Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:05

[1] Sabbaato bwe yali ng'eggwaako, olunaku olusooka mu wiiki nga lunaatera okukya, Mariya Magudaleena ne Mariya omulala ne bagenda okulaba entaana.

[2] Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu n'ajja, n'ayiringisa ejjinja, n'aliggyawo, era n'alituulako.

[3] Yali afaanana ng'okumyansa, n'ekyambalo kye nga kitukula ng'omuzira.

[4] Abakuumi, olw'okumutya ennyo, ne bakankana, era ne baba ng'abafudde.

[5] Awo malayika n'agamba abakazi nti: “Mmwe temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa ku musaalaba.

[6] Wano taliiwo. Azuukidde nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo w'abadde agalamidde.

[7] Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti: ‘Azuukidde, era abakulembeddemu okugenda e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira.’ Kaakano mbabuulidde.”

[8] Awo ne bafuluma, ne bava mangu ku ntaana nga batidde, naye nga bajjudde essanyu, ne badduka okubuulira abayigirizwa be.

[9] Awo Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti: “Mirembe!” Ne bamusemberera, ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza.

[10] Yesu n'abagamba nti: “Muleke kutya. Mugende mubuulire baganda bange bagende e Galilaaya. Eyo gye balindabira.”

[11] Abakazi bwe baali bagenda, abamu ku baserikale abaakuuma entaana, ne bajja mu kibuga, ne bategeeza bakabona abakulu byonna ebibaddewo.

[12] Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa. Ne bawa abaserikale ensimbi nnyingi,

[13] ne bagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro nga twebase, ne babba omulambo gwe.’

[14] Ekyo omufuzi bw'alikiwulira, ffe tulimuwooyawooya, ne tubawonya omusango.”

[15] Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba. Ekigambo ekyo ne kibuna mu Buyudaaya n'okutuusa kati.

[16] Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne balaga e Galilaaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira okugenda.

[17] Bwe baamulaba, ne bamusinza. Naye abamu ku bo ne babuusabuusa.

[18] Yesu n'abasemberera, n'ayogera nabo, n'agamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.

[19] Kale mugende, abantu b'amawanga gonna mubafuule abayigirizwa bange, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, ne lya Mwana, ne lya Mwoyo Mutuukirivu,

[20] nga mubayigiriza okukwata byonna bye nabalagira mmwe. Nange ndi wamu nammwe okutuusa ensi lw'eriggwaawo.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters