Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:33

[1] Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo embaga y'Abayudaaya. Yesu n'ayambuka e Yerusaalemu.

[2] Mu Yerusaalemu, okumpi n'Omulyango gw'Endiga, waaliwo ekidiba, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Betizata, ekyazimbibwako ebigango bitaano.

[3] Mu bigango ebyo, mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo, abazibe b'amaaso, abalema, n'abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okutabuka.

[4] Malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu, n'atabula amazzi. Oyo eyasookanga okukka mu kidiba amazzi nga gamaze okutabulwa, yawonyezebwanga buli bulwadde bwonna bwe yabanga nabwo.]

[5] Waaliwo omuntu, ng'amaze emyaka amakumi asatu mu munaana nga mulwadde.

[6] Yesu bwe yalaba omuntu oyo ng'agalamidde awo, era n'amanya ng'abadde awo okumala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwonyezebwa?”

[7] Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu anteeka mu kidiba, amazzi nga gatabuse. Nze wentuukirayo, ng'omulala yansoose dda.”

[8] Yesu n'amugamba nti: “Golokoka, weetikke akatanda ko, otambule.”

[9] Amangwago omuntu oyo n'awonyezebwa, ne yeetikka akatanda ke, n'atambula. Olunaku olwo lwali lwa Sabbaato.

[10] Abayudaaya ne bagamba oyo awonyezeddwa nti: “Olwaleero lwa Sabbaato, tokkirizibwa kwetikka katanda ko.”

[11] Ye n'abaddamu nti: “Oli amponyezza, ye yaŋŋambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule.’ ”

[12] Ne bamubuuza nti: “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti: ‘Weetikke akatanda ko, otambule?’ ”

[13] Kyokka eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.

[14] Oluvannyuma, Yesu n'asanga omuntu oyo mu Ssinzizo, n'amugamba nti: “Laba, kati owonyezeddwa, toddangayo okwonoona, akabi akasinga kaleme kukubaako.”

[15] Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.

[16] Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu, kubanga yakola ebintu ebiri ng'ekyo ku Sabbaato.

[17] Yesu n'abaddamu nti: “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.”

[18] Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya Sabbaato kyokka, naye yeeyita n'Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanankana ne Katonda.

[19] Awo Yesu n'abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti Omwana talina ky'ayinza kukola ku bubwe, wabula ekyo ky'alaba nga Kitaawe akikola, kubanga ye by'akola, n'Omwana by'akola.

[20] Kitaawe w'Omwana oyo, amwagala, amulaga byonna ye yennyini by'akola. Era alimulaga n'ebisinga ku ebyo, mulyoke mwewuunye.

[21] “Nga Kitaawe bw'azuukiza abafu n'abazzaamu obulamu, bw'atyo n'Omwana awa obulamu abo b'ayagala okubuwa.

[22] Era Kitaawe talina n'omu gw'asalira musango, wabula Omwana gwe yawa okusala emisango gyonna,

[23] bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bakissa mu Kitaawe. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga ne Kitaawe eyamutuma, tamutaddeemu kitiibwa.

[24] “Mazima ddala mbagamba nti awulira ebigambo byange, n'akkiriza oyo eyantuma, aba n'obulamu obutaggwaawo, era tasalirwa musango. Aba avudde mu kufa, ng'atuuse mu bulamu.

[25] Mazima ddala mbagamba nti ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda. Era abo abaliwulira, baliba balamu.

[26] “Nga Katonda bw'ali ensibuko y'obulamu, bw'atyo bwe yawa Omwana we okuba ensibuko y'obulamu.

[27] Era yamuwa obuyinza okusala emisango, kubanga ye Mwana w'Omuntu.

[28] Ekyo temukyewuunya, kubanga ekiseera kijja, bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,

[29] ne bazivaamu. Abo abaakolanga ebirungi, barizuukira ne baba balamu. Abo abaakolanga ebibi, balizuukira ne basingibwa omusango.

[30] “Nze siyinza kubaako kye nkola ku bwange. Nsala omusango, nga Katonda bw'andagira okugusala. N'olwekyo ensala yange eba ntuufu, kubanga sikolera ku kye njagala, wabula ku ekyo eyantuma ky'ayagala.

[31] “Singa nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange tebuba bwa mazima.

[32] Waliwo omulala ampaako obujulirwa, era mmanyi nti obujulirwa bw'ampaako bwa mazima.

[33] Mmwe mwatuma ababaka eri Yowanne, n'ayogera eky'amazima.

[34] Si lwa kuba nti njagala okujulirwa omuntu obuntu, naye njogera ebyo mulyoke mulokolebwe.

[35] Yowanne yali ttaala eyaka era emulisa. Naye mmwe mwayagala kumala kaseera buseera, nga musanyukira mu kitangaala kye.

[36] “Naye nnina obujulirwa obusinga n'obwa Yowanne bwe yawa. Ebyo byennyini bye nkola, Kitange bye yandagira okutuukiriza, bye biraga nti Kitange ye yantuma.

[37] Ne Kitange eyantuma, naye yennyini anjulira. Mmwe temuwuliranga ku ddoboozi lye n'akatono, wadde okulaba bw'afaanana.

[38] Era ekigambo kye temukikuuma mu mitima gyammwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.

[39] “Mwekenneenya ebyawandiikibwa, kubanga mulowooza nti mu byo, mwe muli obulamu obutaggwaawo. Sso nabyo byennyini binjogerako,

[40] era mmwe ne musigala nga temwagala kujja gye ndi, okufuna obulamu.

[41] “Sinoonya kusiimibwa bantu.

[42] Naye mmwe mbamanyi nga temuliimu kwagala Katonda.

[43] Nze najja mu linnya lya Kitange, naye mmwe temunnyaniriza. Omulala bw'ajja ku bubwe, oyo mujja kumwaniriza.

[44] Kale muyinza mutya okukkiriza, nga munoonya kutendebwa bantu bannammwe, sso nga temufa ku kutendebwa Katonda Omu yekka?

[45] “Temulowooza nti nze ndibawawaabira eri Kitange. Alibawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi.

[46] Singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza, kubanga yawandiika ebinjogerako.

[47] Kale oba nga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Yowanne — Chapters