Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:11

[1] Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abawa obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu, n'okuwonyanga abantu endwadde zonna n'obuyongobevu bwonna.

[2] Amannya g'abatume ekkumi n'ababiri ge gano: omubereberye, Simooni Peetero, ne Andereya muganda we; ne Yakobo, ne muganda we Yowanne, batabani ba Zebedaayo;

[3] ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Tomasi, ne Matayo omusolooza w'omusolo; ne Yakobo mutabani wa Alufaayo; ne Taddaayo,

[4] ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye, ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe.

[5] Abo ekkumi n'ababiri Yesu n'abatuma, n'abakuutira ng'abagamba nti: “Temugenda mu b'amawanga amalala, era temuyingira mu bibuga bya Basamariya.

[6] Naye mugende eri abantu ba Yisirayeli abaabula.

[7] Mugende mutegeeze abantu nti: ‘Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.’

[8] Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, muwonye abagenge balongooke, mugobe emyoyo emibi ku bantu. Mwaweebwa buweebwa, nammwe mugabe.

[9] Temutwala zaabu newaakubadde ffeeza, newaakubadde ssente ez'ekikomo mu nsawo zammwe,

[10] newaakubadde ensawo ey'olugendo, newaakubadde ekkanzu eyookubiri, newaakubadde engatto, wadde omuggo: kubanga omukozi asaanira okuweebwa bye yeetaaga.

[11] “Buli kibuga na buli kyalo kye muyingiramu, munoonye omuntu ayagala okubaaniriza, musule ewuwe okutuusa lwe muliva mu kifo ekyo.

[12] Bwe muyingira mu nnyumba, mugambe nti: ‘Emirembe gibe n'abantu b'omu nnyumba eno.’

[13] Singa abantu ab'omu nnyumba eyo babaaniriza, emirembe gye mubaagalizza girisigala nabo. Naye bwe batalibaaniriza, emirembe gye mubaagalizza giridda gye muli.

[14] Singa bagaana okubaaniriza mu nnyumba oba mu kibuga, bwe mubanga muvaayo, mwekunkumulangako n'enfuufu eba ebakutte ku bigere.

[15] Mazima mbagamba nti ku lunaku olw'okusalirwako emisango, ensi y'e Sodoma ne Gomora eriddirwamu okusinga ekibuga ekyo.

[16] “Mwekkaanye: nze mbatuma nga muli ng'endiga mu misege wakati. Kale nno mube beegendereza ng'emisota, era mube ng'amayiba obutaba na bukuusa.

[17] Mwerinde, kubanga walibaawo abantu abalibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Era balibakubira mu makuŋŋaaniro gaabwe.

[18] Mulitwalibwa mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, mutuuse ku bo ne ku b'amawanga amalala Amawulire Amalungi.

[19] Naye bwe babakwatanga ne babawaayo, temweraliikiriranga nti: Tunaayogera tutya, oba nti: Tunaayogera ki? Muliweebwa mu kaseera ako, kye mulyogera,

[20] kubanga si mmwe mulyogera, wabula Mwoyo wa Kitammwe ye alyogerera mu mmwe.

[21] “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera abazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa.

[22] Mmwe, abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Kyokka oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.

[23] Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Mazima mbagamba nti: temulimalayo bibuga bya Yisirayeli nga Omwana w'Omuntu tannajja.

[24] “Ayigirizibwa tasinga amuyigiriza, n'omuddu tasinga mukama we.

[25] Ayigirizibwa kimumala okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga nnannyinimu bamuyise Beeluzebuli, ab'omu maka ge kiki kye batalibayita!

[26] “Kale nno temubatyanga, kubanga buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.

[27] Kye mbabuulira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana. Kye muwulira mu kaama, mukirangiriranga ku ntikko z'ennyumba.

[28] “Era temutyanga abo abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo. Naye mutyenga Katonda ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu muliro ogutazikira.

[29] “Enkazaluggya bbiri tezigula ssente emu? Naye tewali n'emu ku zo egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde.

[30] N'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zonna mbale.

[31] Kale nno temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.

[32] “Buli anjatula mu maaso g'abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

[33] Kyokka oyo anneegaana mu maaso g'abantu, nange ndimwegaana mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

[34] “Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi. Sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.

[35] Najja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we.

[36] Era abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.

[37] “Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga bw'ayagala nze, tansaanira. Era oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga bw'ayagala nze, tansaanira.

[38] N'oyo ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tansaanira.

[39] Agezaako okutaasa obulamu bwe, alibufiirwa. Afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.

[40] “Ayaniriza mmwe ng'ayanirizza nze, ate ayaniriza nze, ng'ayanirizza oyo eyantuma.

[41] Ayaniriza omulanzi olw'okuba nga mulanzi, alifuna empeera ng'ey'omulanzi. Era ayaniriza omuntu akola Katonda by'ayagala, olw'okuba ng'akola Katonda by'ayagala, alifuna empeera ng'ey'omuntu akola Katonda by'ayagala.

[42] Mazima mbagamba nti: buli awa omu ku bano abato eggiraasi y'amazzi obuzzi amannyogovu okunywa, olw'okuba nga muyigirizwa wange, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters