[1] “Temusalanga musango, nammwe guleme kubasalirwa.
[2] Kubanga, nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa. Era ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe.
[3] Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo?
[4] Oba ogamba otya muganda wo nti: ‘Leka nkuggye akasubi ku liiso,’ sso nga ku liiso eriryo kuliko ekisiki?
[5] Mukuusa ggwe, sooka oggye ekisiki ku liiso eriryo, olwo olyoke osobole okulaba obulungi, n'okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
[6] “Ekitukuvu temukiwanga mbwa, sikulwa nga zibakyukira ne zibaluma. Era amayinja gammwe ag'omuwendo temugasuulanga mu maaso ga mbizzi, sikulwa nga zigalinnyirira.
[7] “Musabe, muliweebwa. Munoonye, mulizuula. Mukonkone ku luggi, muliggulirwawo,
[8] kubanga buli asaba afuna, oyo anoonya azuula, n'oyo akonkona ku luggi aggulirwawo.
[9] Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng'amusabye omugaati,
[10] oba amuwa omusota ng'amusabye ekyennyanja?
[11] Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebirungi abo ababimusaba?
[12] “Kale nno byonna bye mwagala abalala babakolere mmwe, nammwe mubibakolerenga. Ekyo Amateeka n'enjigiriza y'abalanzi kye bitegeeza.
[13] “Muyingirire mu muzigo omufunda, kubanga omuzigo oguyingira mu kuzikirira gwo mugazi, n'ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu.
[14] Omuzigo oguyingira mu bulamu mufunda, n'ekkubo erituukayo lya kanyigo, n'abali zuula batono.
[15] “Mwekuume abalanzi ab'obulimba, abajja gye muli nga kungulu bafaanana ng'endiga, sso nga munda gye misege eminyazi.
[16] Mulibategeerera ku bikolwa byabwe. Abantu emizabbibu baginoga ku kawule, oba emitiini baginoga ku busaana?
[17] “Omuti omulungi gubala ebibala birungi, naye omuti omubi gubala ebibala bibi.
[18] Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi.
[19] Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gusuulibwa mu muliro.
[20] “Bwe kityo nno, ku bikolwa byabwe kwe mulibategeerera.
[21] “Omuntu addiŋŋana okumpita obuyisi nti: ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira Obwakabaka obw'omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.
[22] Ku lunaku luli, bangi baliŋŋamba nti: ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwayigirizanga mu linnya lyo? Tetwagobanga emyoyo emibi ku bantu nga tukozesa erinnya lyo? Era tetwakolanga ebyamagero bingi mu linnya lyo?’
[23] Nze ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe. Muve we ndi mmwe abajeemu.’
[24] “Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'abikolerako, aliba ng'omusajja ow'amagezi, eyazimba ennyumba ye ku lwazi,
[25] Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, sso n'etegwa, kubanga yazimbibwa ku lwazi.
[26] “Ate buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'atabikolerako, aliba ng'omusajja omusirusiru, eyazimba ennyumba ye ku musenyu.
[27] Enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba ennyumba eyo, n'egwa, n'emenyekerawo ddala.”
[28] Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo, ekibiina ky'abantu ne kyewuunya engeri gye yayigirizaamu,
[29] kubanga yayigiriza nga nnannyini buyinza, sso si ng'abannyonnyozi b'amateeka.