Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:41

[1] Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, muzzukulu wa Dawudi, muzzukulu wa Aburahamu.

[2] Aburahamu yazaala Yisaaka, Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be,

[3] Yuda n'azaala Pereezi ne Zera mu Tamari; Pereezi n'azaala Hezirooni, Hezirooni n'azaala Raamu;

[4] Raamu n'azaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Naasoni, Naasoni n'azaala Salumooni;

[5] Salumooni n'azaala Bowaazi mu Rahabu, Bowaazi n'azaala Obedi mu Ruusi, Obedi n'azaala Yesse;

[6] Yesse n'azaala Dawudi Kabaka, Dawudi n'azaala Solomooni mu eyali muka Wuriya:

[7] Solomooni n'azaala Rehobowaamu, Rehobowaamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa;

[8] Asa n'azaala Yehosafaati, Yehosafaati n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Wuzziya;

[9] Wuzziya n'azaala Yotamu, Yotamu n'azaala Ahazi, Ahazi n'azaala Heezeekiya;

[10] Heezeekiya n'azaala Manasse, Manasse n'azaala Amoni, Amoni n'azaala Yosiya;

[11] Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biseera abantu ba Yisirayeli mwe baawaŋŋangusirizibwa e Babilooni.

[12] Nga bamaze okuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, Yekoniya n'azaala Seyalutiyeli, Seyalutiyeli n'azaala Zerubabbeeli;

[13] Zerubabbeeli n'azaala Abiwuudi, Abiwuudi n'azaala Eliyakimu, Eliyakimu n'azaala Azori;

[14] Azori n'azaala Sadoki, Sadoki n'azaala Akimu, Akimu n'azaala Eliwuudi;

[15] Eliwuudi n'azaala Eleyazaari, Eleyazaari n'azaala Matani, Matani n'azaala Yakobo;

[16] Yakobo n'azaala Yosefu bba Mariya, Mariya eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

[17] Kale nno emirembe gyonna, okuva ku Aburahamu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, emirembe kkumi n'ena; ate okuva ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.

[18] Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Mariya nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yosefu, nga tebannafumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.

[19] Awo Yosefu bba, kubanga yali muntu mulungi, n'atayagala kumuswaza, n'alowooza okumulekayo mu kyama.

[20] Yali akyalowooza ebyo, malayika wa Mukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yosefu, muzzukulu wa Dawudi, leka kutya kutwala Mariya mukazi wo, kubanga ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.

[21] Alizaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye wunyo alirokola abantu be mu bibi byabwe.”

[22] Ebyo byonna byabaawo, okutuukiriza Mukama kye yayogerera mu mulanzi nti:

[23] “Omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Erinnya lye, balimuyita Emmanweli” (eritegeeza nti: “Katonda ali naffe”).

[24] Yosefu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika bw'amulagidde: n'atwala mukazi we.

[25] Kyokka teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana, Yosefu n'atuuma omwana oyo erinnya lye Yesu.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters