Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:15

[1] Yesu bwe yali ng'ayitawo, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe.

[2] Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, ono okuzaalibwa nga muzibe, ani yayonoona, ono yennyini, oba bazadde be?”

[3] Yesu n'addamu nti: “Ono teyayonoona, wadde abazadde be, wabula yazaalibwa nga muzibe, eby'amaanyi Katonda by'akola biryoke biragibwe ku ye.

[4] Ffe tuteekwa okukola emirimu gy'oyo eyantuma, ng'obudde bukyali misana. Ekiro kijja, omuntu ky'atayinza kukoleramu.

[5] Nga nkyali ku nsi, ndi kitangaala ekigyakira.”

[6] Bwe yamala okwogera ebyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'asiiga muzibe ettaka eryo ku maaso,

[7] n'amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky'e Silowaamu” (ekitegeeza “Eyatumibwa”). Awo omuntu oyo n'agenda, n'anaaba, n'adda ng'alaba.

[8] Ab'omuliraano n'abalala abaamulabanga ng'asabiriza, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyatuulanga n'asabiriza?”

[9] Abamu ne bagamba nti: “Ye wuuyo.” Abalala ne bagamba nti: “Nedda, amufaanana bufaananyi.” Ye n'agamba nti: “Ye nze.”

[10] Ne bamubuuza nti: “Kale amaaso go gaazibuka gatya?”

[11] Ye n'addamu nti: “Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'alinsiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowaamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”

[12] Ne bamubuuza nti: “Ali ludda wa oyo?” N'addamu nti: “Simanyi.”

[13] Awo eyali muzibe ne bamutwala eri Abafarisaayo.

[14] Olunaku olwo, Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'azibula omuntu oyo amaaso, lwali lwa Sabbaato.

[15] Awo Abafarisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo nga bwe yazibuka amaaso. N'abagamba nti: “Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nsobola okulaba.”

[16] Abafarisaayo abamu ne bagamba nti: “Omuntu oyo eyakola ekyo tayinza kuba nga yava wa Katonda, kubanga takwata tteeka lya Sabbaato.” Naye abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyewuunyo ebyenkanidde awo?” Ne wabaawo obutakkiriziganya mu bo.

[17] Awo eyali muzibe ne baddamu okumubuuza nti: “Oyo nga bwe yakuzibula amaaso, ggwe omuyita otya?” Ye n'addamu nti: “Mulanzi.”

[18] Naye Abayudaaya ne batakkiriza ng'omuntu oyo yali muzibe, oluvannyuma n'asobola okulaba, okutuusa lwe baayita bazadde be,

[19] ne bababuuza nti: “Ono ye mwana wammwe, gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kale kaakano kiki ekimusobozesezza okulaba?”

[20] Abazadde be ne baddamu nti: “Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe.

[21] Naye tetumanyi kimusobozesezza kulaba kaakano, era eyamuzibula amaaso, ffe tetumumanyi. Mumubuuze, muntu mukulu, aneeyogerera.”

[22] Bazadde be baayogera bwe batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamaze okukkaanya nti buli muntu ayatula nti Yesu ye Kristo, wa kugobebwa mu kkuŋŋaaniro.

[23] Bazadde be kyebaava bagamba nti: “Muntu mukulu, mubuuze ye.”

[24] Omulundi ogwokubiri ne bayita oyo eyali muzibe, ne bamugamba nti: “Gulumiza Katonda, oyogere amazima. Ffe tumanyi ng'omuntu oyo mwonoonyi.”

[25] Ye n'addamu nti: “Oba mwonoonyi, simanyi. Kye mmanyi, nali muzibe, naye kaakano ndaba.”

[26] Ne bamubuuza nti: “Kiki kye yakukolako? Yakuzibula atya amaaso?”

[27] N'abaddamu nti: “Nababuulidde dda ne mutawuliriza. Kiki ate ekibaagaza okuwulira omulundi ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”

[28] Ne bamuvuma, era ne bagamba nti: “Ggwe muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.

[29] Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa. Naye oyo tetumanyi gy'ava.”

[30] Omuntu ono n'abaddamu nti: “Kino kitalo, mmwe obutamanya gy'ava, sso nga yanzibula amaaso!

[31] Tumanyi nga Katonda aboonoonyi tabawulira, wabula awulira abo abamussaamu ekitiibwa, era abakola by'ayagala.

[32] Okuva edda n'edda tewawulirwanga yali azibudde maaso ga muntu yazaalibwa nga muzibe.

[33] Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kintu na kimu.”

[34] Ne bamugamba nti: “Ggwe eyazaalibwa era eyakulira mu bibi, ggwe oyigiriza ffe?” Ne bamusindiikiriza ebweru.

[35] Yesu n'awulira nga bamusindiikirizza ebweru. Bwe yamusanga n'amugamba nti: “Ggwe okkiriza Omwana w'Omuntu?”

[36] Ye n'amuddamu nti: “Ssebo, ye ani mmukkirize?”

[37] Yesu n'amugamba nti: “Omulabye! Ye wuuyo ayogera naawe.”

[38] Ye n'agamba nti: “Mukama wange, nzikiriza.” N'asinza Yesu.

[39] Yesu n'agamba nti: “Najja ku nsi okusala omusango, ababadde batalaba balabe, ate ababadde balaba, babe bamuzibe.”

[40] Abafarisaayo abamu abaali awo ne Yesu, ne bawulira ng'ayogera bw'atyo, ne bamubuuza nti: “Kwe kugamba naffe tuli bamuzibe?”

[41] Yesu n'abagamba nti: “Singa mubadde bamuzibe, temwandibadde na kibi. Naye kaakano nga bwe mugamba nti: ‘Tulaba’, ekibi kyammwe kibasigalako.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Yowanne — Chapters