[1] Lwali lunaku olukulembera Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Yesu yamanya ng'ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno, agende eri Kitaawe. Yayagala ababe abaali mu nsi, era yabaagala okutuusiza ddala ku nkomerero.
[2] Baali balya kyaggulo. Sitaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda omwana wa Simooni Yisikaryoti, ekirowoozo eky'okulyamu Yesu olukwe.
[3] Yesu yamanya nga Kitaawe amuwadde obuyinza obujjuvu. Era yamanya nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda.
[4] Awo n'ava we yali atudde ng'alya, ne yeeggyako omunagiro gwe, n'akwata ekiremba, ne yeesiba ekimyu.
[5] N'ateeka amazzi mu bbenseni, n'atandika okunaaza abayigirizwa ebigere, n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
[6] Awo n'atuuka ku Simooni Peetero, Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, ggwe onaaza nze ebigere?”
[7] Yesu n'amuddamu nti: “Kye nkola, ggwe kaakano tokitegeera, naye olikitegeera oluvannyuma.”
[8] Peetero n'amugamba nti: “Tolinnaaza bigere mulundi na gumu!” Yesu n'amuddamu nti: “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”
[9] Simooni Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye n'emikono n'omutwe!”
[10] Yesu n'amugamba nti: “Anaabye omubiri, aba mulongoofu yenna, era teyeetaaga kunaaba, okuggyako okunaaba ebigere. Nammwe muli balongoofu, naye si mwenna.”
[11] Kyeyava agamba nti: “Muli balongoofu, naye si mwenna,” kubanga yamanya oyo eyali agenda okumulyamu olukwe.
[12] Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere, ne yezzaako omunagiro gwe, n'addayo n'atuula, n'abagamba nti: “Kye mbakoze mukitegedde?
[13] Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe. Mwogera kituufu, kubanga ddala bwe ndi.
[14] Kale oba nga nze Mukama wammwe, era Omuyigiriza wammwe mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaazanga munne ebigere,
[15] kubanga mbawadde ekyokulabirako. Nga bwe nkoze ku mmwe, nammwe bwe mubanga mukola.
[16] Mazima ddala mbagamba nti omuddu takira mukama we, n'omutume tasinga yamutuma.
[17] Oba nga ebyo mubimanyi, muli ba mukisa bwe mubituukiriza.
[18] “Soogera ku mmwe mwenna. Nze mmanyi be nalondamu. Naye ekyawandiikibwa kiteekwa okutuukirira nti: ‘Alya ku mmere yange, anneefuukidde.’
[19] Kino nkibabuulira kaakano nga tekinnabaawo, bwe kinaamala okubaawo, mulyoke mukkirize nti Ye Nze.
[20] Mazima ddala mbagamba nti ayaniriza buli gwe ntuma, aba ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, aba ayanirizza oli eyantuma.”
[21] Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'anyolwa mu mwoyo, n'ayatula, n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
[22] Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyi gw'ayogerako.
[23] Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde ng'aliraanye ekifuba kya Yesu.
[24] Simooni Peetero n'amuwenya, n'amugamba nti: “Tubuulire gw'ayogerako.”
[25] Ye bwe yaddayo okugalamira ng'aliraanye ekifuba kya Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, gw'oyogerako ye ani?”
[26] Yesu n'addamu nti: “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa, nga ye wuuyo.” Awo n'akwata ekitole, n'akikoza, n'akiwa Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti.
[27] Yuda bwe yamala okufuna ekitole ekyo, Sitaani n'amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti: “Ky'okola, kikole mangu!”
[28] Ku baali balya, tewali n'omu yategeera kyeyava amugamba bw'atyo.
[29] Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensawo, Yesu amugambye nti: “Genda ogule bye twetaaga ku Mbaga”, oba nti: “Baako ky'ogabira abaavu.”
[30] Yuda bwe yamala okufuna ekitole, amangwago n'afuluma ebweru. Obudde bwali bwa kiro.
[31] Yuda bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti: “Kaakano Omwana w'Omuntu agulumiziddwa, ne Katonda agulumiziddwa mu ye.
[32] Era oba nga Katonda agulumiziddwa mu ye, ne Katonda anaagulumiza Omwana w'Omuntu mu ye yennyini, era anaamugulumiza amangwago.
[33] Baana bange, akaseera katono ke nkyali awamu nammwe. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
[34] “Mbawa ekiragiro ekiggya, mwagalanenga. Nga nze bwe nabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalananga.
[35] Bwe munaayagalananga, bonna kwe banaategeereranga, nga muli bayigirizwa bange.”
[36] Simooni Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, ogenda wa?” Yesu n'addamu nti: “Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano, naye olingoberera gye bujja.”
[37] Peetero n'amubuuza nti: “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
[38] Yesu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Mazima ddala nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”