Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:46

[1] Mu makya g'olunaku olusooka mu wiiki, Mariya Magudaleena n'alaga ku ntaana, ng'obudde tebunnalaba bulungi, n'alaba ejjinja nga liggyiddwa ku mulyango, gw'entaana.

[2] N'olwekyo n'adduka, n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala, Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti: “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era tetumanyi gye bamutadde!”

[3] Awo Peetero n'omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana.

[4] Bombi baagenda badduka nga bali wamu, wabula omuyigirizwa oli omulala n'asinga Peetero okudduka, n'amusooka ku ntaana.

[5] N'akutama, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo, kyokka n'atayingira.

[6] Olwo ne Simooni Peetero n'atuuka ng'amugoberera. N'ayingira mu ntaana, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo.

[7] N'alaba n'ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa, era nga kiteekeddwa waakyo.

[8] Olwo omuyigirizwa oli eyasooka okutuuka ku ntaana, naye n'ayingira. N'alaba, era n'akkiriza.

[9] Ddala baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Yesu ateekwa okuzuukira.

[10] Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe.

[11] Mariya Magudaleena yali ayimiridde wabweru w'entaana, ng'akaaba. Yali akyakaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana,

[12] n'alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye njeru, nga batudde, omu emitwetwe, n'omulala emirannamiro w'ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.

[13] Ne bamubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki?” Ye n'abaddamu nti: “Mukama wange bamuggyeemu, era simanyi gye bamutadde!”

[14] Bwe yamala okwogera ebyo, n'akyuka n'atunula emabega, n'alaba Yesu ng'ayimiridde awo, kyokka n'atamanya nti ye Yesu.

[15] Yesu n'amubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Mariya n'alowooza nti omuntu oyo, ye mukuumi w'ennimiro, era n'amugamba nti: “Ssebo, oba nga ggwe wamuggyeemu, mbuulira gye wamutadde, ŋŋende mmuggyeyo.”

[16] Yesu n'amugamba nti: “Mariya!” Mariya n'akyukira Yesu, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbooni!” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”).

[17] Yesu n'amugamba nti: “Tonneekwatako, kubanga sinnalinnya mu ggulu eri Kitange. Naye genda eri baganda bange, obategeeze nti: ‘Nninnya mu ggulu eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.’ ”

[18] Mariya Magudaleena n'agenda, n'abuulira abayigirizwa nti alabye Mukama, era n'abategeeza Mukama by'amugambye.

[19] Ku lunaku olwo olusooka mu wiiki, obudde bwe bwali buwungedde, abayigirizwa we baali, enzigi zaali nsibe, olw'okutya Abayudaaya. Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.”

[20] Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka okulaba Mukama waabwe.

[21] N'abagamba nate nti: “Emirembe gibe na mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.”

[22] Bwe yamala okwogera ebyo, n'abafuuwako omukka, n'abagamba nti: “Mufune Mwoyo Mutuukirivu,

[23] ebibi by'abantu bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa. Eby'abo bye munaagaananga okusonyiwa, abo nga tebibasonyiyiddwa.”

[24] Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Didimo (Omulongo), teyali na banne, Yesu bwe yajja.

[25] Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe.” Kyokka ye n'abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu ez'emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo, era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”

[26] Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu ng'era bali mu nnyumba, Tomasi naye ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga nsibe, n'ayimirira wakati mu bo, n'agamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.”

[27] Awo n'agamba Tomasi nti: “Leeta wano olunwe lwo, era laba ebibatu byange. Era leeta ekibatu kyo, okiteeke mu mbiriizi zange. Leka kuba atakkiriza, naye akkiriza.”

[28] Tomasi n'amuddamu nti: “Mukama wange, era Katonda wange!”

[29] Yesu n'amugamba nti: “Olw'okuba ng'ondabye, kyovudde okkiriza? Ba mukisa abakkiriza nga tebalabye.”

[30] Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng'abayigirizwa be balaba, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino.

[31] Naye bino biwandiikiddwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda, era olw'okukkiriza okwo, mulyoke mufune obulamu mu ye.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Yowanne — Chapters