Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:56

[1] Mu nnaku ezo, Yowanne Omubatiza n'ajja mu ddungu ery'e Buyudaaya,

[2] n'ategeeza abantu nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”

[3] Yowanne ye wuuyo Yisaaya omulanzi gw'ayogerako nti: “Waliwo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge.’ ”

[4] Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale.

[5] Abantu baavanga e Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna, ne mu kitundu ekiriraanye Omugga Yorudaani, ne bajja gy'ali.

[6] Ne baatula ebibi byabwe, n'ababatiza mu mugga Yorudaani.

[7] Bwe yalaba ng'Abafarisaayo bangi n'Abasaddukaayo bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?

[8] Mukole bikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe.

[9] Era muleke kweyinula nga mugamba nti: ‘Tulina kitaffe Aburahamu.’ Kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abaana ng'abaggya mu mayinja gano.

[10] Mufaanaanyirizibwa n'emiti: kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.

[11] Nze mbabatiza na mazzi okulaga nti mwenenyezza, kyokka oyo anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, sisaanira na kukwata ngatto ze. Oyo alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro.

[12] Akutte mu ngalo olugali, ayawule empeke n'ebisusunku, empeke azikuŋŋaanyize mu tterekero, ate byo ebisusunku abyokye n'omuliro ogutazikira.”

[13] Awo Yesu n'ava e Galilaaya, n'atuuka ku Mugga Yorudaani eri Yowanne, abatizibwe Yowanne.

[14] Kyokka Yowanne n'agezaako okumuziyiza ng'agamba nti: “Nze nanditeekeddwa okubatizibwa ggwe, naye ate ggwe ojja gye ndi?”

[15] Yesu n'amuddamu nti: “Leka kibe bwe kityo kaakano, kubanga mu ngeri eno tujja kutuukiriza ekyo Katonda ky'ayagala.” Awo Yowanne n'akkiriza.

[16] Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangwago n'ava mu mazzi, awo eggulu ne libikkuka, n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye.

[17] Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa era gwe nsiimira ddala.” Luk 9:35

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters