Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:42

[1] Awo Yesu bwe yazaalibwa e Betilehemu, ekibuga eky'omu Buyudaaya, mu kiseera ekyo nga Herode ye Kabaka, abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye ne bava ebuvanjuba, ne bajja e Yerusaalemu,

[2] ne babuuza nti: “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.”

[3] Herode kabaka bwe yawulira, ne yeeraliikirira, era n'abalala bonna mu Yerusaalemu ne beeraliikirira.

[4] N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abakugu abannyonnyola abantu amateeka, n'ababuuza nti: “Kristo wa kuzaalibwa wa?”

[5] Bo ne bamugamba nti: “Mu Betilehemu, ekibuga ky'omu Buyudaaya, kubanga bwe kityo bwe kyawandiikibwa omulanzi nti:

[6] ‘Naawe Betilehemu mu nsi ya Yuda, si ggwe osembayo mu balangira ba Yuda, kubanga mu ggwe mulivaamu omukulembeze, alirabirira abantu bange Yisirayeli.’ ”

[7] Awo Herode n'ayita mu kyama abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye, n'ababuuza n'obwegendereza ekiseera kyennyini emmunyeenye kye yalabikiramu.

[8] N'abasindika e Betilehemu, n'abagamba nti: “Mugende mubuulirize nnyo ku mwana oyo, era nga mumulabye, muntegeeze, nange ŋŋende mmusinze.”

[9] Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda. Awo ne baddamu okulaba emmunyeenye gye baalaba ebuvanjuba, n'ebakulembera okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awali omwana.

[10] Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka nnyo nnyini ddala.

[11] Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Mariya nnyina. Ne bafukamira ne basinza omwana, ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo: zaabu, obubaane n'ebyakawoowo ebiyitibwa mirra.

[12] Katonda bwe yabalabulira mu kirooto obutaddayo ewa Herode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.

[13] Bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto, n'amugamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri, obeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo, kubanga Herode ajja okunoonya omwana okumutta.”

[14] Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'alaga e Misiri.

[15] N'abeera eyo okutuusa Herode lwe yafa. Kino kyali bwe kityo, Mukama kye yayogerera mu mulanzi kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Nayita omwana wange ave mu Misiri.”

[16] Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye.

[17] Awo ekyo omulanzi Yeremiya kye yayogera ne kituukirira, bwe yagamba nti:

[18] “Mu Raama baawulira eddoboozi, okukaaba n'okukungubaga okungi, Raakeeli ng'akaabira abaana be era nga tayagala akubagizibwe, kubanga tebakyaliwo.”

[19] Awo Herode bwe yamala okufa, malayika wa Mukama n'alabikira Yosefu mu kirooto e Misiri,

[20] n'agamba nti: “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, olage mu nsi ya Yisirayeli, kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.”

[21] Awo Yosefu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'ajja mu nsi Yisirayeli.

[22] Kyokka bwe yawulira nti Arukyelawo ye kabaka wa Buyudaaya, ng'asikidde kitaawe Herode, n'atya okulaga eyo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, n'alaga mu kitundu ky'e Galilaaya.

[23] N'ajja n'abeera mu kabuga akayitibwa Nazaareeti. Kino kyaba bwe kityo, abalanzi kye baayogera kiryoke kituukirire nti: “Aliyitibwa Munnazareeti.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters