[1] Awo Abafarisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumukema. Ne bamusaba abawe akabonero akabalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.
[2] Kyokka Yesu n'abaddamu nti: “Obudde bwe buba buwungeera, mugamba nti: ‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyuse.’
[3] Ku makya, mugamba nti: ‘Olwaleero wanaabaayo omuyaga, kubanga eggulu limyuse, era lizimbagadde.’ Mumanyi okuvvuunula amakulu g'endabika y'eggulu, naye temusobola kutegeera bye mulaba mu kiseera kino!
[4] Abantu ab'omulembe guno ababi, era abaava ku Katonda, basaba akabonero, naye tebaliweebwa kabonero kalala, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abavaako n'agenda.
[5] Abayigirizwa bwe baatuuka emitala w'ennyanja, ne bajjukira nti tebaaleese migaati.
[6] Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo.”
[7] Bo ne bagambagana nti: “Tetuleese migaati.”
[8] Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Mmwe abalina okukkiriza okutono, lwaki mugambagana nti temulina migaati?
[9] Temunnaba kutegeera, era temujjukira emigaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano, n'ebibbo bye mwakuŋŋaanya?
[10] Ate emigaati omusanvu egyakkusa abantu enkumi ennya?
[11] Kale lwaki temutegedde nti soogedde ku migaati, bwe mbagambye nti: Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo!”
[12] Olwo ne bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula kwekuuma Abafarisaayo n'Abasaddukaayo bye bayigiriza.
[13] Awo Yesu n'atuuka mu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba boogera ku Mwana w'Omuntu, bamuyita ani?”
[14] Ne baddamu nti: “Abamu bamuyita Yowanne Omubatiza, abalala bagamba nti: ye Eliya, ate abalala nti: Yeremiya, oba omu ku balanzi.”
[15] Awo ye n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?”
[16] Simooni Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda Nnannyinibulamu.”
[17] Yesu n'amugamba nti: “Simooni, omwana wa Yona, oli wa mukisa! Kubanga omuntu si ye yakumanyisa ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
[18] Nange nkugamba nti: ggwe oli Peetero (ekitegeeza nti Lwazi), era ku lwazi luno, kwe ndizimbira ekibiina kyange eky'abakkiriza; n'amaanyi ag'emagombe tegalikisobola.
[19] Ndikuwa ebisumuluzo by'Obwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu; kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu.”
[20] Awo n'akuutira abayigirizwa obutabuulirako muntu nti Ye, ye Kristo.
[21] Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abayigirizwa be nti ateekwa okugenda e Yerusaalemu, n'okubonyaabonyezebwa ennyo abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.
[22] Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya, n'agamba nti: “Nedda, Mukama wange, ekyo tekirikutuukako n'akatono!”
[23] Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'agamba Peetero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Oli nkonge mu kkubo lyange, kubanga ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
[24] Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe, n'angoberera.
[25] Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.
[26] Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe? Tewali kintu na kimu muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe.
[27] Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika be, awe buli muntu empeera ye, ng'asinziira ku ebyo buli muntu bye yakola.
[28] Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Omwana w'Omuntu ng'ajja mu Bwakabaka bwe.”