[1] “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu nnannyini nnimiro y'emizabbibu, eyakeera ku makya ennyo okunoonya abakozi ab'okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu.
[2] “Bwe yamala okukkiriziganya nabo okubasasula denaari emu olunaku, n'abasindika okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu.
[3] Era n'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde awo mu katale, nga tebalina kye bakola.
[4] N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu mukole, nnaabasasula ekibasaanira.’
[5] Ne bagenda. N'afuluma nate ku ssaawa nga mukaaga, ne ku ssaawa nga mwenda, n'akola ekintu kye kimu.
[6] Era ne ku ssaawa nga kkumi n'emu n'afuluma, n'asanga abalala nga bayimiridde, n'ababuuza nti: ‘Lwaki muyimiridde wano olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’
[7] “Ne bamuddamu nti: ‘Kubanga tewali yatututte kumukolera.’ N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey'emizabbibu.’
[8] “Obudde bwe bwawungeera, nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba musajja we alabirira abakozi, nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe, ng'otandikira ku baasembyeyo okujja okukola, osembyeyo abaasoose ku mulimu.’
[9] “Abo abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne basasulwa denaari emu buli omu.
[10] Ababereberye ku mulimu bwe bajja okusasulwa, ne balowooza nti banaafuna kinene okusinga ku kya bali kye bafunye. Naye nabo ne bafuna denaari emu buli omu.
[11] “Bwe baazifuna, ne beemulugunyiza nnannyini nnimiro,
[12] nga bagamba nti: ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obasasula kye kimu nga ffe abaakoze omulimu olunaku lwonna, nga n'essana litwokya?’
[13] Kyokka ye n'addamu omu ku bo nti: ‘Munnange, sikulyazaamaanyizza. Tewalagaanye nange denaari emu?
[14] Twala eyiyo, ogende. Njagadde okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe.
[15] Sikkirizibwa kukozesa byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya kubanga ndi mulungi?’
[16] “Bwe batyo ab'oluvannyuma, baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye, baliba ab'oluvannyuma.”
[17] Yesu bwe yali ng'ayambuka e Yerusaalemu, n'azza ku bbali abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti:
[18] “Laba twambuka e Yerusaalemu, era eyo Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa,
[19] era bamuweeyo mu b'amawanga amalala okumusekerera, n'okumukubisa embooko eriko amalobo agasuna, n'okumukomerera ku musaalaba. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
[20] Awo nnyina w'abatabani ba Zebedaayo n'ajja ne batabani be eri Yesu, n'amufukaamirira, n'abaako ky'amusaba.
[21] Yesu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” N'amuddamu nti: “Suubiza nti mu Bwakabaka bwo, batabani bange bano bombi, balituula nga bakuliraanye, omu ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.”
[22] Yesu n'addamu nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamuddamu nti: “Tusobola.”
[23] Yesu n'abagamba nti: “Ddala ekikopo kyange eky'okubonaabona mulikinywako. Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa Kitange.”
[24] Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira abooluganda bombi.
[25] Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali. N'abagamba nti “Mumanyi ng'abafuzi b'abantu ab'ensi baagala kuweerezebwa. Era ababa n'obuyinza, bafugisa bukambwe.
[26] Naye mu mmwe, si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne.
[27] Era buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe, ateekwa okuba omuddu wa bonna,
[28] okufaanana ng'Omwana w'Omuntu, atajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe, ng'omutango okununula abangi.”
[29] Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bava e Yeriko, ekibiina ky'abantu kinene ne kimugoberera.
[30] Bamuzibe babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, ne bawulira nti Yesu ayitawo, ne batandika okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!”
[31] Abantu ne bababoggolera basirike. Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!”
[32] Awo Yesu n'ayimirira n'abayita, n'ababuuza nti: “Mwagala mbakolere ki?”
[33] Ne baddamu nti: “Ssebo tuzibule amaaso.”
[34] Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe. Amangwago ne basobola okulaba, ne bagenda naye.