Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:08

[1] Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'agamba nti: “Kitange, ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, Omwana wo alyoke akugulumize,

[2] kubanga wamuwa obuyinza ku bantu bonna, alyoke abawe obulamu obutaggwaawo.

[3] Obulamu obutaggwaawo bwe buno, abantu bonna okukumanya ggwe Katonda omu wekka ow'amazima, n'okumanya Yesu Kristo, gwe watuma.

[4] Nze nkugulumizza ku nsi. Mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.

[5] Kitange, kaakano mpa ekitiibwa mu maaso go, kye nalina ng'ensi tennabaawo.

[6] “Nkumanyisizza mu bantu be wampa ng'obaggya mu nsi. Baali babo, n'obampa. Bakutte ekigambo kyo.

[7] Kaakano bamanyi nga byonna bye wampa byava gy'oli,

[8] kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde, ne babikkiriza, ne bamanyira ddala nga nava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.

[9] “Nze mbasabira abo. Sisabira nsi, wabula abo be wampa, kubanga babo.

[10] Byonna bye nnina bibyo, n'ebibyo byange, era ngulumizibwa mu bo.

[11] Kaakano nzija gy'oli. Sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi. Kitange omutuukirivu, bakuumenga mu buyinza bwo bwe wampa, babeerenga bumu nga ffe.

[12] “Bwe nali nabo, nabakuuma mu buyinza bwo bwe wampa, ne kutabula n'omu ku bo, wabula oyo eyali ateekwa okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.

[13] Naye kaakano nzija gy'oli, era ebyo mbyogerera mu nsi, essanyu lyange liryoke libajjule.

[14] “Nabawa ekigambo kyo, ensi n'ebakyawa, kubanga si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.

[15] Sikusaba kubaggya mu nsi, wabula bakuumenga, obawonye Omubi.

[16] Si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.

[17] Batukuze mu mazima. Ekigambo kyo ge mazima.

[18] Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe mbatuma mu nsi.

[19] Nze nneewaayo gy'oli ku lwabwe, nabo bennyini balyoke beeweereyo ddala gy'oli.

[20] “Sisabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'obubaka bwa bano.

[21] Bonna babeerenga bumu. Kitange, nga ggwe bw'oli mu nze, nange bwe ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma.

[22] Era ekitiibwa kye wampa nkibawadde, balyoke babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu,

[23] nze mu bo, naawe mu nze, balyoke babeerere ddala bumu, ensi etegeere nga ggwe wantuma, era ng'obaagala nga bw'onjagala.

[24] “Kitange, be wampa, njagala we ndi, nabo we baba babeeranga, balabe ekitiibwa kyange kye wampa. Wanjagala ng'ensi tennatondebwa.

[25] Kitange omutuukirivu, ensi teyakumanya, naye nze nkumanyi, na bano bamanyi nga ggwe wantuma.

[26] Era nabamanyisa erinnya lyo, era nja kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagala, kubeere mu bo, nange mbeere mu bo.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Yowanne — Chapters