[1] Awo omuntu ayitibwa Laazaro, eyali e Betaniya, n'alwala. Betaniya kye kibuga Mariya ne muganda we Marita mwe baali.
[2] Mariya oyo, ye yasiiga Mukama waffe omuzigo ogw'akawoowo ku bigere, n'abisiimuuza enviiri ze, era ye yali mwannyina wa Laazaro omulwadde.
[3] Bannyina ba Laazaro abo, ne batumira Yesu nga bagamba nti: “Ssebo, mukwano gwo alwadde.”
[4] Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Ekigendereddwa mu bulwadde buno, si kufa, wabula kitiibwa kya Katonda, era Omwana wa Katonda bujja kumuweesa ekitiibwa.”
[5] Yesu yali mukwano gwa Laazaro ne Marita era ne Mariya.
[6] Bwe yawulira nga Laazaro alwadde, gye yali n'asigalayo ate ennaku endala ssatu.
[7] Oluvannyuma n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.”
[8] Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Muyigiriza, Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja, ate eyo gy'oyagala okudda?”
[9] Yesu n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziba kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno.
[10] Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga taba na kitangaala.”
[11] Bwe yamala okwogera ebyo, n'abagamba nti: “Mukwano gwaffe Laazaro yeebase, wabula ŋŋenda okumuzuukusa.”
[12] Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.”
[13] Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaro, naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
[14] Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti:
[15] “Laazaro afudde. Ku lw'obulungi bwammwe nsanyuse kubanga saaliyo, n'olwekyo mujja kukkiriza. Kale tugende gy'ali.”
[16] Awo Tomasi ayitibwa Omulongo, n'agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tufiire wamu naye.”
[17] Yesu bwe yatuukayo, n'asanga nga Laazaro amaze ennaku nnya mu ntaana.
[18] Betaniya kyali kumpi ne Yerusaalemu, kilomita nga ssatu.
[19] Abayudaaya bangi, baali bazze ewa Marita ne Mariya okubakubagiza olw'okufiirwa mwannyinaabwe.
[20] Marita bwe yawulira nti Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana, Mariya ye ng'ali mu nnyumba.
[21] Marita n'agamba Yesu nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!
[22] Naye mmanyi nti ne kaakano, byonna Katonda by'onoomusaba, anaabikuwa.”
[23] Yesu n'amugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.”
[24] Marita n'amugamba nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira okw'olunaku olw'enkomerero.”
[25] Yesu n'amugamba nti: “Nze kuzuukira, era nze bulamu. Anzikiriza, ne bw'afa, aliba mulamu.
[26] Era buli mulamu anzikiriza, talifa emirembe n'emirembe. Ekyo okikkiriza?”
[27] Ye n'amuddamu nti: “Weewaawo Ssebo, nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ow'okujja mu nsi.”
[28] Marita bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'ayita muganda we Mariya, n'amugamba mu kyama nti: “Omuyigiriza azze, akuyita.”
[29] Mariya bwe yawulira, n'asituka mangu, n'agenda okusisinkana Yesu.
[30] Yesu yali tannatuuka mu kibuga, ng'akyali mu kifo Marita kye yamusangamu.
[31] Awo Abayudaaya abaali ne Mariya mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti alaga ku ntaana, akaabire eyo.
[32] Awo Mariya bwe yatuuka awali Yesu, n'amulaba, n'agwa kumpi n'ebigere bye, n'amugamba nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!”
[33] Yesu bwe yalaba Mariya ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nabo nga bakaaba, n'anyolwa mu mutima, n'ajjula obuyinike,
[34] n'ababuuza nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti: “Ssebo, jjangu olabeyo.”
[35] Yesu n'akaaba amaziga.
[36] Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Mulabe nga bw'abadde amwagala!”
[37] Naye abamu ku bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, teyandiyinzizza kubaako ky'akola, Laazaro n'atafa?”
[38] Awo Yesu n'addamu okujjula obuyinike, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eggaliddwawo n'ejjinja.
[39] Yesu n'agamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Marita mwannyina w'omufu, n'agamba Yesu nti: “Ssebo, kaakano awunya, kubanga amaze ennaku nnya!”
[40] Yesu n'amugamba nti: “Sikugambye nti bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”
[41] Ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde.
[42] Nze mmanyi ng'ompulira bulijjo, naye njogedde olw'abantu abali wano, balyoke bakkirize nga ggwe wantuma.”
[43] Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Laazaro, fuluma ojje!”
[44] Eyali afudde n'avaayo ng'amagulu ge n'emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n'ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n'abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”
[45] Awo bangi mu Bayudaaya abaali bazze ewa Mariya, bwe baalaba Yesu ky'akoze, ne bamukkiriza.
[46] Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafarisaayo, ne bababuulira Yesu ky'akoze.
[47] Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti: “Tukole ki? Omuntu ono akola ebyamagero bingi.
[48] Bwe tumuleka bwe tutyo, bonna bajja kumukkiriza, n'Abarooma balijja ne bazikiriza ekibuga kyaffe n'eggwanga lyaffe!”
[49] Awo omu ku bo, Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo, n'abagamba nti: “Mmwe temuliiko kye mumanyi.
[50] Temulaba nti kibagasa omuntu omu okufiirira abantu, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
[51] Ekyo teyakyogera ku bubwe, wabula nga bwe yali Ssaabakabona omwaka ogwo, yalanga nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo,
[52] sso si ggwanga eryo lyokka, naye n'okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana.
[53] Okuva ku lunaku olwo, ne bakola olukwe okutta Yesu.
[54] N'olwekyo Yesu n'atatambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n'avaayo, n'alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efurayimu, n'abeera eyo n'abayigirizwa.
[55] Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, bangi ne bava mu byalo, ne bambuka e Yerusaalemu, okukola omukolo ogw'okwetukuza, ng'Embaga tennatuuka.
[56] Ne banoonya Yesu. Era nga bakuŋŋaanidde mu Ssinzizo, ne beebuuzaganya nti: “Mulowooza mutya? Tajje ku Mbaga?”
[57] Bakabona abakulu n'Abafarisaayo baali balagidde nti bwe wabaawo amanyi Yesu w'ali, ababuulire, balyoke bamukwate.