Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:30

[1] “Nze muzabbibu gwennyini, ate Kitange ye mulimi.

[2] Buli ttabi eriri mu Nze eritabala bibala aliggyawo, ate buli ttabi eribala ebibala, alisalira liryoke lyeyongere okubala ebibala.

[3] Kaakano mmwe muli balongoofu olw'ebigambo bye mbagambye.

[4] Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe kityo nammwe, temuyinza kubala bibala, bwe mutabeera mu nze.

[5] “Nze muzabbibu, mmwe matabi. Abeera mu nze, nange ne mbeera mu ye, abala ebibala bingi. Nze we ssiri, temuliiko kye muyinza kukola.

[6] Atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, era akala. Amatabi ng'ago, bagakuŋŋaanya ne bagasuula mu muliro, ne gookebwa.

[7] “Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange ne bibeera mu mmwe, musabenga kyonna kye mwagala, kinaabakolerwanga.

[8] Bwe mubala ebibala ebingi, ne mufuukira ddala bayigirizwa bange, Kitange aweebwa ekitiibwa.

[9] Nga Kitange bw'anjagala, nange bwe mbaagala mmwe. Mubeerenga mu kwagala kwange.

[10] Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.

[11] “Ebyo mbibagambye, essanyu lye nnina liryoke libeere ne mu mmwe, era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

[12] Ekiragiro kyange kye kino, mwagalanenga, nga nze bwe nabaagala mmwe.

[13] Tewali alina kwagala okusinga okw'oyo awaayo obulamu bwe olw'abo b'ayagala.

[14] “Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira.

[15] Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya mukama we by'akola. Naye mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nawulira eri Kitange, mbibategeezezza mmwe.

[16] “Si mmwe mwannonda nze, wabula nze nabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, era ebibala byammwe biremenga kuggwaawo. Era buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga.

[17] Kye mbalagira kye kino, mwagalanenga.

[18] “Ensi bw'ebakyawanga mmwe, mumanye nga yasooka kukyawa nze.

[19] Singa mubadde ba nsi, ensi yandibaagadde mmwe ng'abaayo. Naye kubanga nze nabalonda, temukyali ba nsi. Ensi kyeva ebakyawa.

[20] Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti omuddu tasinga mukama we. Oba nga nze banjigganya, nammwe banaabayigganyanga. Oba nga baakwata ebigambo byange, n'ebyammwe banaabikwatanga.

[21] Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'okubeera nze, kubanga eyantuma tebamumanyi.

[22] “Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi. Naye kaakano tewali kibaggyako musango gwa kibi kyabwe.

[23] Ankyawa, akyawa ne Kitange.

[24] Singa saabakoleramu bikolwa ebitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi. Naye kaakano babirabye, ne bankyawa nze, ne Kitange.

[25] Naye ekyawandiikibwa mu Mateeka gaabwe nti: ‘Bankyayira bwereere’, kiteekwa okutuukirira.

[26] “Bwe ndigenda eri Kitange, ndibatumira mmwe Omubeezi, ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ava mu Kitange. Ye bw'alijja, aliba mujulirwa wange.

[27] Era nammwe muli bajulirwa bange, kubanga mubadde nange okuva olubereberye.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Yowanne — Chapters