Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:41

[1] Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, n'abooluganda Yakobo ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu.

[2] Awo endabika ye n'efuuka nga balaba. Amaaso ge ne gaakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira.

[3] Musa ne Eliya ne balabika nga boogera naye.

[4] Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.”

[5] Bwe yali ng'akyayogera, ekire ekitangalijja ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo. Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala, mumuwulirize.”

[6] Abayigirizwa bwe baawulira, ne batya nnyo, ne bagwa wansi nga beevuunise.

[7] Awo Yesu n'ajja we bali, n'abakwatako, n'agamba nti: “Muyimuke, muleke kutya!”

[8] Bwe baayimusa amaaso, ne batalaba muntu mulala, wabula Yesu yekka.

[9] Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.”

[10] Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya y'ateekwa okusooka okujja?”

[11] Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya y'ateekwa okusooka okujja, era alitereeza byonna.

[12] Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, abantu ne batamutegeera, era ne bamukolako byonna bye baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'Omuntu balimubonyaabonya.”

[13] Olwo abayigirizwa ne bategeera nti yali ayogera ku Yowanne Omubatiza.

[14] Bwe baatuuka awali ekibiina ky'abantu, omuntu omu n'ajja eri Yesu n'amufukaamirira,

[15] nga bw'agamba nti: “Ssebo, kwatirwa mutabani wange ekisa, kubanga mulwadde wa nsimbu, ali bubi nnyo. Emirundi mingi agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi.

[16] Namuleetedde abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.”

[17] Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere wano.”

[18] Awo Yesu n'aboggolera omwoyo omubi, ne guva ku mulenzi, n'awona mu kaseera ako.

[19] Abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama, ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?”

[20] Yesu n'abaddamu nti: “Kubanga temulina kukkiriza kumala. Mazima mbagamba nti: singa muba n'okukkiriza wadde okutono ng'akasigo ka kaladaali, muyinza okugamba olusozi luno nti: ‘Va wano, genda wali,’ ne lugenda, era tewali kiribalema. [

[21] Naye omwoyo omubi ogw'engeri eno, tegugobeka ku muntu awatali kusaba Katonda era n'okusiba.”]

[22] Abayigirizwa bwe baakuŋŋaanira mu Galilaaya, Yesu n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu,

[23] era bajja kumutta. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo.

[24] Yesu n'abayigirizwa be bwe batuuka e Kafarunawumu, abasolooza omusolo ogw'Essinzizo ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti: “Mukama wammwe tawa musolo gwa Ssinzizo?”

[25] N'addamu nti: “Awa.” Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Yesu n'amwesooka, n'agamba nti: “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi, empooza oba omusolo babiggya ku bantu ki? Ku baana baabwe, oba ku bantu balala?”

[26] Peetero n'addamu nti: “Ku balala.” Yesu n'amugamba nti: “N'olwekyo abaana tebateekwa kuwa.

[27] Naye obutabeesittaza, genda osuule eddobo mu nnyanja, ekyennyanja ky'onoosooka okukwasa, bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu ssente, ogitwale ogibawe, esasulire nze naawe.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters