[1] Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey'e Tiberiya. Yabalabikira bw'ati:
[2] Simooni Peetero, ne Tomasi, ayitibwa Omulongo, ne Natanayili ow'e Kaana eky'e Galilaaya, ne batabani ba Zebedaayo, n'abayigirizwa ba Yesu abalala babiri, bonna baali wamu.
[3] Simooni Peetero n'abagamba nti: “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti: “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasa kantu.
[4] Obudde bwali bwakakya, Yesu n'ayimirira ku lubalama, kyokka abayigirizwa, ne batamanya nti ye Yesu.
[5] Awo Yesu n'abagamba nti: “Abalenzi, mukutteyo akookulya?” Ne bamuddamu nti: “Nedda.”
[6] N'abagamba nti: “Musuule akatimba ku ludda olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, era ne batayinza kukannyulula, olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa.
[7] Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga, n'agamba Peetero nti: “Oyo ye Mukama waffe.” Simooni Peetero bwe yawulira nti oyo ye Mukama, ne yeesiba olugoye, (kubanga yali bwereere), ne yeesuula mu mazzi.
[8] Abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato, nga basika akatimba akalimu ebyennyanja. Tebaali wala n'olukalu, naye nga balwesudde mita nga kikumi.
[9] Awo bwe baavaamu, ne batuuka ku lukalu, ne balaba omuliro ogw'amanda, nga guteekeddwako ebyennyanja, n'omugaati.
[10] Awo Yesu n'abagamba nti: “Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.”
[11] Simooni Peetero n'agenda, n'asaabala, n'awalula akatimba, n'akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo, akatimba tekaakutuka.
[12] Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulye.” Naye ku bayigirizwa, tewali yategana kumubuuza nti: “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama.
[13] Yesu n'ajja, n'atoola omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo.
[14] Guno gwe mulundi ogwokusatu, Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng'amaze okuzuukira.
[15] Bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala okusinga bano bwe banjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga abaana b'endiga zange.”
[16] Era n'amugamba omulundi ogwokubiri nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” N'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Lundanga endiga zange.”
[17] N'amugamba omulundi ogwokusatu nti: “Simooni, omwana wa Yona, onjagala?” Peetero n'anakuwala, kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti: “Onjagala?” N'amuddamu nti: “Mukama wange, omanyi byonna, omanyi nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti: “Liisanga endiga zange.
[18] Mazima ddala nkugamba nti bwe wali omuvubuka, weesibanga, n'ogenda gy'oyagala. Naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala n'akusiba, n'akutwala gy'otoyagala.”
[19] Ekyo Yesu yakyogera, ng'alaga enfa, Peetero gy'alifaamu, okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera ekyo, n'agamba Peetero nti: “Ngoberera.”
[20] Peetero bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba omuyigirizwa oyo omulala, ng'agoberera. Omuyigirizwa oyo, ye oli Yesu gwe yayagalanga, era eyagalamira okumpi n'ekifuba kya Yesu nga balya, n'amubuuza nti: “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?”
[21] Awo Peetero bwe yalaba oyo, n'agamba Yesu nti: “Mukama wange, ate ono aliba atya?”
[22] Yesu n'amuddamu nti: “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? Ggwe goberera nze.”
[23] Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Sso Yesu teyamugamba nti talifa, wabula nti: “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?”
[24] Oyo ye muyigirizwa akakasa bino, era ye yabiwandiika. Tumanyi nga by'ayogera bya mazima.
[25] Waliwo n'ebirala bingi Yesu bye yakola. Nabyo singa biwandiikibwa kinnakimu, ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.