[1] Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne bava e Yerusaalemu, ne bajja awali Yesu, ne bagamba nti:
[2] “Lwaki abayigirizwa bo tebafa ku bulombolombo bwa bajjajjaffe? Bwe baba bagenda okulya emmere, tebanaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwe bulagira?”
[3] Yesu n'abaddamu nti: “Lwaki nammwe temufa ku kiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe?
[4] Kubanga Katonda yagamba nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’ era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’
[5] Naye mmwe mugamba nti: ‘Buli ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye nandikuwadde okukuyamba, kiweereddwayo eri Katonda,’
[6] aba takyawalirizibwa kuyamba kitaawe. Bwe mutyo mwadibya ekiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe.
[7] Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti:
[8] ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe, tegindiiko.
[9] N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo by'abantu obuntu bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’ ”
[10] Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Muwulirize era mwetegereze:
[11] ebyo omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo by'ayogera bye bizoonoona.”
[12] Awo abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Omanyi ng'Abafarisaayo banyiize bwe bawulidde ekigambo ekyo?”
[13] Yesu n'addamu nti: “Buli kimera ekitaasimbibwa Kitange ow'omu ggulu, kirisimbulwa.
[14] Mubaleke abo bakulembeze bamuzibe. Muzibe bw'akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu bunnya.”
[15] Awo Peetero n'amuddamu nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero olwo.”
[16] Yesu n'agamba nti: “Nammwe temutegedde?
[17] Temulaba nti buli kintu ekiriibwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kifuluma?
[18] Naye ebyogerwa biva mu mutima, era ebyo bye byonoona empisa z'omuntu.
[19] Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okwogera obubi ku balala.
[20] Bino bye byonoona empisa z'omuntu. Naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo ng'obulombolombo bwe bulagira, tekizoonoona.”
[21] Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaga mu kitundu ky'e Tiiro ne Sidoni.
[22] Omukazi Omukanaani, munnansi w'ekitundu ekyo, n'ajja gy'ali, n'aleekaana ng'agamba nti: “Nkwatirwa ekisa, Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi! Muwala wange aliko omwoyo omubi, gumubonyaabonya!”
[23] Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja w'ali ne bamwegayirira nti: “Mugobe, kubanga ajja atuleekaanira!”
[24] Yesu n'addamu nti: “Saatumibwa walala okuggyako eri abantu ba Yisirayeli abaabula.”
[25] Awo omukazi n'ajja n'asinza Yesu nga bw'agamba nti: “Ssebo, nnyamba!”
[26] Yesu n'addamu nti: “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'esuulirwa obubwa.”
[27] Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'obubwa, bulya ku bukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”
[28] Yesu n'amuddamu nti: “Mukazi wattu, olina okukkiriza kunene! Kikukolerwe nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona mu kiseera ekyo.
[29] Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'ajja ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'ayambuka ku lusozi n'atuula.
[30] Abantu bangi nnyo ne bajja w'ali nga baleese abalema, bamuzibe, abakonzibye, ne bakasiru, n'abalwadde abalala bangi. Ne babassa kumpi n'ebigere bye, n'abawonya.
[31] Abantu ne bawuniikirira nga balaba ababadde bakasiru boogera, ababadde bakonzibye balamu, ababadde abalema batambula, ababadde bamuzibe balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli.
[32] Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. Saagala kubasiibula ng'enjala ebaluma, sikulwa nga bazirikira mu kkubo.”
[33] Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Mu ddungu tunaggya wa emmere emala okukkusa abantu abangi bwe batyo?”
[34] Yesu n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti: “Musanvu, n'obwennyanja mpa we buzira.”
[35] Awo n'alagira abantu batuule wansi.
[36] N'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be, abayigirizwa ne babigabira abantu.
[37] Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo musanvu.
[38] Abo abaalya, baali abasajja enkumi nnya, awatali kubala bakazi na baana.
[39] Awo Yesu n'asiibula abantu, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kitundu ky'e Magadani.