[1] Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ava e Galilaaya, n'alaga mu kitundu ky'e Buyudaaya, emitala w'omugga Yorudaani.
[2] Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n'abawonyeza eyo.
[3] Abamu ku Bafarisaayo ne bagamba nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we, ng'amulanga buli nsonga yonna?”
[4] Yesu n'abaddamu nti: “Temusomangako nti olubereberye Katonda yatonda omusajja n'omukazi,
[5] Katonda n'agamba nti: ‘N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n'abeera ne mukazi we, bombi ne baba omuntu omu?’
[6] Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.”
[7] Abafarisaayo ne bamubuuza nti: “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja awe mukazi we ebbaluwa ekakasa bw'amugobye, olwo alyoke amweggyireko ddala?”
[8] Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe. Naye olubereberye, tekyali bwe kityo.
[9] Era mbagamba nti buli agoba mukazi we okuggyako ng'amugobye lwa bwenzi, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze.”
[10] Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Oba nga bwe biri bwe bityo wakati w'omusajja ne mukazi we, ekisinga butawasa.”
[11] Yesu n'abaddamu nti: “Si bonna abasiima ekigambo ekyo, wabula abo Katonda b'akiwa.
[12] Kubanga waliwo abalaawe, abaazaalibwa bwe batyo, waliwo abalaawe, abalaayibwa abantu, era waliwo abalaawe abeeraawa bokka olw'Obwakabaka obw'omu ggulu. Ayinza okukisiima akisiime.”
[13] Awo ne baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko era abasabire eri Katonda. Kyokka abayigirizwa ne babaziyiza nga bababoggolera.
[14] Yesu n'agamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka obw'omu ggulu.”
[15] N'abakwatako, n'ava mu kifo ekyo.
[16] Awo omuntu omu n'ajja eri Yesu, n'amubuuza nti: “Muyigiriza, kirungi ki kye nteekwa okukola, okufuna obulamu obutaggwaawo?”
[17] Yesu n'amuddamu nti: “Lwaki ombuuza ku kirungi? Omulungi ali Omu. Naye oba nga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro bya Katonda.”
[18] N'amubuuza nti: “Biruwa?” Yesu n'addamu nti: “Tottanga muntu, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu.
[19] Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Era yagalanga muntu munno, nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”
[20] Omuvubuka n'agamba Yesu nti: “Ebyo byonna nabituukiriza. Kiki ekikyambulako okukola?”
[21] Yesu n'amugamba nti: “Oba ng'oyagala okuba atuukiridde, genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
[22] Omuvubuka ono bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi.
[23] Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti: omugagga kirimubeerera kizibu okuyingira Obwakabaka obw'omu ggulu.
[24] Era mbagamba nti: kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
[25] Abayigirizwa bwe baawulira, ne bawuniikirira nnyo, ne bagamba nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?”
[26] Yesu n'abatunuulira n'agamba nti: “Kino abantu tebakiyinza, wabula Katonda ayinza byonna.”
[27] Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Laba, ffe twaleka ebyaffe byonna tulyoke tuyitenga naawe. Kale tulifuna ki?”
[28] Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti: Omwana w'Omuntu bw'alituula ku ntebe ye eyeekitiibwa, nga byonna bizzibwa obuggya, nammwe abayita nange, mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, ne musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
[29] Era buli muntu eyaleka ennyumba oba baganda be, oba abaana, oba ebibanja ku lwange, alifuna ebisingawo obungi emirundi kikumi, n'aweebwa n'obulamu obutaggwaawo.
[30] Naye bangi ab'olubereberye, abaliba ab'oluvannyuma, era bangi ab'oluvannyuma, abaliba ab'olubereberye.