[1] Bwe waali nga wakyabulayo ennaku mukaaga, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke, Yesu n'ajja e Betaniya, awaali Laazaro, gwe yazuukiza.
[2] Ne bamufumbirayo ekyeggulo, Marita n'aweereza. Laazaro yali omu ku baali batudde ne Yesu okulya.
[3] Awo Mariya n'addira eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agusiiga ku bigere bya Yesu, n'abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba n'ejjula akawoowo ak'omuzigo ogwo.
[4] Naye Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti:
[5] “Lwaki omuzigo guno tegutundiddwa denaari ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu?”
[6] Yayogera ekyo, si lwa kulumirwa baavu, wabula kubanga yali mubbi. Ye yakwatanga ensawo, era bye baateekangamu, ng'abitwala.
[7] Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, omuzigo aguterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange.
[8] Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
[9] Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya, ne kitegeera nti Yesu ali Betaniya. Ne kijja, si lwa Yesu yekka, naye n'okulaba Laazaro, Yesu gwe yazuukiza.
[10] Bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Laazaro,
[11] kubanga ku lulwe, Abayudaaya bangi baabavangako, ne bakkiriza Yesu.
[12] Ku lunaku olwaddirira, abantu abangi abaali bazze ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemu,
[13] ne bakwata amatabi g'enkindu, ne bagenda okumusisinkana, ne baleekaana nti: “Mukama atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa. Ye Kabaka wa Yisirayeli.”
[14] Awo Yesu n'asanga endogoyi, n'agyebagalako, nga bwe kyawandiikibwa nti:
[15] “Mmwe abantu b'e Siyooni, temutya. Laba, Kabaka wammwe ajja, nga yeebagadde omwana gw'endogoyi.”
[16] Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira, ng'ebyo byawandiikibwa nga bifa ku ye, era nga baabimukolera.
[17] Ekibiina ky'abantu ekyaliwo nga Yesu ayita Laazaro okuva mu ntaana n'amuzuukiza, kyanyumya ebibaddewo.
[18] Abantu bangi kyebaava bajja okumusisinkana, kubanga baali bawulidde nga yakola ekyewuunyo ekyo.
[19] Awo Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe bwe tulemeddwa! Ensi yonna emusenze!”
[20] Mu abo abaayambuka e Yerusaalemu, mu budde obw'Embaga okusinza Katonda, mwalimu Abayonaani abamu.
[21] Bano ne bajja eri Filipo, eyava e Betusayida eky'omu Galilaaya, ne bamusaba nti: “Ssebo, twagala okulaba Yesu.”
[22] Filipo n'agenda n'abuulira Andereya, bombi ne bategeeza Yesu.
[23] Yesu n'abaddamu nti: “Ekiseera kituuse Omwana w'Omuntu agulumizibwe.
[24] Mazima ddala mbagamba nti empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka. Naye bw'efa, ebala ebibala bingi.
[25] Buli ayagala obulamu bwe, alibufiirwa. Naye akyawa obulamu bwe mu nsi muno, alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
[26] Oyo ampeereza, angoberere. Nze we ndi, n'omuweereza wange w'anaabeeranga. Kitange aliwa ekitiibwa oyo ampeereza.
[27] “Kaakano omutima gwange gweraliikiridde, era njogere ki? Ŋŋambe nti: ‘Kitange, mponya akaseera kano?’ Naye ate ekyandeeta, kwe kuyita mu kaseera kano ak'okubonaabona!
[28] Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti: “Naligulumiza, era ndirigulumiza nate.”
[29] Ekibiina ky'abantu, ekyali kiyimiridde awo bwe kyawulira, ne kigamba nti: “Laddu ye bwatuse!” Abalala ne bagamba nti: “Malayika ayogedde naye.”
[30] Yesu n'abagamba nti: “Eddoboozi lino terizze ku lwange, wabula ku lwammwe.
[31] Kaakano ensi ejja kusalirwa omusango, kaakano omufuzi w'ensi eno, ajja kugoberwa ebweru.
[32] Ate nze bwe ndisitulibwa ku nsi, ndisika bonna ne mbazza gye ndi.”
[33] Ekyo yakyogera, ng'ategeeza enfa gy'alifaamu.
[34] Awo ekibiina ky'abantu ne kimuddamu nti: “Ffe mu Mateeka twawulira nti Kristo wa kubeerawo emirembe n'emirembe. Ate ggwe lwaki ogamba nti Omwana w'Omuntu ateekwa okusitulibwa? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?”
[35] Yesu n'abagamba nti: “Ekitangaala kinaabeera nammwe okumala ekiseera kitono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwatira mu kkubo, kubanga atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
[36] Mukkirize ekitangaala nga mukyakirina, mulyoke mube abaana b'ekitangaala.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'abeekweka.
[37] Newaakubadde yakola ebyewuunyo ebyenkanidde awo mu maaso gaabwe, era tebaamukkiriza.
[38] Ekigambo kya Yisaaya omulanzi ne kituukirira, ekigamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye tugamba? Era Mukama yalaga ani obuyinza bwe?”
[39] Kyebaava balema okukkiriza, kubanga Yisaaya yagamba era nti:
[40] “Katonda yabaziba amaaso, n'abakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, n'emitima gyabwe gireme okutegeera, era baleme kukyuka mbawonye.”
[41] Ebyo Yisaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu, n'amwogerako.
[42] Sso era bangi mu bakungu Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw'okutya Abafarisaayo, tebaakyatula, baleme okugobwa mu kkuŋŋaaniro.
[43] Baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu, okusinga ekitiibwa ekibaweebwa Katonda.
[44] Awo Yesu n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Anzikiriza, takkiriza Nze, wabula akkiriza oli eyantuma.
[45] Era alaba nze, ng'alabye oli eyantuma.
[46] Nze najja mu nsi nga ndi kitangaala, buli anzikiriza, aleme kubeera mu kizikiza.
[47] Awulira ebigambo byange n'atabikolerako, Nze simusalira musango, kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okugirokola.
[48] Agaana Nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango. Ebigambo bye nayogera bye birimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero,
[49] kubanga Nze saayogeranga ku bwange, wabula Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba, n'okwogera.
[50] Era mmanyi ng'ekiragiro kye, bwe bulamu obutaggwaawo. Kale Nze bye njogera, mbyogera nga Kitange bwe yabiŋŋamba.”