[1] Yesu n'agamba nti: “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkirize Katonda, era nange munzikirize.
[2] Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi, era ŋŋenda okubategekera ekifo. Singa si bwe kiri, sandibagambye bwe ntyo.
[3] Bwe ndimala okugenda ne mbategekera ekifo, ndikomawo ne mbatwala gye ndi, nammwe mubeere eyo, nze gye mbeera.
[4] Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.”
[5] Tomasi n'amugamba nti: “Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda. Tuyinza tutya okumanya ekkubo erigendayo?”
[6] Yesu n'amuddamu nti: “Nze kkubo, nze mazima, era nze bulamu. Tewali atuuka eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
[7] Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye. Era okuva kati mumumanyi, era mumulabye.”
[8] Filipo n'amugamba nti: “Mukama waffe, tulage ku Kitaawo, kinaatumala.”
[9] Yesu n'amuddamu nti: “Kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna, tontegeeranga, Filipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange. Ate lwaki ogamba nti: ‘Tulage ku Kitaawo’?
[10] Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, era nga Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba mmwe, sibyogera ku bwange. Kitange ali mu nze, ye akola yennyini.
[11] “Munzikirize nti nze ndi mu Kitange, era nti ne Kitange ali mu nze. Oba si ekyo, munzikirize olw'ebikolwa byennyini bye nkola.
[12] Mazima ddala mbagamba nti anzikiriza, alikola bye nkola, era alikola n'ebisingawo, kubanga nze ŋŋenda eri Kitange.
[13] Era buli kye munaasabanga mu linnya lyange, nnaakikolanga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.
[14] Bwe munaasabanga ekintu mu linnya lyange, nnaakikolanga.
[15] “Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.
[16] Era ndisaba Kitange, n'abawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.
[17] Oyo ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ensi gw'eteyinza kukkiriza kufuna, kubanga temulaba, era temumanyi. Mmwe mumumanyi, kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
[18] “Siribaleka nga bamulekwa. Ndikomawo gye muli.
[19] Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu.
[20] Ku lunaku olwo mulitegeera nga nze ndi mu Kitange, era nga nammwe muli mu nze, ate nga nange ndi mu mmwe.
[21] “Awulira ebiragiro byange n'abikwata, oyo ye anjagala. Kitange anaayagalanga oyo anjagala, nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
[22] Yuda, atali oli Yisikaryoti, n'amugamba nti: “Mukama waffe, ekyo kiri kitya, ggwe okulabikira ffe, n'otolabikira nsi?”
[23] Yesu n'amuddamu nti: “Buli anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange, era anaayagalibwanga Kitange. Tulijja gy'ali ne tubeera mu ye.
[24] Atanjagala, takwata bigambo byange. Ate ekigambo kye muwulira, si kyange, wabula kya Kitange eyantuma.
[25] “Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe.
[26] Naye Omubeezi, ye Mwoyo Mutuukirivu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
[27] “Mbalekera emirembe. Mbawa emirembe gyange. Sigibawadde ng'ensi bw'ewa. Temweraliikiriranga era temutyanga.
[28] Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era ndikomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse nga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga ekitiibwa.
[29] Ekyo nkibabuulidde kaakano nga tekinnabaawo, bwe kiribaawo mulyoke mukkirize.
[30] Sikyayogedde bingi nammwe, kubanga omufuzi w'ensi eno ajja, kyokka tanninaako buyinza.
[31] Naye nkola nga Kitange bwe yandagira, ensi eryoke emanye nti Kitange mmwagala. “Musituke, tuve wano.