[1] Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti:
[2] “Mumanyi nti wabulayo ennaku bbiri, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke. Era Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo, akomererwe ku musaalaba.”
[3] Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bakuŋŋaanira mu luggya lwa Ssaabakabona, ayitibwa Kayaafa.
[4] Ne bakola olukwe okukwata Yesu, bamutte.
[5] Naye ne bagamba nti: “Tuleme kumukwata mu biseera bya nnaku nkulu, sikulwa ng'abantu beegugunga.”
[6] Awo Yesu bwe yali e Betaniya, mu nnyumba ya Simooni omugenge,
[7] omukazi n'ajja, ng'alina eccupa erimu omuzigo omulungi, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agufuka ku mutwe gwa Yesu, ng'atudde alya.
[8] Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne basunguwala, ne bagamba nti: “Lwaki omuzigo ogwo gwonooneddwa?
[9] Gubadde guyinza okutundibwa ensimbi nnyingi, ne zigabirwa abaavu.”
[10] Yesu bwe yategeera kye bagamba, n'abaddamu nti: “Lwaki omukazi mumutawaanya? Ekikolwa ky'ankoledde kirungi.
[11] Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.
[12] Bw'afuse omuzigo guno ogw'akawoowo ku mubiri gwange, anteekeddeteekedde okuziikibwa.
[13] Mazima mbagamba nti: wonna mu nsi Amawulire Amalungi gye galitegeezebwa abantu, na kino omukazi ono ky'akoze, kiryogerwako okumujjukira.”
[14] Awo omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Yuda Yisikaryoti, n'agenda eri bakabona abakulu,
[15] n'agamba nti: “Munampa ki, nze mmubawe?” Bo ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
[16] Okuva olwo Yuda n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu.
[17] Ku lunaku olusooka, olw'Embaga eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti: “Oyagala tukutegekere wa gy'onooliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?”
[18] Yesu n'abagamba nti: “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti: ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kinaatera okutuuka. Ewuwo gye nnaaliira awamu n'abayigirizwa bange, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.’ ”
[19] Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
[20] Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne batuula okulya.
[21] Bwe baali balya, Yesu n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti: omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”
[22] Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, era kinnoomu, ne babuuza Yesu nti: “Mukama wange, omuntu oyo ye nze?”
[23] Yesu n'addamu nti: “Oyo akoza nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.
[24] Ddala Omwana w'Omuntu agenda kuttibwa, ng'ebyawandiikibwa bwe bimwogerako. Naye omuntu oyo anaalyamu Omwana w'Omuntu olukwe, nga zimusanze! Omuntu oyo kyandimubeeredde kirungi obutazaalibwa!”
[25] Yuda, eyalyamu Yesu olukwe, n'agamba nti: “Muyigiriza, omuntu oyo ye nze?” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
[26] Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'aguwa abayigirizwa be, n'agamba nti: “Mutoole mulye, kino mubiri gwange.”
[27] Ate n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, n'agamba nti: “Munywe kuno mwenna,
[28] kubanga kino musaayi gwange, ogukakasa endagaano empya ekoleddwa Katonda, era oguyiibwa ku lw'abangi okusonyiyisa ebibi.
[29] Naye mbagamba nti okuva kati sirinywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa lwe ndigunywa wamu nammwe nga muggya, mu Bwakabaka bwa Kitange.”
[30] Awo bwe baamala okuyimba oluyimba olw'okutendereza Katonda, ne bafuluma, ne balaga ku Lusozi olw'emiti Emizayiti.
[31] Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mwenna munadduka ne munjabulira ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Nditta omusumba, endiga ez'omu kisibo ne zisaasaana.’
[32] Naye bwe ndimala okuzuukira, ndibakulemberamu okugenda e Galilaaya.”
[33] Awo Peetero n'amuddamu nti: “Abalala bonna ne bwe banadduka ne bakwabulira, nze siikwabulire n'akatono.”
[34] Yesu n'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti: mu kiro kino kyennyini, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
[35] Peetero n'amuddamu nti: “Ne bwe mba nga nteekwa okuttibwa naawe, siikwegaane.” N'abalala ne boogera bwe batyo.
[36] Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Getesemaane. Yesu n'abagamba nti: “Mutuule wano, nze ŋŋende eri neegayirire Katonda.”
[37] Awo n'atwalako Peetero ne batabani ba Zebedaayo bombi. N'atandika okutya n'okweraliikirira ennyo.
[38] N'agamba nti: “Omwoyo gwange gujjudde obuyinike obuyinza n'okunzita! Mubeere wano, mutunule wamu nange.”
[39] Bwe yeeyongerayo katono mu maaso, n'afukamira, ne yeegayirira Katonda nti: “Kitange, singa kiyinzika, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona! Naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”
[40] Awo n'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti: “Temusobodde kutunula nange wadde essaawa emu bw'eti?
[41] Mutunule era mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa. Kubanga omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu.”
[42] Era n'agenda omulundi ogwokubiri, ne yeegayirira Katonda ng'agamba nti: “Kitange, oba nga ekikopo kino eky'okubonaabona tekiyinza kunzigyibwako, wabula nga nkinywedde, kale ky'oyagala kikolebwe.”
[43] Awo n'ajja nate, n'asanga abayigirizwa nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gajjudde otulo.
[44] Yesu n'abaleka nate, n'agenda, ne yeegayirira Katonda omulundi ogwokusatu, mu ngeri y'emu nga bwe yeegayirira mu kusooka.
[45] Awo n'addayo eri abayigirizwa, n'abagamba nti: “Mukyebase, mukyawummudde? Essaawa etuuse Omwana w'Omuntu okuweebwayo mu buyinza bw'aboonoonyi.
[46] Musituke tugende. Omuntu andiddemu olukwe ali kumpi okutuuka.”
[47] Awo Yesu yali akyayogera, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina ky'abantu abaalina ebitala n'emiggo, nga batumiddwa bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga.
[48] Oyo eyalyamu Yesu olukwe yali amaze okuwa ekibiina ky'abantu akabonero ng'agamba nti: “Omuntu gwe nnaalamusa nga mmunywegera, ye wuuyo, mumukwate.”
[49] Awo Yuda bwe yajja, amangwago n'agenda awali Yesu, n'agamba nti: “Mirembe, Muyigiriza!” Era n'amunywegera.
[50] Yesu n'amugamba nti: “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu, ne bamukwata, ne bamunyweza.
[51] Omu ku abo abaali ne Yesu n'aggyayo ekitala, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu.
[52] Yesu n'amugamba nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga abo bonna abakwata ekitala, balifa kitala.
[53] Olowooza nti siyinza kusaba Kitange n'ampeereza ebibinja by'eggye lya bamalayika ebisoba mu kkumi n'ebibiri?
[54] Kale olwo ebyawandiikibwa ebigamba nti kiteekwa okuba bwe kiti, binaatuukirira bitya?”
[55] Mu kaseera ako Yesu n'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Buli lunaku natuulanga mu Ssinzizo ne njigiriza, ne mutankwata.
[56] Naye bino byonna bikoleddwa, ebyo ebyawandiikibwa abalanzi biryoke bituukirire.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.
[57] Awo abo abaakwata Yesu ne bamutwala ewa Kayaafa, Ssaabakabona, abannyonnyozi b'amateeka n'abantu abalala abakulu mu ggwanga, gye baali bakuŋŋaanidde.
[58] Peetero yagoberera Yesu okutuukira ddala mu luggya lwa Ssaabakabona, kyokka ng'amwesuddeko ebbanga. N'ayingira mu luggya, n'atuula n'abakuumi, alabe ebinaafaayo.
[59] Bakabona abakulu n'ab'olukiiko abalala bonna, ne banoonya obujulizi obw'obulimba bwe banaasinziirako okutta Yesu.
[60] Kyokka ne batabuzuula, newaakubadde abajulirwa ab'obulimba bangi bajja ne bamuwaayiriza. Oluvannyuma ne wajjawo babiri,
[61] ne bagamba nti: “Ono yagamba nti: ‘Nnyinza okumenyawo Essinzizo ate ne ndizimba mu nnaku ssatu.’ ”
[62] Awo Ssaabakabona n'ayimirira, n'abuuza Yesu nti: “Tolina ky'oddamu mu ebyo bye bakulumiriza?”
[63] Kyokka Yesu n'asirika. Ssaabakabona n'amugamba nti: “Nkulayiza Katonda Nnannyibulamu, tutegeeze oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
[64] Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Naye mbagamba nti okuva kati muli ba kulaba Omwana w'Omuntu ng'atudde ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”
[65] Awo Ssaabakabona n'ayuza ebyambalo bye, era n'agamba nti: “Avvodde Katonda! Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Kaakati muwulidde ebigambo ebibi by'ayogedde.
[66] Mmwe mulowooza mutya?” Ne baddamu nti: “Asaanidde okuttibwa.”
[67] Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso, era ne bamukuba empi,
[68] nga bwe bagamba nti: “Kristo, tubuulire, ani akukubye?”
[69] Awo Peetero bwe yali ng'atudde ebweru mu luggya, omuwala omu omuweereza n'ajja w'ali, n'agamba nti: “Naawe wali ne Yesu Omugalilaaya.”
[70] Kyokka Peetero ne yeegaana mu maaso ga bonna, ng'agamba nti: “Ky'ogamba sikimanyi.”
[71] Ate bwe yali ng'ayita mu lukuubo olufuluma ebweru, omuwala omulala omuweereza n'amulaba, n'agamba abantu abaali awo nti: “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaareeti.”
[72] Peetero n'addamu okwegaana ng'agamba nti: “Ndayira, omuntu oyo simumanyi.”
[73] Nga wayiseewo akaseera katono, abaali bayimiridde awo ne bajja, ne bagamba Peetero nti: “Ddala naawe oli omu ku bagoberezi ba Yesu, kubanga n'enjogera yo ekuloopa.”
[74] Awo Peetero n'agamba nti: “Oba bye njogera si bya mazima, kale nkolimirwe.” Era n'alayira nti: “Katonda alaba nti nze simanyi musajja oyo.” Amangwago enkoko n'ekookolima.
[75] Peetero n'ajjukira ebyo Yesu bye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo amaziga.