Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:50

[1] Bwe waayitawo ennaku bbiri, ne wabaawo embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Galilaaya. Nnyina Yesu yaliyo.

[2] Yesu naye n'ayitibwa ku mbaga, awamu n'abayigirizwa be.

[3] Omwenge ogw'emizabbibu bwe gwaggwaawo, nnyina n'amugamba nti: “Tebakyalina mwenge ogw'emizabbibu.”

[4] Yesu n'amugamba nti: “Maama, ndeka! Ekiseera kyange tekinnatuuka”

[5] Nnyina n'agamba abaweereza nti: “Kyonna ky'anaabagamba mukikole.”

[6] Waaliwo amatogero mukaaga ag'amayinja, agaateekebwawo, olw'omukolo gw'Abayudaaya ogw'okwetukuza, buli limu nga livaamu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

[7] Yesu n'abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuliza ddala okutuuka ku migo.

[8] Awo n'abagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire omugabuzi w'embaga.” Ne bamutwalira.

[9] Omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse omwenge ogw'emizabbibu, n'atamanya gye guvudde, sso abaweereza abaasena amazzi, bo nga bamanyi. N'ayita awasizza omugole, n'amugamba nti:

[10] “Buli muntu asooka kugabula mwenge ogw'emizabbibu mulungi, abantu bwe bamala okukkuta, n'aleeta ogutali mulungi. Ggwe waterese omwenge ogw'emizabbibu omulungi okutuusa kaakano!”

[11] Mu byewuunyo Yesu bye yakola, kino kye kyasooka. Yakikolera mu Kaana eky'e Galilaaya, n'alaga ekitiibwa kye, abayigirizwa be ne bamukkiriza.

[12] Ebyo bwe byaggwa, Yesu ne baganda be n'abayigirizwa be, era ne nnyina, ne baserengeta e Kafarunawumu, ne bamalayo ennaku ntonotono.

[13] Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu.

[14] Mu Ssinzizo n'asangamu abatunda ente n'endiga n'enjiibwa, era n'abo abawaanyisa ensimbi.

[15] N'akwata emiguwa, n'agikolamu obuswanyu, n'abagoba bave mu Ssinzizo, era n'agobamu endiga n'ente. Era n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, ensimbi zaabwe n'aziyiwa.

[16] N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano. Ennyumba ya Kitange muleme kugifuula ya kusuubuliramu.”

[17] Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti: “Okwagala ennyumba yo, ayi Mukama, kulindya.”

[18] Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kyewuunyo ki ky'okola okutulaga nti olina obuyinza okukola bino?”

[19] Yesu n'abaddamu nti: “Mumenyeewo Essinzizo lino, nze ndirizimbira ennaku ssatu.”

[20] Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Essinzizo lino lyazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga. Naye ggwe olirizimbira ennaku ssatu?”

[21] Kyokka Yesu, Essinzizo lye yayogerako, gwe mubiri gwe.

[22] Bwe yamala okuzuukira, olwo abayigirizwa be ne bajjukira nti yakyogera, ne bakkiriza ebyawandiikibwa, era n'ebigambo Yesu bye yayogera.

[23] Yesu bwe yali e Yerusaalemu ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bangi bwe baalaba ebyewuunyo bye yakola, ne bamukkiriza.

[24] Kyokka Yesu n'atabeeyabizaamu, kubanga yamanya abantu bonna.

[25] Yali teyeetaaga mulala kumubuulira ebifa ku bantu, kubanga ye yennyini yali amanyi ebiri mu mitima gy'abantu.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Yowanne — Chapters