kitange?’ ”

[18] Ne beebuuza nti: “Kiki ekyo ky'agamba nti ‘Ebbanga ttono?’ Tetumanyi ky'agamba.”

[19] Yesu n'amanya nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti: “Kino kye mwebuuzaganyaako, kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba?

[20] Mazima ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka. Mmwe mulinakuwala, naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu.

[21] “Omukazi ng'azaala, aba mu bulumi bungi, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw'amala okuzaalibwa, omukazi nga takyajjukira bulumi olw'essanyu ery'okuzaala omuntu ku nsi.

[22] Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndibalaba, nate emitima gyammwe ne gisanyuka, era essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako.

[23] “Ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Mazima ddala mbagamba nti Kitange alibawa buli kye mulisaba mu linnya lyange.

[24] Okutuusa kati mubadde temusaba mu linnya lyange. Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.

[25] “Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka, nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira lwatu ebifa ku Kitange.

[26] Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange. Sso sibagamba nti ndibasabira eri Kitange.

[27] Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagala era mukkirizza nga nava eri Katonda.

[28] Nava eri Kitange ne nzija ku nsi. Kaakano ndeka ensi, ŋŋenda eri Kitange.”

[29] Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Kaakano oyogera lwatu, toyogera mu ngero.

[30] Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, era nga tekyetaagisa muntu n'omu kukubuuza kibuuzo. Kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.”

[31] Yesu n'abaddamu nti: “Kaakano mukkiriza?

[32] Laba, ekiseera kijja, era kimaze n'okutuuka, musaasaane, buli muntu adde ewuwe, mundeke bwomu. Sso siri bwomu, kubanga Kitange ali wamu nange.

[33] Ebyo mbibabuulidde, mulyoke mube n'emirembe mu nze. Ku nsi mujja kubonaabona, naye mugume, nze mpangudde ensi.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Yowanne — Chapters