Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 8:04

[1] Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali basemberedde ekibuga Yerusaalemu, nga batuuse e Betufaage, okumpi n'Olusozi olw'emiti Emizayiti, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri,

[2] n'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangwago, mujja kulaba endogoyi esibiddwa nga eri n'omwana gwayo. Muzisumulule, muzindeetere.

[3] Singa wabaawo abavunaana, mugamba nti: ‘Mukama waffe azeetaaga’, olwo ye ajja kuziweereza mangu.”

[4] Kino kyabaawo okutuukiriza ekyo omulanzi kye yayogera nti:

[5] “Mubuulire abantu b'e Siyooni nti: Laba, Kabaka wammwe ajja gye muli. Muteefu, era yeebagadde endogoyi, yeebagadde omwana gw'endogoyi.”

[6] Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira.

[7] Ne baleeta endogoyi n'omwana gwayo, ne bazissaako ekkooti zaabwe, ne bazeebagazaako Yesu.

[8] Abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne batema obutabi ku miti, ne babwaliira mu kkubo.

[9] Abantu abangi abaali bamukulembedde, era n'abo abaali bava emabega, ne baleekaana nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama aweereddwa omukisa! Mukama ali mu ggulu atenderezebwe!”

[10] Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemu, ekibuga kyonna ne kiyuuguuma. Abakirimu ne babuuza nti: “Oyo ani?”

[11] Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Ono ye mulanzi, Yesu ow'e Nazaareeti eky'e Galilaaya.”

[12] Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abo bonna abaali batundiramu, n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batundiramu enjiibwa.

[13] N'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.”

[14] Awo bamuzibe n'abalema ne bajja awali Yesu mu Ssinzizo, n'abawonya.

[15] Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baalaba ebyamagero bye yakola, era ne balaba abaana nga baleekaana mu Ssinzizo, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi atenderezebwe,” ne banyiiga.

[16] Ne bagamba nti: “Owulira abo bye bagamba?” Yesu n'abaddamu nti: “Weewaawo. Temusomangako ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Wagunjula abaana abawere n'abayonka okuwa ettendo ettuufu?’ ”

[17] N'abaawukanako, n'afuluma ekibuga, n'alaga e Betaniya, n'asula eyo.

[18] Enkeera ku makya, Yesu bwe yali addayo mu kibuga, n'alumwa enjala.

[19] N'alengera omuti gumu omutiini ku mabbali g'ekkubo. N'agutuukako, n'atagusangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Toddangayo okubala ebibala emirembe gyonna!” Amangwago omutiini ne gukala.

[20] Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne beewuunya! Ne bagamba nti: “Omutiini gukaze gutya amangu?”

[21] Yesu n'abaddamu nti: “Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza nga temubuusabuusa, munaayinzanga okukola kye nkoze ku mutiini ogwo. Era si ekyo kyokka, naye munaayinzanga n'okugamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja,’ ne kituukirira.

[22] Era singa muba n'okukkiriza, byonna bye munaasabanga Katonda nga mumusinza, munaabifunanga.”

[23] Awo Yesu bwe yakomawo mu Ssinzizo, bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja w'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola bino? Era ani yakuwa obuyinza buno?”

[24] Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munaakinziramu, olwo nange nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola bino.

[25] Ani yatuma Yowanne okubatiza: Katonda, oba bantu?” Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tuddamu nti: ‘Katonda ye yamutuma’, ajja kutubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne ono temwamukkiriza?’

[26] Ate singa tuddamu nti: ‘Abantu be baamutuma,’ tutya abantu: kubanga bonna bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.”

[27] Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bino.

[28] “Kale mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri, n'agenda eri omubereberye, n'amugamba nti: ‘Mwana wange, olwaleero genda okole mu nnimiro y'emizabbibu.’

[29] Ye n'addamu nti: ‘Ŋŋaanye.’ Kyokka oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda n'akola.

[30] Kitaabwe era n'agenda eri owookubiri n'amulagira ekintu kye kimu. Ye n'addamu nti: ‘Ka ŋŋende, ssebo.’ Kyokka n'atagenda.

[31] Kale ani ku bombi eyakola ekyo kitaawe kye yayagala?” Ne baddamu nti: “Omubereberye.” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya babasooka mmwe okuyingira Obwakabaka bwa Katonda,

[32] kubanga Yowanne Omubatiza yajja gye muli, n'abalaga ekkubo ettuufu, ne mutamukkiriza. Naye abasolooza b'omusolo ne bamalaaya, bo baamukkiriza. Ekyo mwakiraba, naye n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.”

[33] “Muwulire olugero olulala. Waaliwo omuntu ssemaka, eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala.

[34] Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma abaddu be eri abapangisa, bamuwe ebibala ebibye.

[35] Kyokka abapangisa ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, n'omulala ne bamukasuukirira amayinja.

[36] N'ayongera okutuma abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye. Era ne babakola ekintu kye kimu.

[37] Oluvannyuma n'abatumira omwana we ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamussaamu ekitiibwa.’

[38] Naye abapangisa bwe baalaba omwana oyo, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika! Mujje tumutte, obusika buliba bwaffe.’

[39] Ne bamukwata, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta.

[40] “Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, alikola atya abapangisa abo?”

[41] Ne bamuddamu nti: “Ababi abo alibazikiririza ddala, era ennimiro y'emizabbibu aligissaamu abapangisa abalala, abanaamuwanga ebibala mu kiseera ekituufu.”

[42] Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako ekyo ebyawandiikibwa kye bigamba? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro. Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya.’

[43] “N'olwekyo mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako mmwe, ne buweebwa abantu abalikola ebikolwa ebibusaanira. [

[44] Buli agwa ku jinja eryo, alimenyekamenyaka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”]

[45] Bakabona abakulu n'Abafarisaayo bwe baawulira engero za Yesu, ne bategeera nti ayogedde ku bo.

[46] Ne bagezaako okumukwata, naye ne batya ekibiina ky'abantu, kubanga kyali kimanyi nti Yesu mulanzi.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters