[1] Waaliwo omuntu, erinnya lye Nikodemo, omukulembeze mu Bayudaaya, nga wa mu kibiina kya Bafarisaayo.
[2] Oyo n'ajja ekiro eri Yesu, n'amugamba nti: “Rabbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyatumibwa Katonda, kubanga tewali ayinza kukola byewuunyo ggwe by'okola, wabula nga Katonda ali naye.”
[3] Yesu n'amuddamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwakubiri, tayinza kulaba Bwakabaka bwa Katonda.”
[4] Nikodemo n'amubuuza nti: “Omuntu akuze ayinza atya okuzaalibwa nate? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina, n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?”
[5] Yesu n'addamu nti: “Mazima ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo Mutuukirivu, tayinza kuyingira Bwakabaka bwa Katonda.
[6] Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n'ekizaalibwa omwoyo, kiba mwoyo.
[7] “Teweewuunya kubanga nkugambye nti muteekwa okuzaalibwa omulundi ogwokubiri.
[8] Empewo gy'eyagala gy'ekuntira. Owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy'eva na gy'eraga. Buli muntu azaalibwa Mwoyo, bw'atyo bw'aba.”
[9] Nikodemo n'amubuuza nti: “Ebyo biyinzika bitya?”
[10] Yesu n'amuddamu nti: “Ggwe omuyigiriza wa Yisirayeli n'ototegeera ebyo?
[11] Mazima ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi. Tukakasa kye twalaba, sso temukkiriza bye tubategeeza.
[12] Oba nga mbabuulidde eby'oku nsi ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu?
[13] Tewali yali alinnye mu ggulu, wabula oyo eyava mu ggulu, ye Mwana w'Omuntu.”
[14] Nga Musa bwe yawanika omusota ogw'ekikomo ku muti mu ddungu, n'Omwana w'Omuntu bw'atyo bw'ateekwa okuwanikibwa,
[15] buli muntu amukkiriza, afune obulamu obutaggwaawo mu ye.
[16] Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi, kyeyava awaayo Omwana we omu yekka, buli amukkiriza aleme kuzikirira, wabula abe n'obulamu obutaggwaawo.
[17] Katonda teyatuma Mwana we mu nsi agisalire musango, wabula yamutuma, ensi eryoke erokolerwe mu ye.
[18] Buli amukkiriza, tegumusinga. Atamukkiriza, guba gumaze okumusinga, kubanga takkirizza Omwana omu bw'ati owa Katonda.
[19] Guno gwe musango. Ekitangaala kyajja mu nsi, naye abantu ne baagala ekizikiza okusinga ekitangaala, olw'ebikolwa byabwe ebibi.
[20] Buli muntu akola ebikolwa ebibi, akyawa ekitangaala, era tajja eri kitangaala, ebikolwa bye bireme kulabibwa.
[21] Naye buli akolera ku mazima, ajja mu kitangaala, ekitangaala kirage nti ebikolwa bye bikoleddwa, nga byesigamye ku Katonda.
[22] Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu kitundu eky'e Buyudaaya, n'abeera eyo nabo, n'abatiza.
[23] Yowanne naye yali ng'abatiriza mu Enoni, okumpi ne Saalimu, kubanga amazzi gye gaali amangi. Abantu ne bagendayo, ne babatizibwa.
[24] Olwo Yowanne yali tannaggalirwa mu kkomera.
[25] Awo olwatuuka, abayigirizwa ba Yowanne ne baba n'empaka n'Omuyudaaya, ku bifa ku mukolo ogw'okunaaba okw'okutukuzibwa.
[26] Ne bagenda eri Yowanne, ne bamugamba nti: “Rabbi, oli eyali naawe emitala w'omugga Yorudaani era gwe wayogerako, kaakano abatiza, era abantu bonna bagenda gy'ali.”
[27] Yowanne n'addamu nti: “Omuntu tayinza kuba na kintu, wabula nga Katonda ye akimuwadde.
[28] Mmwe mwennyini munjulira nga nayogera nti: ‘Si nze Kristo, wabula natumibwa kumukulemberamu.’
[29] Omugole aba w'oyo awasizza. Mukwano gw'oyo awasizza omugole, amubeera kumpi n'awuliriza, n'asanyuka nnyo okuwulira eddoboozi ly'oyo awasizza omugole. Bwe kityo essanyu lyange lituukiridde.
[30] Ye ateekwa okukula, naye nze okutoowala.”
[31] Oyo ava mu ggulu ye afuga byonna. Oyo ava ku nsi aba wa ku nsi, era ayogera ku bya ku nsi. Ava mu ggulu ye afuga byonna.
[32] Ayogera ku kye yalaba era kye yawulira, wabula tewali akkiriza bigambo bye.
[33] Oyo akkiriza ebigambo bye, akakasa nti Katonda wa mazima,
[34] kubanga oyo Katonda gwe yatuma, ayogera ebigambo bya Katonda, kubanga Katonda amuwa Mwoyo we omujjuvu.
[35] Kitaawe w'Omwana ayagala Omwana we, era byonna yabissa mu buyinza bwe.
[36] Akkiriza Omwana, aba n'obulamu obutaggwaawo. Kyokka atakkiriza Mwana, taba na bulamu obutaggwaawo, wabula asunguwalirwa Katonda.