[1] Awo Yesu n'ava mu Ssinzizo. Bwe yali ng'agenda, abayigirizwa be ne bajja w'ali, okumulaga enzimba y'Essinzizo.
[2] Ye n'abaddamu nti: “Bino byonna mubiraba? Mazima mbagamba nti: mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.”
[3] Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'emiti Emizayiti, abayigirizwa ne bajja w'ali mu kyama, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga okujja kwo, n'enkomerero y'ensi?”
[4] Yesu n'abaddamu nti: “Mwerinde, waleme kubaawo ababuzaabuza.
[5] Kubanga bangi balijja nga beeyita nze, Kristo, era balibuzaabuza bangi.
[6] Muliwulira entalo wano ne wali. Mwerinde muleme kweraliikirira. Ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
[7] Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo enjala n'okukankana kw'ensi mu bitundu bingi.
[8] Naye olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.
[9] “Mmwe balibakwata, ne babawaayo mubonyaabonyezebwe, era mulittibwa. Abantu bonna balibakyawa mmwe olw'okuba muli bagoberezi bange.
[10] Olwo bangi baliterebuka, baliryaŋŋanamu olukwe, era balikyawagana.
[11] N'abalanzi ab'obulimba balirabika, ne babuzaabuza bangi.
[12] Olw'obujeemu okuyinga obungi, okwagala kw'abangi kuliwola.
[13] Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.
[14] Era Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka galitegeezebwa abantu mu nsi zonna, okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n'eryoka etuuka.
[15] “Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekyenyinyalwa, Daniyeli omulanzi kye yayogerako, nga kiri mu kifo ekitukuvu, (oyo asoma bino ategeere),
[16] olwo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi.
[17] Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala.
[18] Aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye.
[19] Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo!
[20] Mwegayirire Katonda, ekiseera kye muteekwa okuddukiramu kireme kubaawo mu biseera eby'obutiti oba ku Sabbaato.
[21] Kubanga mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ensi, okutuusa kati. Era tewagenda kuddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.
[22] Era singa ennaku ezo ez'okubonaabona tezaakendeezebwako, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu, ennaku ezo zirikendeezebwako.
[23] “Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano’, oba nti: ‘Ali wali’, temukkirizanga.
[24] Kubanga abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka.
[25] Mwerinde, mbabuulidde nga bukyali.
[26] “Kale bwe babagambanga nti: ‘Kristo ali mu ddungu’, temugendangayo; oba nti: ‘Ali mu nnyumba’, temukkirizanga.
[27] Kubanga ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ebuvanjuba ne kulabikira n'ebugwanjuba, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kutyo bwe kuliba.
[28] “Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.
[29] “Mu nnaku ezo, ekiseera eky'okubonaabona nga kyakaggwa, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.
[30] Olwo akabonero k'Omwana w'Omuntu kalirabika ku ggulu, ebika byonna eby'oku nsi ne bikuba ebiwoobe. Era ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire eby'oku ggulu, ng'alina obuyinza bungi, n'ekitiibwa kinene.
[31] Eŋŋombe ey'eddoboozi ery'omwanguka erivuga, Omwana w'Omuntu n'atuma bamalayika be mu njuyi zonna ennya ez'ensi. Era balikuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.
[32] “Mulabire ku muti omutiini muyige: amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
[33] Mu ngeri y'emu bwe mulabanga ebyo byonna, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo.
[34] Mazima mbagamba nti: ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo.
[35] Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
[36] “Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde nze Omwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.
[37] “Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu.
[38] Mu nnaku ezaakulembera omujjuzo, abantu baali balya era nga banywa. Baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato.
[39] Ne batamanya, okutuusa omujjuzo lwe gwajja, ne gubasaanyaawo bonna. Bwe kityo bwe kiriba, Omwana w'Omuntu lw'alijja.
[40] “Mu nnaku ezo, abantu abaliba ababiri mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.
[41] Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.
[42] “Kale mwerinde, kubanga temumanyi lunaku, Mukama wammwe lw'alijjirako.
[43] Mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya ekiseera omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.
[44] Kale nno nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.
[45] “Kale ani omuwanika omwesigwa era omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?
[46] Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja, gw'alisanga ng'akola bw'atyo.
[47] Mazima mbagamba nti: alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna.
[48] “Naye singa omuddu oyo aba omubi, n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okudda’,
[49] n'atandika okukuba baddu banne, era n'atandika okulya n'okunywa awamu n'abatamiivu,
[50] mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamusuubirirako, ne mu ssaawa gy'atamanyi.
[51] Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abakuusa, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.