Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:16

[1] “Mu nnaku ezo, Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa n'abawala ekkumi, abaakwata ettaala zaabwe, ne bagenda okwaniriza awasa omugole.

[2] Abataano ku bo baali basiru, naye abalala abataano nga bagezi.

[3] Abasiru baatwala ettaala zaabwe, naye ne batatwala mafuta mu ccupa.

[4] Abagezi ne batwala amafuta mu ccupa, awamu n'ettaala zaabwe.

[5] Awasa omugole bwe yalwawo okujja, bonna ne bakwatibwa otulo, ne beebaka.

[6] “Ekiro mu ttumbi, ne wabaawo oluyoogaano nti: ‘Awasa omugole wuuno ajja, mujje mumwanirize.’

[7] Abawala ekkumi ne bagolokoka, ne bategeka ettaala zaabwe.

[8] Olwo abasiru ne bagamba bannaabwe abagezi nti: ‘Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe ziggweerera’.

[9] Abawala abagezi ne baddamu nti: ‘Gayinza obutatumala ffe nammwe. Ekisinga obulungi, mugende gye bagatunda, mwegulireyo.’

[10] “Abawala abasiru nga bagenze okugula amafuta, awasa omugole n'atuuka. Abaali beetegese ne bayingira wamu naye mu mbaga ey'obugole, oluggi ne luggalwawo.

[11] “Oluvannyuma, abawala bali abasiru ne batuuka, ne bagamba nti: ‘Ssebo, ssebo, tuggulirewo.’

[12] Ye n'addamu nti: ‘Mazima sibamanyi.’

[13] “Kale mwerinde, kubanga olunaku n'essaawa temubimanyi.

[14] “Obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananako ng'omuntu eyali agenda mu nsi ey'ewala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye okubirabirira.

[15] Omu n'amulekera talanta ttaano, omulala bbiri, ate omulala talanta emu, ng'alabira ku kusobola kwa buli omu, n'agenda.

[16] Amangwago, oyo eyafuna talanta ettaano, n'agenda n'azisuubuza, n'afunamu amagoba ga talanta endala ttaano.

[17] N'oyo eyafuna talanta ebbiri, n'akola bw'atyo, n'afunamu amagoba ga talanta endala bbiri.

[18] Kyokka oyo eyafuna talanta emu, n'agenda, n'asima ekinnya mu ttaka, n'akwekamu ensimbi za mukama we.

[19] “Nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, mukama w'abaddu abo n'akomawo, n'ababuuza bannyonnyole ebifa ku nsimbi ze.

[20] Omuddu eyafuna talanta ettaano, n'ajja, n'aleeta talanta endala ttano, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta ettaano. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala ttaano.’

[21] Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’

[22] N'oyo eyafuna talanta ebbiri n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, wandekera talanta bbiri. Laba, nafunamu amagoba ga talanta endala bbiri.’

[23] Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuddu omulungi era omwesigwa. Wali mwesigwa mu bintu ebitono, nja kukuwa okulabirira ebingi. Yingira mu ssanyu lya mukama wo.’

[24] Era n'oyo eyafuna talanta emu n'ajja, n'agamba nti: ‘Mukama wange, namanya nti oli muntu mukakanyavu, ng'okungulira gy'otaasimbira, ng'okuŋŋaanyiza gy'otaasigira,

[25] ne ntya, kyennava ŋŋenda, ensimbi zo ne nzikweka mu ttaka. Laba, ziizino.’

[26] Mukama we n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi era omugayaavu! Wamanya nti nkungulira gye saasimbira, nkuŋŋaanyiza gye saasigira.

[27] N'olwekyo ensimbi zange wandiziterese mu bbanka: nze nga nkomyewo, ne nzifuna n'amagoba gaazo.

[28] Kale ensimbi muzimuggyeeko, muziwe oyo alina talanta ekkumi.

[29] Kubanga buli alina aliweebwa n'aba na bingi nnyo. Ate atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.

[30] Omuddu oyo atalina ky'agasa, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’

[31] “Omwana w'Omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, eky'obwakabaka, bamalayika bonna nga bali wamu naye, olwo alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa.

[32] Abantu bonna balikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge, n'abaawulamu, ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi.

[33] Endiga aliziteeka ku ludda lwe olwa ddyo, ate embuzi ku lwa kkono.

[34] “Awo Kabaka aligamba abo abali ku ludda lwe olwa ddyo nti: ‘Mmwe Kitange be yawa omukisa, mujje mubeere mu Bwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ensi lwe yatondebwa.

[35] Kubanga nali nnumwa enjala, ne mumpa ekyokulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mumpa ekyokunywa. Nali mugenyi, ne munsuza.

[36] Nali sirina kya kwambala, ne munnyambaza. Nali mulwadde ne munnambula. Nali musibe mu kkomera, ne mujja okundaba.’

[37] “Awo abaakola ebituufu balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuwa ekyokulya, ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa?

[38] Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi, ne tukusuza, oba nga tolina kya kwambala, ne tukwambaza?

[39] Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tukulambula?’

[40] “Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abato, mwakikolera nze.’

[41] “Awo aligamba abo abali ku ludda lwe olwa kkono nti: ‘Muve we ndi, mmwe abakolimire! Mugende mu muliro ogutazikira, ogwategekerwa Sitaani ne bamalayika be.

[42] Kubanga nali nnumwa enjala, ne mutampa kyakulya. Nali nnumwa ennyonta, ne mutampa kyakunywa.

[43] Nali mugenyi, ne mutansuza. Nali sirina kya kwambala, ne mutannyambaza. Nali mulwadde, era nali mu kkomera, ne mutannambula.’

[44] “Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba nga tolina ky'oyambala, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’

[45] Awo Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti: buli lwe mwagaana okuyamba omu ku bano abasinga obuto, mwagaana kuyamba nze.’

[46] “Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo. Naye abaakola ebituufu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters