[1] Yesu bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti afuna era abatiza abayigirizwa bangi okusinga Yowanne, (
[2] sso nno Yesu yennyini si ye yabatizanga, wabula abayigirizwa be),
[3] n'ava mu Buyudaaya, n'addayo e Galilaaya.
[4] Yali ateekwa okuyita mu Samariya.
[5] Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samariya, ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yawa mutabani we Yosefu.
[6] Mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Yesu n'atuula awo ku luzzi, ng'olugendo lumukooyezza. Essaawa zaali nga mukaaga ez'omu ttuntu.
[7] Omukazi Omusamariya n'ajja okusena amazzi. Yesu n'amugamba nti: “Mpa ku mazzi nnyweko.”
[8] Abayigirizwa ba Yesu baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
[9] Awo omukazi Omusamariya n'amuddamu nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamariya amazzi okunywa?” (Abayudaaya baali tebatabagana na Basamariya).
[10] Yesu n'amuddamu nti: “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, era ng'omanyi oyo akugamba nti: ‘Mpa ku mazzi nnyweko,’ ggwe wandimusabye, era yandikuwadde amazzi amalamu.”
[11] Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina ky'osenya, ate oluzzi luwanvu. Onoggya wa amazzi ago amalamu?
[12] Ggwe mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno mwe yanywanga ye, n'abaana be, era n'ensolo ze?”
[13] Yesu n'amuddamu nti: “Buli muntu anywa ku mazzi gano, aliddamu okulumwa ennyonta.
[14] Naye buli anywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta emirembe n'emirembe, kubanga amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka ensulo eneevangamu amazzi amalamu, n'emuwa obulamu obutaggwaawo.”
[15] Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago, nneme kulumwanga nnyonta, wadde okujjanga wano okusena amazzi.”
[16] Yesu n'amugamba nti: “Genda oyite balo, okomewo wano.”
[17] Omukazi n'amuddamu nti: “Sirina baze.” Yesu n'amugamba nti: “Oli mutuufu okugamba nti tolina balo,
[18] kubanga walina babalo bataano, era oyo gw'olina kati si balo ddala. Ekyo oyogedde kya mazima.”
[19] Omukazi n'agamba Yesu nti: “Ssebo, ndaba ng'oli mulanzi.
[20] Ffe Abasamariya, bajjajjaffe ku lusozi luno kwe baasinzizanga Katonda. Naye mmwe Abayudaaya mugamba nti Yerusaalemu kye kifo, mwe tuteekwa okusinzizanga Katonda.”
[21] Yesu n'amugamba nti: “Mukazi wattu, nzikiriza, ekiseera kirituuka, nga Kitaffe tebakyamusinziza ku lusozi luno, wadde mu Yerusaalemu.
[22] Mmwe musinza kye mutamanyi. Ffe tusinza kye tumanyi, kubanga obulokozi buva mu Bayudaaya.
[23] Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu, basinzenga Kitaffe mu mwoyo era mu mazima, kubanga Kitaffe abamusinza bwe batyo, b'ayagala.
[24] Katonda Mwoyo, n'abo abamusinza bateekwa okumusinziza mu mwoyo era mu mazima.”
[25] Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristo, ajja. Ye bw'alijja, alitutegeeza ebintu byonna.”
[26] Yesu n'amugamba nti: “Ye Nze ayogera naawe.”
[27] Amangwago abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okusanga ng'ayogera n'omukazi. Kyokka ne wataba abuuza mukazi nti: “Oyagala ki?” Oba abuuza Yesu nti: “Lwaki oyogera naye?”
[28] Olwo omukazi n'aleka awo ensuwa ye, n'addayo mu kibuga, n'agamba abantu nti:
[29] “Mujje mulabe omuntu antegeezezza byonna bye nakolanga. Ayinza okuba nga ye Kristo!”
[30] Ne bava mu kibuga, ne bagenda eri Yesu.
[31] Mu kiseera ekyo, abayigirizwa baali nga beegayirira Yesu, nga bagamba nti: “Muyigiriza, lya ku mmere.”
[32] Ye n'abaddamu nti: “Nze nnina emmere gye ndya, mmwe gye mutamanyi.”
[33] Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti: “Waliwo omuntu amuleetedde emmere?”
[34] Yesu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola ebyo eyantuma by'ayagala, n'okutuukiriza omulimu gwe.
[35] Mmwe temulina njogera egamba nti: ‘Esigaddeyo emyezi ena, amakungula gatuuke?’ Nze mbagamba nti muyimuse amaaso, mulabe ennimiro. Ebibala byengedde, bituuse okukungula.
[36] “Omuntu akungula aweebwa empeera, obulamu obutaggwaawo n'abukuŋŋaanyiza ebibala. Oyo asiga, n'oyo akungula, ne balyoka basanyukira wamu,
[37] kubanga enjogera eno ya mazima egamba nti: ‘Asiga mulala, n'akungula mulala.’
[38] Nze mbatumye okukungula kye mutaateganira. Abalala be baategana, mmwe ne musanga ebibala by'entuuyo zaabwe.”
[39] Bangi ku Basamariya ab'omu kibuga ekyo, ne bakkiriza Yesu, olw'ekigambo ky'omukazi kye yabagamba nti: “Antegeezezza byonna bye nakolanga.”
[40] Awo Abasamariya bwe baatuuka Yesu w'ali ne bamwegayirira abeereko ewaabwe. N'amalayo ennaku bbiri.
[41] Bwe yayogera nabo, n'abalala bangi ne bamukkiriza.
[42] Ne bagamba omukazi nti: “Kaakano tukkiriza, si lwa bigambo byo, wabula kubanga tumwewuliridde ffe ffennyini, ne tumanya ng'ono, ddala ye Mulokozi w'ensi.”
[43] Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, Yesu n'avaayo, n'agenda e Galilaaya.
[44] Yesu yennyini yakakasa nti: “Omulanzi tassibwamu kitiibwa mu nsi y'ewaabwe.”
[45] Awo bwe yatuuka e Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga nabo baali bagenze e Yerusaalemu, ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne balaba byonna bye yakola ku Mbaga eyo.
[46] Awo Yesu n'addayo e Kaana eky'e Galilaaya, gye yafuulira amazzi omwenge ogw'emizabbibu. Waaliyo omukungu wa kabaka, eyalina mutabani we, ng'alwalidde e Kafarunawumu.
[47] Bwe yawulira nti Yesu avudde mu Buyudaaya atuuse mu Galilaaya, n'agenda gy'ali, n'amwegayirira aserengete e Kafarunawumu, awonye mutabani we, eyali ng'ali kumpi okufa.
[48] Awo Yesu n'amugamba nti: “Bwe mutalaba byewuunyo na bya magero, temukkiriza.”
[49] Omukungu n'amuddamu nti: “Ssebo, serengetayo ng'omwana wange tannafa.”
[50] Yesu n'amugamba nti: “Genda, omwana wo mulamu.” Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda.
[51] Bwe yali ng'akyali mu kkubo, abaddu be ne bamusisinkana, ne bamutegeeza nti omwana we mulamu.
[52] N'ababuuza essaawa mwe yatandikidde okuba obulungi. Ne bamugamba nti: “Omusujja gwamuwonako jjo, ku ssaawa musanvu.”
[53] Awo kitaawe w'omwana n'ajjukira nti eyo ye ssaawa yennyini, Yesu mwe yamugambira nti: “Omwana wo mulamu.” Awo ye, awamu n'ab'omu maka ge bonna, ne bakkiriza.
[54] Kino kye kyewuunyo ekyokubiri Yesu kye yakola, ng'akomyewo e Galilaaya okuva e Buyudaaya.